Allan Kateregga
Allan Kateregga (yazaalibwa 3 Ogwomukaaga 1994) muzannyi wa mupiira munna Uganda era nga omupiira ogwensimbi yasemba kuguzannyira mu FC Saint-Éloi Lupopo eya Democratic Republic of Congo mu mwaka 2023 era endagaano ye bweyaggwako neyegatta ku Police FC eya Rwanda. Kateregga oba 'Dancing Rasta' nga bwatera okuyitibwa mu tiimu ya Poliisi e Rwanda aliyo nebanna Uganda abalala babiri okuli Ashraf Mandela ne Eric Ssenjobe era baayamba kiraabu eno eya Police Fc Rwanda okuwangula Ekikopo kya Rwanda Super Cup bwebawangula kiraabu ya APR FC mu gwomunaana omwaka 2024.[1] [2] [3] Ng’oggyeeko okuzannya omupiira mu ggwanga Uganda mu kiraabu nga Victoria University ne KCCA FC, Kateregga yasambako omupiira ogwensimbi mu Kenya (AFC Leopards), South Africa(Cape Town Fc, ne Maritzburg United), ne Iraq (Erbil SC).[4] [5]
Kateregga mu kisaawe azannya nga omuwuwutanyi (midfielder) alikiriza abateebi mu nnumba era nga ne ttiimu ya Uganda yali ajizannyiddeko
Ttiimu y'eggwanga | Omwaka | Apps | Goolo |
---|---|---|---|
Uganda | 2017 | 3 | 0. |
2018 | 3 | 0. | |
2019 | 2 | 0. | |
Omugatte | 8. | 0. |
Ebiwandiiko ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://sportsnation.co.ug/2024/08/11/ugandan-trio-clinch-historic-title-in-rwanda/
- ↑ https://www.pulsesports.ug/football/story/out-of-contract-allan-kateregga-searching-for-next-dancing-stage-2023061310440255772
- ↑ https://www.national-football-teams.com/player/69605.html
- ↑ https://www.goal.com/en-ug/news/uganda-midfielder-kateregga-was-desperate-for-erbil-sports-club-deal/1trw62uheuflt1owx15y83dvfv
- ↑ Allan Kateregga On Life In Iraq, Next Destination the-sportsnation.com