Jump to content

Alleluya Rosette Ikote

Bisangiddwa ku Wikipedia
Alleluya Rosette Ikote
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Omulimumunnabyabufuzi Kyusa
Ekifo ky'alimumubaka wa palamenti Kyusa
Disitulikiti mwalonderaPallisa Kyusa

Alleluya Rosette Ikote Munnayuganda, munabyabufuzi era yaliko omukiise mu Paalamenti ya Uganda. Ye yali omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Pallisa mu kakiiko ka National Resistance Council wakati wa 1989 okutuuka 1996 n'omubaka wa Paalamenti okuva mu 1997 okutuuka mu 2001 mu konsitituwensi y'emu mu Paalamenti ya Uganda ey'omukaaga.

Ikote yeesimbawo mu kulonda okwa bonna okwa 1989 mu Uganda, era ye yali akiikirira Disitulikiti y'e Pallisa mu kakiiko ka National Resistance Council (NRC) mu mwaka gwa 1989.[1] oluvannyuma ennyo nga yegasse ku kibiina kya National Resistance Movement (NRM), yeesimbawo mu kulonda kw'ababaka mu Paalamenti okwa 1996 ng'era akiikirira konsitituwensi y'emu mu Paalamenti ya Uganda ey'omukaaga okuva mu 1997 ne 2001[2][3]

Yasikizibwa Jennifer Namuyangu eyamuwangula mu kulonda kwa Uganda okw'ababaka ba Paalamenti okwa 2001.[4]

Ng'anyuse eby'obufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Ikote yakolerako mu kibuga ky'e Nairobi ng'eyali akulira ekitongole kya Amani Forum ekivunaanyizibwa ku by'emirembe .[5]

Oluvannyuma yalondebwa nga maneja addukanya ekitongole kya United Nations Development Programme (UNDP) mu ggwanga lya South Sudan.[5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. http://www.nzdl.org/cgi-bin/library?e=d-00000-00---off-0unescoen--00-0----0-10-0---0---0direct-10---4-------0-1l--11-en-50---20-help---00-0-1-00-0--4----0-0-11-10-0utfZz-8-10&cl=CL1.11&d=HASH01498f0cfd994ddfe10f20e4.15&x=1
  2. https://www.parliament.go.ug/cmis/browser?id=5247c525-5e20-4b76-8760-4b4479d77dbf%3B1.0
  3. https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/1-879720-20-5
  4. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1032096
  5. 1 2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/1115420