Jump to content

Alice Komuhangi Khaukha

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Alice Komuhangi Khaukha Munnayuganda Munnamateeka era mulamuzi ebiwaddeyo eri ekitongole ky'abannamateeka mu Uganda. Abaddeko mu ofiisi ez'enjawulo mu ya Ssabawaabi wa Gavumenti (ODPP) n'oluvanyuma n'afuuka omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Divizoni ekwasaganya emisango gy'okumutendera gw'ensi yonna nga omulamuzi omukulu ow'emisango gy'okutulugunya abakyala SGBV.[1][2]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Yazalibwa mu Rujumbura, Disitulikiti y'e Rukungiri, Alaina Digula ya Institutional management and Leadership (MIML) okuva ku Uganda Management Institute (UMI), Diguli ey'okubiri mu mateeka (LLM) okuva ku Yunivasite y'e Makerere, Dipuloma ey'enyongereza mu kukola amateeka okuva ku Law Development Center ne Diguli mu mateeka (LLB) ng'omuyizi anwedde mu banne akendo okuva ku Settendekero wa Makerere.

Emirimu gye n'ebyeyafuna

[kyusa | edit source]

Nga tannaba ku londebwa ng'omulamuzi, Omulamuzi Khaukha yaweereza nga Omumyuka wa Ssabawaabi wa Gavumenti (DPP), nga kalabaalaba eri Dayilekita w'okunoonyereza ku , Quality Assurance Research, n'okutendekebwa kwa Ssabawaabi wa Gavumenti (ODPP). Obumu ku buvunanyizibwa bwe mwalimu, okukakasa omutindo gw'emirimu egikolebwa, okutumbula enkwasaganya y'emisango n'okukakasa enkwasaganya y'amateeka ennungaamu. Ye yali omutwe omukulu mu kunoonyereza n'okutambuza emisango gya Global Fund, n'oluvanyuma akulira Dipaatimenti erwanyisa obulyake. Yegatta ku ODPP ng'omuwaabi wa Gavumenti ali kuddaala ly'obuyizi mu 1999 era mpola yalinnyisibwa eddaala okutuuka ku ddaala ly'Omuwolereza wa Gavumenti mu 2014. mu misango wakati wa Gavumenti n'abantu.[1]

Ye yali akulira Dipaatimenti y'emisango gy'ettaka (2013), nga yali avunangyizibwa ku kunonyereza ku nsonga ez;ekuusa ku ttaka okwetoloola Uganda. Akulira Dipaatimenti erwanisa obukenuzi (Ogwokuna 2018), ng'emisango egy'ekuusa mu bukenuzi n'okubulanakanya ensimbi ng'emisango egy'asingisibwa giri 80%. Era yawoma omutwe mu kutandiikawo Asset Recovery Network for Eastern Africa (ARIN-EA). Ebifo aw'akumirwa abaana ebya Child-Friendly Spaces and Training Curriculum, ng'eno gye yaleetera ekiteeso ky'okutandikawo awakuumibwa abaana mu sisitiimu y'amateeka. Yatandikawo ensomesa y'abaana ey'obwongo, n'okutendeka abaana mu biki ebikolebwa mu Kkooti okwetoloola Eggwanga lyonna. Kampala Regional Office Head (2013-2016) gyeyakulembera nga ODPP, nga yali akwasaganya emisango emikakali. Okuteesa ku ngeri y'okukwasaganyamu amateeka, nga yetaba mu kubaga amateeka nga etteeka elirwanyisa obulyake, etteeka elikwata ku bantu abalooba abalyake, n'enkola y'eggwanga obutawuliriza wadde okugumiikiriza obulyake. Mu 2017, yalondebwa ng'omumyuka wa Dayilekita w'emisango egibeera wakati wa Gavumenti n'abantu ba bulijjo.

Emisango gy'eyakolako

[kyusa | edit source]

Awaadi z'eyafuna

[kyusa | edit source]

Nga 7 Ogwomusanvu 2020, yaweebwa Awaadi ya Governance Impact Award okuva ku Vine Academy egenderera okusiima abantu mu nzikiliza y'ekikulisitaayo abawaayo omuwendo mu bisaawe eby'enjawulo.[8][9]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 https://chimpreports.com/profile-who-is-alice-khaukha-the-newly-appointed-judge/
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2024-04-10. Retrieved 2024-04-10.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://observer.ug/news/headlines/79611-american-couple-opts-to-plead-guilty-to-torturing-10-year-old-ugandan-boy
  4. https://www.independent.co.ug/ssegirinya-says-battling-skin-cancer-lung-infection/
  5. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/ssegirinya-suffers-acute-medical-condition-lawyer-4447148
  6. https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_157449
  7. https://kaseseguideradio.com/dpp-drops-charges-against-rwenzururu-king-charles-wesley-mumbere/
  8. https://www.pmldaily.com/news/2020/06/deputy-dpp-komuhangi-receives-governance-impact-award.html
  9. https://chimpreports.com/deputy-dpp-khaukha-scoops-vine-academys-governance-impact-award/