Jump to content

Allan Toniks

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Allan Toniks ng'amannya ge amatuufu gebaamuwa oluvannyuma lw'okumuzaala ye Allan Ampaire muyimbi omunayuganda, awandiika ennyimba okusuna entongooli oba endongo wamu n'okufulumya ennyimba ezibeera zikwatiddwa ku butaambi.[1][2][3] Akozeeko n'ayimbako ku siteegi y'emu n'abayimbi bawano ssaako n'abensi z'ebweru okuli ebibiina by'abayimbi nga ekya Goodlyfe Crew, P Square, General Ozzy okuva mu ggwanga lya Zambia, Proff okuva mu Kenya, Petersen Zagaze nga naye w'e Zambia, Urban Boyz, Gal Level nga b'e Namibia, Beenie Man, Genista, okuva mu Jamaica Sean Kingston, Jidenna, Sean Paul, Roberto okuva mu Zambia, Stella Mwangi wamu ne Flavour N'abania nga bano bombi b'e Nigeria.[2] Alondedwako wamu n'okuwangula ebirabo oba awaadi ez'enjawulo.[2] Asibuka mu bugwanjuba bwa Uganda nga muno mwemuli n'abayimbi abalala nga Juliana Kanyomozi, Angella Katatumba ne Ray G.

Obulamu bwe n'eby'okusoma[kyusa | edit source]

Toniks yazaalibwa Berinda Edward eyali omusawo nemukyala we Mrs Berinda Josephine mu disitulikiti y'e Mbarara ng'era yatandika okuyimba ng'akyali kusomero ng'eno gyeyayigira n'okusuna entongooli oba giyite endoongo ng'era alina abaana bana. Yasomera ku Mbarara Preparatory School gyeyasomera pulayimale ng'era gyeyatuulira P.7, oluvannyuma neyeegata ku King's College Budo ng'eno gyeyamaliriza S.4, wabula nga S.6 yagituulira ku Ntare School nga tanaba kwegata ku Makerere University Business School (MUBS) gyeyatikirwa mu mwaka gwa 2011 ne diguli mu bya bizineensi ku muntendera gw'ensi yonna.[3]

Muziki[kyusa | edit source]

Ytandika okuyimba n'okuwandiika ennyimba bweyali akyali kusomero wabula ng'okwenyigiramu okwadala ekirowoozo yakifuna ali ku yunivasite[3] gyeyakwatika akatambi ke akaali kasooka kebaali bayita Beera nange.[4] Asobola n'okusuna entogooli oba giyite endoongo[5] nga n'ebiseera ebisinga yeefulumiza ennyimba ezizze[1] wansi wa kampuni eyiye gyebayita Vibrations.[4] Toniks atwala engeri gy'akubamu muziki we okubeera ng'agwa mutuluba lya Urban R&B.[3] Toniks yeetaba, era n'awangula empaka z'omwaka gwa 2015 eza Airtel Trace Music Star Competition, ezaali ez'okunoonyezaamu abayimbi abalto abalina ebitone zebaali bayita the Celebrity Edition.[6][7]

Ennyimba zze[kyusa | edit source]

 • Beera Nange
 • Mu'ngatto
 • That Girl
 • Kampala Galz
 • Yenze
 • Nzewuwo
 • Swag meter
 • Itaano
 • Ningyenda Yoona
 • Tukyekole
 • Nsubiza
 • Regular
 • Private Party
 • Who You Are
 • Sikyetaaga
 • Baby Language
 • Mulamwa
 • Falling
 • Romance
 • Sunday
 • Sikuleka
 • Wonder Woman
 • Ensonga
 • Turn Around

By'awangudde oba awaadi z'afunye[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 2008

 • PAM Awards RnB:O luyimba 'womwaka (Yawangula).
 • PAM Awards RnB: Omuyimbi w'omwaka (Yalondebwa ).
 • MAMA Awards:Abawuliriza baamulonda(Yalondebwa )
 • Kisma Awards:Omukubi w'ennyimba ezigwa mu tuluba lya RnB eyali asinga (Yalondebwa).
 • Buzz Teenies` Awards:Omukubi w'ennyimba ezigwa mutuluba lya RnB (Yalondebwa).
 • Buzz Teenies Awards: Omukubi w'ennyimba ezigwa mu tuluba lya RnB eyali asinga (Yalondebwa).

Mu mwaka gwa 2009

 • Buzz Teenies Awards:Omukubi w'ennyimba ezigwa mu tuluba lya RnB eyali asinga (Yalondebwa).

Mu mwaka gwa 2010

 • SoundCity Music Video Awards( e Nigeria):Oluyimba olwali lugwa mu tuluba lya 'Pop' nebalulonda ku vidiyo eyali esinga ku semazinga wa Afrika.
 • PAM Awards:Vidiyo eyali esinga omwaka (Yalondebwa).
 • Buzz Teenies`Awards:Omukubi w'ennyimba ezigwa mu tuluba lya RnB eyali asinga (Yalondebwa).

Mu mwaka gwa 2011

 • Namibian Music Awards: Oluyimba lw'omwaka
 • Namibian Music Awards: Vidiyo y'omwaka.
 • Namibian Awards: Abayimbi ababiri abeegata nebafulumya oluyimba abaali basinga.
 • Buzz Teenies` Awards Omukubi w'ennyimba ezigwa mu tuluba lya RnB eyali asinga.
 • PAM Awards: Omukubi w'ennyimba ezigwa mu tuluba lya RnB eyali asinga (Yalondebwa).

Mu mwaka gwa 2012

 • Namibian Music Awards: Oluyimba lw'omwaka.
 • Namibian Music awards: Abayimbi ababiri abaali basinga oluvannyuma lw'okufulumya oluyimba nga bali babiri.
 • Omukubi w'ennyimba ezigwa mu tuluba lya RnB eyali asinga; buzz awards.
 • Oluyimba olugwa mu tuluba lya RnB olwai lusinga; buzz awards.[8]
 • Channel O Music Video Awards: Vidiyo y'oluyimba olugwa mutuluba lya 'pop' olwali lusinga ku semazinga wa Afrika(Yalondebwa).

Mu mwaka gwa 2013

 • Club Music video Awards, Eyasinga okwambala n'okwolesa emisono mu vidiyo (Yalondebwa).

Mu mwaka gwa 2019

 • Zinna Awards: Omukubi w'ennyimba ezigwa mutuluba lya 'RnB' abadde ng'ate waliwo n'abalala abayimba (Yalondebwa).
 • HiPipo Music Awards: Oluyimba olugwa mu tuluba lya 'afro Pop' olwali lusinga.

Mu mwaka gwa 2020

 • Hipipo Music awards:Oluyimba olugwa mutuluba lya 'RnB' olwali lusinga (Yalondebwa)
 • Hipipo Music Awards Vidiyo y'omwaka (Yalondebwa)
 1. 1.0 1.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20170913102620/http://www.musicuganda.com/Toniks.html
 2. 2.0 2.1 2.2 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20150207040948/http://vmbgmusik.com/artists/allan-toniks/
 3. 3.0 3.1 3.2 3.3 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20150207041738/http://www.sqoop.co.ug/features-profiles/toniks-on-his-good-luck-music-and-swag.html
 4. 4.0 4.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20160304090703/http://www.hipipo.com/music/news/1412/Tugende-Tukyekole--New-Song-By-Allan-Toniks
 5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20150207041501/http://ourmusiq.com/toniks-swag-meter-concert-and-feelingz/1268/m.aspx
 6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20150217154354/http://chano8.com/allan-toniks-wins-airtel-trace-stars-celebrity-edition/
 7. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20150217155755/http://www.iconzmagazine.com/allan-toniks-scoops-airtel-trace-star-celebrity-edition/
 8. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20160304055422/http://www.koonadance.co.ug/profiles/87/Toniks/