Alice Auma
Alice Auma yazaalibwa mu mwaka gwa 1956 n'afa ng'enaku z'omwezi 17 mu mwezi ogusooka mu mwaka gwa 2007 nga yali musawuzi mu ggwanga lya Acholi eyali akulira ekibiina ky'abasamize ekya 'Holy Spirit Movement (HSM), yakulemberamu akabinja k'abaali baagala okumaamulako gavumeenti ya pulezidenti ya Yoweri Museveni okuva mu mwezi ogw'omunaana mu mwaka gwa 1986 okutuusa mu mwezi ogw'ekuminoogumu mu mwaka gwa 1987. Omuzimu gweyakozesa ng'okuyisaamu ebyawongo bye gwali gw'eyali munamaggye eyali yafa eyali ammnyikiddwa nga "Lakwena", ekitegeeza omutume oba gwebasindise, abachooli kyebaali bakiririzaamu okubeera ng'abakatuliki mwebaakozesa ng'okuyisa omwoyo omutukirivu.[1] Eky'okubeera nga yali Alice Auma yali asobola okukola ebyawongo ng'ayita mu muzimu gwa Lakwena kyebatera okuyita "Alice Lakwena".[2][3][4][5] Ekibiina kya Auma ekyaali kyagala okugyako gavumenti baakiwangula mu mwezi ogw'ekuminoogumu mu mwaka gwa 1987, amaggye ga Uganda agaali gakulembeddwamu Yoweri Museveni.
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Alice Auma yazaalibwa mu mwaka gwa 1956, ng'era eyali akulira ekibinja ky'abayeekera ekya Lord's Resistance Army Joseph Kony yagamba nti ye ne Auma yali kizibwe we era ng'amulinako omuganda. Naye nga teyatera kumusaba buyambi kuba ne Auma tetamusemberera nga kuba ebiseera ebisinga yayawukana okuva kundowooza za Kony n'endowooza zze.[6]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Eky'okubeera nga yali tazaala oluvannyuma lw'obufumbo lwamirundi ebbiri , yayabulira ekyalo gyebaali bamuzaala. Yasobola okukyusibwa n'afuuka omukatuliki naye, ng'enaku z'omwezi 25 mu mwezi ogw'okutaano mu mwaka gwa 1985, yagwamu akajabangu oba yafuna obulwadde ku bwongo, nga takyasobola kwogera wadde okuwulira, oluvannyuma n'ategeeza nga bweyali alinyiddwako omuzimu ku mutwe ogwa Lakwena. Kitaawe yamutwala ku balogo bamirundi 11, naye tewali yasobola kutereeza mbeera gyeyali alimu. Auma yategeeza nga Lakwena bweyamukulemberamu n'amutwala mu kuumiro ly'ebisoloParaa National Park, gyeyabulira okumala enaku 40 n'akomawo ng'asobola okwogerezeganya n'emizimu and returned a spirit-medium, ng'akola ng'omusasuzi oba omusawo omuganda.
Nga tebanaba kuwangula Tito Okello, Auma yali omu ku baali boogerezeganya n'abafu eyali akolerera okulinaana akabuga g'e Gulu ng'alina omusawuzi era eyali awonnya ng'ayita mu by'emizimu n'emisambwa. Yakolera nga mu bwegugungo bw'abayeekera abaali baagala b'amagye ga National Resistance Army (NRA) abaali bayeekera amagye ga Uganda People's Democratic Army, n'okubeera ng'okuyeekera kwa NRA kwali kweyongera. Olugero mu buyekera lugamba nti ng'enaku z'omwezi 6 mu mwezi ogw'omunaana mu mwaka gwa 1986, Lakwena yalagira Auma okulekeraawo omulimu gwe g'omusawuzi n'omuwonya obutaalina makulu namulamwa munsonga z'olutalo, n'atandikawo ekibiinja ky'abayeekera ekya 'Holy Spirit Movement' (HSM) okulwanyisa amasitaani n'okukomekereza okuyiwa omusaayi. Baali batambulira ku mulamwa gw'obwakatonda ogw'okuwamba ekibuga kya Kampala, nga wano abachoolo webaali bagenda okwebulula okuva mu kutulugunya kwebaali batadde ku bayuuze b'omukitundu kya Luwero triangle, nga baali bakuteeka bulamu bweyagaza oba bwesiimisa kunsi. Ebalu eyali esindikiddwa mu bamisaani yeeyali enyonyola enkyuka kyuka eno:
Katonda omulungi yali yasindika Lakwena yasalawo okukyusa omulimu gwe okuva mu kubeera omusawo, n'amufuula omuduumizi w'amagye olw'ensonga emu eyali enyangu: tekigasa kuwonga musajja leero, ate n'atibwa olunaku oluddako. Kino kyafuuka kirubirirwa kye okuyimiriza okuyiwa omusaayi nga tanaba kwongerayo mulimu gwe ng'omusawo.
Auma yakikaatiriza nti Lakwena yali amwetaaga okubeera ng'alinyibwako emizimu egiwerako okusobola okutuuka ku kirubirirwa kye. Kino kyali tekisangibwa sangibwa mu neeyisa y'abachooli ey'eby'emizimu.
Mu kaseera ako waliwo okumannyikwa kw'emizimu egyali gigambibwa nti gyali mu kitundu egyaliwo mu kaseera kekamu nga gy'ayagala okuwamba amagye g'omubukiika kkono. Obunkenke obwali bweyongera n'abantu okubeera nga baali bayitiridde okufa, baali bakikuusa okubeera ku bulogo. Okweyongerayo, abajaasi baali baabulira ekifo kino nga baddayo mu Acholi oluvannyuma lw'okubeera nga baali bawanguddwa mu Kampala abaagaana emikolo gy'obuwangwa egy'okubatukuza. Emikolo gino baali bakiriza nti gyali gya kukuuma bitundu bino n'abantu okuva eri emizimu gy'abantu abaali batibwa abajaasi egyali gy'agala okuwoolera, naye abakulu baakizuula nti baali tebakyasobola kugoberera kiragiro kino kungeri gyebaali batekeddwa okukikola.but the elders found that they no longer had the authority to force compliance with the onvention.
Oluvannyuma lw'okuwangula okwomudiringanwa, Auma yakulembera akabinja k'abayekera akaali kayitibwa Holy Spirit Movement (HSM) mu bukiika kkono bw'ettaka ly'abachooli abaali boolekera Kampala. Eno, gyeyafunira obuwagizi okuva mu bibiinja ky'abantu abaali balina obutakaanya ne gavumenti ya Yoweri Museveni. Naye baafunamu obuzibu okuva mu magye ekyavirako abamu kubagoberezi b'ekibiinja kino abaali balumiriza Auma okubeera omulogo ng'akozesa emizimu okuleeta enkomerero y'ensi. Ekibiinja kya HSM bwekya funa okuwangulwa okwali kusembayo mu kuwanyisiganya amasasi okwali mu kibira okulinaana Kampala, Auma yaduka ng'agamba omuzimu gwa Lakwena gwali gumulekulidde.
Obulamu bwe obulala
[kyusa | edit source]Auma yali abeera mu nkambi y'abanoonyi boobubuddamu eya Ifo okulinaana Dadaab mu bukiika ddyo bw'eggwanga lya Kenya obulamu bwe obwali busigalidde, nga yali agamba emizimu gyali gyamulekulira. Mu mwezi ogw'ekuminoogumu mu mwaka gwa 2004, yaliko mu by'okukukusa abaana okuva e Gulu okubatwala munkambi y'abanoonyi boobudamu. Mu mwaka gwa 2006, yagamba nga bweyali azudde eddagala eryali liwonya akawuka kasiriimu. Auma yafa ng'enaku z'omwezi 17 mu mwezi ogusooka mu mwaka gwa 2007, oluvannyuma lw'okubeeta nga yali mulwadde okumala wiiki n'obulwadde obwali tebutegerekeka obwali buteberezebwa okubeera siriimu.
Olugero lwa Paraa
[kyusa | edit source]Wadde nga Auma' okubeera nga yali akola ng'omuwaatwa nga yakadda mu Gulu teyagenda bulungi, olugero lwa Paraa yafuuka ensibuko y'ekibiinja kya HSM. Mu ngeri eno Lakwena yakyasanguza ng'abayeekera bwali bwetaaga okukulakulanya. Okusinziira ku lugero, Lakwena yasooka okubeera nenteseganya n'ebisolo ebyali mukuumiro okusobola okumannya olutalo luno kyerwali lutegeeza oba kwelwali lutambulira mu bukiika kkono, nemukukwonoona ebyali byetoloddewo n'abantu abaali tebakwatagana:
Lakwena yagamba ebisolo: " bisolo mwe katonda yansindika okubabuuza oba mwemulina obuvunaanyizibwa kukuyiwa omusaayi okwali mu Uganda." Ebisolo byegaana era embogo neeraga ekiwundu ekyali kukugulu, ate envubu neeraga ekiwundu ekyali kumukono.
Lakwena oluvannyuma yeebuza mu mazzi ku by'olutalo:
Lakwena yagamba ekiyiira ky'amazzi: "Mazzi, nzijja kukubuuza ku bibi n'okuyiwa omusaayi munsi eno." Awo amazzi wegagambira: "Abantu abalina amagulu abbiri bata baganda baabwe nebasuula emibiri gyabwe mu mazzi ." Omuzimu gwabuuza amazzi kiki kyekyakolera aboonoonyi, amazzi negagamba: " Nwanisa aboonoonyi, kuba beebanenyezebwa ku by'okuyiwa omusaayi. Genda olwanyise aboonoonyi, kuabnga beebakasuka baganda baabwe mu mazzi."
Oluavnnyumwa lw'okudda kubuttaka bwe akaseera akatono, Lakwena yakulemberamu Auma nebagenda ku lusozi lwa Kilak okukwasaganya ensonga y'obulogo. Olusozi lwayaniriza okujja kwabwe n'okubaluka okw'amaanyi:
Omuzimu gwa Lakwena gwagamba olusozi oba olwazi: "Katonda ansindise okuzuula lwaki waliwo obubbi munsi." Olusozi lwamuddamu: "Sirina wegenze, ng'era sirina mwana wa muntu yenna gwenzibye, naye abantu bajja wano wendi nebangamba amannya gaabo beembeera nina okutta nga mpita mukubaloga oba okubasindikira etalo. Abala bansaba ddagala okubaloga. Bino by'ebibi by'abantu.Njagala kukuwa mazzi okuwonya enddwadde. Naye olina okulwanyisa aboonoonyi."
Kuntiko y'olugero, katonda kennyini alaga ani alina okunenyezebwa ku lw'okubonaabona n'okuyiwa omusaayi:
Katonda yagamba nti waaliwo eggwanga ly'abantu mu Uganda eryali lyakyayibwa buli wamu. Eggwanga lino lyaali ly'abachooli. Era katonda naalagira akaliga akato kaweebweeyo ng'eky'okusadaaka, basobole okwenenya ebibi byabwe okusobola okukomekereza okuyiwa omusaayi mu Acholi.
Laba ne bbino
[kyusa | edit source]
- ↑ (5–36).
{{cite journal}}
: Cite journal requires|journal=
(help); Missing or empty|title=
(help)Template:Cite journal - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/Magazines/PeoplePower/Alice-Lakwena-fishmonger--rebel-leader-NRA-Okello-Lutwa/689844-4804780-6ewycnz/index.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1172728/rebel-chief-lakwena-dead - ↑
{{cite news}}
: Empty citation (help)https://www.economist.com/obituary/2007/01/25/alice-lakwena - ↑
{{cite news}}
: Empty citation (help)https://www.nytimes.com/2007/01/19/world/africa/19lakwena.html - ↑
{{cite journal}}
: Empty citation (help)Template:Cite journal