Alintuma Nsambu
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | munnabyabufuzi |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda |
Alintuma Nsambu ng'era amanyiddwa nga Alintuma Nsambu John Chrysostom Mukungu omubaka akiikirira eggwanga mu mawanga g'ebweru ,Munnabyabufuzi, era yali mubaka wa Paalamenti Munnayuganda. Yaweerezako ng'eyali Minisita omubeezi ow'amawulire ne tekinologiya w'eby'empuliziganya okuva mu 2006 okutuusa 2011.[1][2] Yakyusibwa okuva mu Kabineeti okuda mu buweereza bw'okukiikirira eggwanga mu mawanga amalala era nga yadda mu bigere bya Nyombi Thembo mu nkyukakyuka ezaakolebwa mu Kabineeti nga 27 Ogwokutaano 2011.[3]
Obuvo bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Nsambu yasomera ku United States International University mu San Diego ne ku Technical University of Braunschweig mu Germany.[4]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva mu 1996 okutuusa 2000, Nsambu yaweereza ng'omukulu akwanaganya pulogulaamu ya Exchange Students’ Program eya European Union ku yunivasite ya Technical University of Braunschweig mu Germany.
Nsambu yaweereza nga mmemba wa Paalamenti omulonde akiikirira Essaza ly'e Bukoto ey'Obuvanjuba mu Disitulikitti ye Masaka okuva 2001 okutuusa 2011. Mu kalulu k'eggwanga aka bonna aka 2011, yawangulwa Florence Namayanja, ow'e Ekibiina kya Democratic Party.[5][6]
Nsambu yaweereza ng'omubaka wa Uganda omulonde mu Eritrea naye yafundikira aweerezza ng'Omubaka wa Uganda e Canada.
Mu 2013, yeesimbawo ku ky'omubaka wa Paalamenti owa Bukoto ey'Obukiikaddyo mu Disitulikitti y'e Lwengo gye yawangulwa Omugenzi Matia Nsubuga Birekerawo eyali omuwandiisi wa Democratic Party n'obululu butono nnyo .
Waliwo ebigambibwa nti okuwangulwa kwa Nsambu kwonna kwaleetebwa eyali akulira Police ebiseer'ebyo, Gen.Kale Kayihura agambibwa okuba nga yakyusakyusa ebyava mu kulonda. Ng'akyali Minisita, kikkirizibwa okuba nti Nsambu yagaana okuggya enguzi ku Kayihura, okuwa kkamupuni ya mikwano gye mu Bufaransa pulojekiti y'okukola endagamumtu .
Mangu nnyo ng'okulonda kwakagwa, Pulezidenti Museveni yalonda Alintuma Nsambu okuba omubaka wa Uganda Uganda e Canada, Cuba ne the Bahamas.
Mu mwaka gwa 2016, Pulezidenti Museveni yasindika Nsambu mu Algiers ng'Omubaka wa Uganda mu ttundutundu lya Maghreb (Tunisia, Morocco, Mauritania, Al,geria).
By'akoze
[kyusa | kolera mu edit source]Alintuma Nsambu asinga kujjukirwa mu mirimu gye egy'okuyamba okuzimba ebifo ebikuumirwamu Kompyuta mu masomero ga Uganda ng'ayambibwako muwala wa Bill Gates - Jennifer Gates wamu n'amasomero g'ekitundu ky'e Bellevue mu Ssaza ly'e Washington.
Nga Minisita, Alintuma Nsambu yawa Pulezidenti Museveni amagezi okutandikawo ekifo ky'eggwanga eky'ebikwata ku bantu (National Data Bank) ekya bannansi ba Uganda era eno yeeyali entandikwa ya pulojekiti y'Eggwanga ey'Endagamuntu eyambye buli Munnayuganda omukulu okubeera n'Endagamuntu
Nga Minisita w'amawulire ne tekinologiya w'ebyempuliziganya ( ICT) , Alintuma Nsambu yatandikawo enkola y'okutambuliza ensimbi ku masimu eyatuumibwa Mobile Money mu bitongole by'empuliziganya kati omukutu ogukyasinze okukozesebwa mu kusindika sente mu Uganda.
Ebimukwatako ng'omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Nsambu yawasa Susan Nakawuki mu 2014.[7][8][9]
Ebijuliziddwa.
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Alintuma Nsambu Appointed State Minister for ICT In 2006[permanent dead link]
- ↑ The African Union's Agenda 2063:Assessing the Development Vision for Africa (PDF). 2220-2228 River Building: Carleton University. 2015-03-12. pp. 2, 4.
- ↑ Museveni Names New Cabinet, May 2011
- ↑ "PHOTOS: Nsambu Marries MP Nakawuki". ChimpReports (in American English). 2014-07-27. Retrieved 2024-04-07.
- ↑ "Alintuma Nsambu Loses His Bukoto East Parliamentary Seat". Archived from the original on 2012-03-25. Retrieved 2011-06-05.
- ↑ Florence Namayanja of DP Is MP for Bukoto East Constituency, 2011 – 2016
- ↑ The African Union's Agenda 2063:Assessing the Development Vision for Africa (PDF). 2220-2228 River Building: Carleton University. 2015-03-12. pp. 2, 4.
- ↑ "MP Nakawuki introduces former ICT minister Alintuma Nsambu – Sqoop – Get Uganda entertainment news, celebrity gossip, videos and photos"
- ↑ "MP Nakawuki's fiance is married". New Vision. 2007-03-03. Retrieved 2024-04-07.