Jump to content

Alfonse Owiny-Dollo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Chief Justice Alfonse Owiny Dollo

 

Alfonse Chigamoy Owiny-Dollo munnayuganda munnamateeka era omulamuzi. Abadde ssabalamuzi wa Uganda okuva nga 20 Ogwomunaana 2020.[1]

Yaweerezako nga Ssabalamuzi wa Uganda ow'akaseera okuva nga 22 Ogwoukaaga 2020 era yali omumyuka wa ssabalamuzi okuva nga 30 Ogwomwenda 2017.[2] Yalondebwa mu kifo ekyo mu Gwomunaana 2017, nga yadda mu bigere bya Steven Kavuma, eyasalawo okuwummula ku myaka 70 years nga 29 Ogwomwenda 2017.[3][4][5]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa nga 18 Ogusooka 1956 nga kati kimanyikiddwa nga Disitulikiti y'e Agago. Yasomera ku King’s College Budo ne Nabumali High School mu misomo gye egya sekendule. Alina Diguli esooka mu mateeka eya Bachelor of Laws okuva mu ssettendekero wa Makerere University ne Dipuloma mu mateeka eya Diploma in Legal Practice, okuva mu ttendekero ly'amateeka erya Law Development Centre mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekisinga obunene.[4] Diguli ye eya Master of Arts mu kugonjola obutabanguko yagifuna okuva mu Yunivasite ya University of Bradford eya Bungereza. Alina Satifikeeti mu kugonjola era n'okutabaganya okuva mu ttendekero lya Center for Conflict Resolution mu Cape Town, South Africa.[4]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Mu 1988, Owiny-Dollo yakola ng'omuwabuzi mu nteesaganya ezaali wakati w'abaali abayeekera ba, Uganda People's Democratic Movement (UPDM), ne Gavumenti ya Uganda. Mu busobozi obwo, yawandiika endagaano y'emirembe eyakozesabwa wakati wa Gavumenti n'abayeekera ba UPDM, nga 3 Ogwomukaaga 1988, ku kisaawe kya Pece, mu Gulu.[4]

Okuva mu 1994 okutuusa mu 1996, yali mmemba mu kakiiko akawandiika Ssemateeka wa Uganda owa 1995. Yali mubaka mu Paalamenti akiikirira omuluka gwa Agago mu Paalamenti ey'omukaaga (1996–2001).[4] Mu biseerra by'entesaganya ezaali wakati w'abayekera ba Lord's Resistance Army ne Gavumenti ya Uganda eya National Resistance Movement, Ouva mu 2006 okutuusa mu 2008, Owiny-Dollo yakola ng'ouwabuzi wa Reik Machar, eyali omumyuka wa Pulezidenti wa South Sudan, eyaleetawo okuteesaganya.[4]

Mu 2008, yalondebwa okufuuka omulamuzi wa kkooti eya waggulu eya Uganda,[6] nga yaweereza mu busobozi obwo okutuusa mu 2015.[4]

Mu 2015, Owiny-Dollo, yakuzibwa n'atwalibwa mu Kkooti ejulilwamu eya Uganda. Wabula teyasobola kutwalirawo mulimu gwe kubanga yali akawuliriza omusango gw'obutujju mu Kkooti eya waggulu nga mu gw, abasajja 13 baali bavunanibwa okutta abantu 76 mu kubwatuka kwa bbomu abbiri ezaali mu Kampala mu 2010.[4] Yamaliriza omusango ogwo mu Gwokutaano 2016.[7][8]

Mu Gwomunaana 2017, Pulezicenti wa Uganda, yalonda Owiny-Dollo, nga omumyuka wa Ssabalamuzi era wansi w'amateeka ga Uganda,akulira kkooti ya Uganda ejulirwamu saako ne kkooti etaputa Ssemateeka.[9]

Nga 20 Ogwomunaana 2020, Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni y'amulonda okubeera Ssabalamuzi wa Uganda, owa 13 nga adda mu bigere bya Bart Magunda Katureebe, eyali atuuse ku myaka egy'okuwummula 70, nga 19 Ogwomukaaga 2020.[1]

Ebikwata ku Famire ye

[kyusa | edit source]

Omulamuzi Owiny-Dollo yawasa abakyala basatu, alina n'abaana era omu ku bakyala be ye Florence Nakachwa Dollo-Owiny omumyuka wa Dayilekita w'ettendekero lya Law Development Center.[10]

Laba ne bino

[kyusa | edit source]
  • Essiga lya Uganda eddamuzi

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-appoints-Owiny-Dollo-as-new-Chief-Justice/688334-5611980-65w0rcz/index.html
  2. http://www.monitor.co.ug/News/National/Newly-appointed-Deputy-Chief-Justice-Owiny-Dollo-Sworn-in--/688334-4119360-bsivv8z/index.html
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2022-05-18. Retrieved 2022-12-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. 4.0 4.1 4.2 4.3 4.4 4.5 4.6 4.7 https://en.wikipedia.org/wiki/The_Observer_(Uganda)
  5. http://www.monitor.co.ug/News/National/Judiciary-Justice-Kavuma-age-Public-Service/688334-4111828-5g14cuz/index.html
  6. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1190508/appointment-overwhelms-court-judge
  7. http://www.newsweek.com/uganda-convicts-terrorists-al-shabab-2010-world-cup-bombing-464176
  8. https://en.wikipedia.org/wiki/British_Broadcasting_Corporation
  9. http://www.monitor.co.ug/News/National/Owiny-Dollo-is-new-Deputy-Chief-Justice/688334-4068784-10glsxuz/index.html
  10. https://flashugnews.com/alfonse-chigamoy-owiny-dollo-biography-education-chief-justice-uganda/

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]