Allan Ssewanyana

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Allan Aloysius Ssewanyana yazaalibwa nga 26 Ogwekuminoogumu mu 1986, ng'asinga kumannyikwa nga ‘Omusajja wa Bwino’. Munamawulire owebyemizannyo omunayuganda, avunaanyizibwa ku by'esonga z'abakozi era munabyabufuzi. Mubaka wa Paalamenti omulonde akiikirira Munisipaali y'e Makindye Eyobugwanjuba[1] era okiikirira National Unity Platform, ekibiina ky'ebyobufuzi ekisinga okuvuganya gavumenti mu Uganda.[2] Ali ku kakiiko k'Ebyenjigiriza n'Ebyenjigiriza n'akalwanirira obw'enkanya mu Paalamenti ya Uganda ey'ekumi. Akola nga Minisita w'Ebyemizannyo mu kabineeti ey'ekisikirize.[3][4]

Ssewanyana yaliko kansala wa LCV mu kitongole ekidukanya emirimu mu kibuga kya Kampala (KCCA) ng'akiikirira munisipaali y'e Makindye; yaliko omusunsuzi w'amawulire g'eby'emizannyo ku mukutu gwa ttivi ya Nile Broadcasting Services (NBS) ne Top Radio 89.6 FaMa; nga muwandiisi mu lupapula lwa Ennyanda, ali ku kakiiko akakulu akadukanya supa liigi ya Uganda, ng'era yaliko omumyuka wa ssentebe ku kakiiko akakulu akadukanyaKCCA FC.[5][6]

Obuto bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Ssewanyana yazaalibwa mu ddwaliro ly'e Nsambya, nga bazadde bbe ye Aloysius ne Sarah Ssendawula ab'e Kibuye, nga 26 Ogwekuminoogumu mu 1986 mu famire ekiririza mu ddiini y'ekikatuliki ey'Abaganda. He is the third of seven children and has four sisters and two brothers.

Yasoma pulayimale mu kibuga ky'e Kampala ku Nakivubo Blue Primary School gyeyali akulira eby'emizanny, era nga gyeyatuulira P7 mu 1998.

Oluvannyuma yagenda ku St. Mathias Kalemba Senior Secondary School gyeyatulira S4 mu 2002 ne Mengo Senior School gyeyamalira S6 mu 2005. Yawerezaako nga minisita w'eby'emizannyo ku St. Mathias Kalemba Senior Secondary School n'omukulembezze akulira abayizi ku Mengo Senior School.

Ssewanyana yeeyongerayo ku Makerere University gyeyatikirwa mu 2008 ne diguli mu sayaansi, mu kudukanya ensonga z'abakozi. Yali akulira abayizi era omu ku baali ku kakiiko akakiikirira abayizi ku kizimbe kya Ivory Tower.[6]

Emirimu gye n'Ebyobufuzi[kyusa | edit source]

Ng'afunye ebaluwa ye eya S6, Ssewanyana yafuna omulimu gw'okukola ng'omusunsuzi w'eby'emizannyo ku Top Radio 89.6 FaMa mu 2005. Ng'amaliriza okufuna diguli ye mu 2008, yafuna omulimu ng'omuwereza w'eby'emizannyo ku ttivi ya NBS, ng'ayanjula n'okuwereza pulogulaamu eby'emizannyo ku NBA buli lunaku ku malya g'eky'emizana. Mu 2014, yayongerezaako ng'awandiika mu lupapula lw'eby'emizannyo lwebayita Ennyanda olufulua buli wiiki.[7]

Mu 2013, Ssewanyana yeesimbawo ku ky'omukulembezze w'ekibiina ekidukanya omupiira mu Uganda (FUFA) ng'ayagala okudira eyali Pulezidenti w'ekibiina kino ebiseera ebyo, Lawrence Mulindwa. Yawandulwamu nga basinziira ku by'ekikugu, nga Moses Magogo yeyasobola okubeera ng'awangula era nga tavuganyiziddwa.[8]

Mu 2011, Ssewanyana yayingira mu eby'obufuzi eby'okulonda ng'ali ku tikiti y'ekibiina kya DP, ekyamufuula kansala wa LCV mu kitongole ekidukanya emirimu mu kibuga Kampala (KCCA) ng'akiikirira konsitituweensi ya Makindye Eyoubugwanjuba okutuuka mu 2016, bweyalondebwa okuwereza mu konsitituweensi y'emu mu kifo ekisava eky'okubeera omubaka wa Paalamenti ekyamufuula omubaka mu Paalamenti ya Uganda ey'ekumi ey'e Kula lya Afrika.

Mu Paalamenti ey'ekumi, Ssewanyana awereza ku kakiiko k'Eby'enjigiriza n'Eby'emizannyo ku nsonga z'omwenkano nkano.

Ebimukwatako ng'omuntu[kyusa | edit source]

Allan Ssewanyana mufumbe nga mukyala we ye Lydia Ssewanyana nga balina abaana babbiri.Yawerezaako ng'omumyuka wa ssentebe ku KCCA FC okuva mu 2012 okutuuka mu 2015 era ng'omu kubaali ku kakiiko akakulu akadukanya supa liigi ya Uganda mu kaseera k'ekamu. Ssewanyana y'omu bannyini era ssentebe wa kiraabu y'omupiira eyitibwa Katwe United FC.[9] Yazannyako omupiira nga ye omuntu ku mutendera gwa liigi y'eggwanga mu ttiimu ya Top TV FC okuva mu 2001 okutuuka mu 2004 bweyamenyeka egumba ly'okukibegabega, obuvune obwamuvirako okunyuka okusamba omupiira.[10]

Mu Gwomwenda mu 2021, Allan Sewanyana yavunaanibwa omusango gw'obutemu.[11]

Awaadi n'Engule[kyusa | edit source]

Ssewanyana awereddwa awaadi ez'enjawulo okusinziira ku mirimu gy'azze akola emyaka egiyise

  • Mu 2013: RTV Academy Awards, Omuwereza w'eby'emizannyo asinga ku Ttivi [12]
  • Mu 2014: RTV Academy Awards, Omuwereza w'eby'emizannyo ku leediyo ne Ttivi eyali asinga
  • Mu 2014: Kadanke Awards, Omukulembezze w'abavubuka eyali asinga[13]
  • Mu 2015: RTV Academy Awards, Omuwereza w'eby'emizannyo eyali akira ku balala
  • Mu 2015: Eyali asinga mu basinga (BB) Awards Omuwereza w'eby'emizannyo[14]
  • Mu 2017: Buzz Teeniez Awards Engula ya Teeniez Leadership Award

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliriziddwamu[kyusa | edit source]

  1. http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=164
  2. http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/Who-will-step-into-Kyanjo-s-large-shoes-in-Makindye-West-/688342-2347440-nuvhe2z/index.html
  3. http://theinsider.ug/index.php/2017/05/12/govt-not-bothered-chinese-petty-traders-murdering-our-economy-mp-ssewanyana/
  4. http://allafrica.com/stories/201604250755.html
  5. http://www.monitor.co.ug/artsculture/Heart-to-Heart/Men-only-cheat-when-their-women-change/691230-2598572-plcy94/index.html
  6. 6.0 6.1 http://bigeye.ug/allan-ssewanyana-resigns-position-kcca/
  7. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1322842/kcca-councilor-remanded-defamation
  8. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1324298/fufa-exco-endorses-magogo
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-28. Retrieved 2024-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1256637/tv-fc-ban
  11. https://fr.africanews.com/2021/09/07/ouganda-deux-deputes-de-l-opposition-accuses-d-orchestrer-des-meurtres/
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2020-01-07. Retrieved 2024-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. http://bigeye.ug/kadanke-unveils-national-youth-festival-awards/
  14. http://bigeye.ug/best-best-awards-2016-heres-full-list-nominees/

"Ndi musanyufu nnyo olw'enger gyetwakwasaganyamu ensonga ya kawaayiro 102 (b) aka semateeka nga tukozesa obukugu kuba abasinga baakiraba ng'eky'obusiru, naye twatekawo eky'enjawulo"[1]

Allan Ssewanyana yakwatibwa olw'okuwagira obwegugungo[2] "Ssewanyana yakwatibwa olw'obwegugungo obwali buva ku kazambi w'eddwaliro ly'e Kirundu."[3]

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]

  1. https://www.independent.co.ug/allan-ssewanyana-on-his-love-for-lukwago/
  2. https://www.independent.co.ug/mp-allan-ssewanyana-arrested-for-inciting-violence/
  3. https://nilepost.co.ug/2019/02/22/video-mps-protest-ssewanyanas-arrest-over-kiruddu-hospital-sewerage-crisis/