Aloysius Bugingo

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Omusumba Aloysius Bugingo musumba w'Abalokole era munnabizinensi. [1] [2] Ye Dayirekita wa Salt Media Group of Companies, [3] n'ekkanisa [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere e'Makerere], [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Kikoni Kikoni], Kampala, House of Prayer Ministries International (emanyiddwa nga Canaan land). Yalondebwa mu East Africa Book of Records ng’omubuulizi omulokole asinga.[4] [5] [6]

Obulamu obuto n’okusoma[kyusa | edit source]

Aloysius Bugingo yazaalibwa Masaka era yakula ne bajjajjaabe ku ludda lwa maama we abaamulabirira oluvannyuma lwa nnyina okugenda okubeera e Rwanda, ne kitaawe Omunyarwanda. Kojja we yamulemesa okweyongerayo mu misomo egy'awaggulu, era Bugingo okukkakkana ng’agenze e Kampala ng’akyali muvubuka olw’okutulugunyizibwa kojja we. [1]

Bugingo bwe yatuuka e Kampala, yasooka kuyenjerela ku nguudo, kyokka mikwano gye jyamulagirira ewa Ssentongo Godfrey, eyawa Bugingo omulimu mu maka ge n’ekifo ekyokuberamu . Yakola nga House Boy ewa Ssentongo okumala akaseera, nga Ssentongo tannamuwa mulimu gwa kukola n'okutunda emberenge mu katale k'[./Https://en.wikipedia.org/wiki/Owino Owino] . Yatereka ssente ezimala okutandikawo bizinensi [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Hawker_(trade) y'okutembeya] ebintu by'omunyumba [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Dressing_gown n’engoye z'abakyala] okwetoloola ekibuga Kampala. Yasenguka n’agenda mu bitundu by’e Kampala e Kazo, n’apangisa akasenge akatono ak’omuntu omu. [1]

Bugingo alina diguli mu by’eddiini, [7] ne satifikeeti mu Christian Culture Mentoring, gye yafuna nga 28 June 2019 okuva mu Kayiwa International University . [8] Yaweebwa engule olw’ebyo bye yakola mu kukulaakulanya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Pentecostal_Church Eklezia ya Pentecostal] mu Uganda, era n’atikkirwa ku ntikko mu mwaka gwe. [9]

Omulimu gw’obusumba[kyusa | edit source]

Ku Ssekukkulu, 1992, Bugingo yafuna obulokozi mu KPC (ekkanisa ya Watoto eriwo kati) bwe yali alaga firimu y’Ekikristaayo, Heaven’s Gates and Hell’s Flames .

Bugingo yatandika okuweereza ng'Omusumba mu Victory Christian Centre [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Ndeeba Ndeeba].[10] Yatandika okwetaba mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Talk_radio mbboozi z'Abalokole ku leediyo] esangibwa mu Ndeeba, Impact FM, ng’akubira amasimu ku mpewo. Bugingo yatandika okukola ng’omuyambi w’ekkanisa, ng’ategeka ekkanisa n’okukulembera okusinza. Joseph Sserwadda, omusumba akulembera mu kibiina kya Victory Christian Centre Ndeeba, yasiima emirimu gye n’amulonda ng'Omusumba. Ng’ogaseko obuweereza bwe ng’omusumba, Bugingo yakola emirimu emirala ku Impact FM, omuli okukulira pulogulaamu z’enzikiriza nga Manya Kyokiriza . Bugingo yakolera ku Victory Christian Center ne Impact FM okutuusa nga 31 December 2010, lwe yalekulira, nga Sserwadda tekisembye. [1]

Oluvannyuma lw'okwawukana ne Joseph Sserwadda, Aloysius Bugingo ne mukyala we Teddy baatandikawo House of Prayer Ministry International (HPMI), [11] [12] Obuweereza bwabwe bwatandikira ku Bat Valley Theatre.

HPMI yatongoza Salt FM mu 2014 ne SaltTelevision mu 2015. [13] Ekibiina ky’ekkanisa n’abawuliriza ku leediyo y’omunnyo beeyongera buli lukya naddala mu kusaba kwa Bugingo okw’ekyemisana. Ekiseera ekimu ab'ekkanisa ne bapangisa ekisaawe ky'essomero lya Bat Valley Primary School nga abantu tebakyajja munda mu Kkanisa.[14] Omuwendo gwa bammemba ba HPMI okweyongeranga gwaleetera okunoonya ettaka eddene erinatuulako ekkanisa eno. [1]

Bugingo abadde mu butakkaanya mu lujjudde n’abasumba abalala bangi mu Kampala. Oluusi akozesa okubuulira kwe okulumiriza basumba banne okubba bammemba b'ekkanisa yaabwe, [15] [16] ekivuddeko obutakanya wakati wa Bugingo n'abasumba abalala mu kibuga nga bukyaliwo paka kati. Ono alumirizibwa okugezaako okwonoona ebifananyi z’abasumba abalala okusikiriza abagoberezi baabwe okujja mu kkanisa ye.

Bugingo yatandika okusomesa ku [./Https://en.wikipedia.org/wiki/List_of_New_Testament_verses_not_included_in_modern_English_translations nnyiriri za Baibuli] ezitali mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Good_News_Bible Good News] ne [./Https://en.wikipedia.org/wiki/King_James_Bible King James Bibles] ezijuliza [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Holy_Spirit Omwoyo Omutukuvu] nga ‘Omuzimu Omutukuvu’. Yasaba Abalokole okulekera awo okusoma Bayibuli kubanga yali ebabuzaabuza. Wabula yakubiriza Abalokole okusoma King James Version, naye nga bamazze okukakasa nti buli lunyiriri mweruli era nga n‘Omwoyo Omutukuvu’ si ye ‘Muzimu omutukuvu’. Mu ndowooza ya Bugingo, omuzimu teguyinza kuba mutukuvu, ekitegeeza nti Bayibuli yonna eyogera ku Mwoyo Omutukuvu nga omuzimu Omutukuvu ya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Satan sitaani] . Mu 2017 Bugingo yalangirira okwokya Bayibuli za ‘sitaani’. [17] [18] [19] [20] Oluvannyuma yawawaabirwa mu kkooti, kyokka n'eyegaana ebyalibimuwabiddwa nagamba nti yali tayogera ku muliro gwa mubiri, wabula muliro ‘ogw’omwoyo’. Bugingo yawawaabirwa mu kkooti ye Nabweru mu 2017 abakristu babiri okuli Aloysius Kizza Matovu n’omubuulizi w’enjiri Francisco Semugooma olw’okwokya Bayibuli. Bugingo yawangula, nga omulamuzi yagamba nti abamulumiriza balemwa okuleeta obujulizi obunywevu obulaga nti Bugingo yayokya Bayibuli, era n'omuliro gwa Bayibuli gwe baalaga tegwalina kakwate konna ku ye. [1]

Mu February 2019, ekkanisa ya Bugingo yawawaabirwa mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/High_Court kkooti enkulu] olw’obucaafu bw’amaloboozi. [21]

Bugingo yawaayo obukadde kikumi obwayuganda eri gavumenti ya Uganda okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19 . [22]

Mu January wa 2024, Aloysius Bugingo yafuna ebisago mu bulumbaganyi obwatta omukuumi we, poliisi ya Uganda egamba nti enoonyereza ku “kugezaako okutta” kuno.[23]

Obulamu bw’omuntu ku bubwe[kyusa | edit source]

Ku ntandikwa y’emyaka gya 1990, Bugingo yawasa Teddy Naluswa, era abafumbo bano baabeera mu bwavu. Yadde nga waliwo okusika omuguwa ku nzikiriza ya Bugingo [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Born_again ey'Obulokole], baasigala bombi ku lw’abaana baabwe. [1] Bugingo ne Naluswa balina abaana basatu ab’obuwala okuli Doreen Gift, Winnie ne Jenifer Bugingo n’omwana omu ow’obulenzi Miracle Bugingo. [24]

Obufumbo bwa Bugingo ne Teddy bwafuuka amawulire g’eggwanga mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda Uganda] obutakkaanya bw’abafumbo bano bwe bw'afuluma mu lujjudde. Oluvannyuma Teddy yalekera awo okugenda mu kkanisa, [25] era Bugingo n’ategeeza ekibiina ky’ekkanisa nti ye ne muwala waabwe Doreen baali bakola ekimenya obuweereza bwe era nga bagezaako okubba eby’obugagga by’ekkanisa. [26] Bugingo yawoza nti Teddy yali asabye omugabo ku ttaka ly’ekkanisa ng’awaanyisiganya n’okwawukana. [27] Bannaddiini abalala tebaasiima nneeyisa ya Bugingo. [28] [29] Mu 2019, Bugingo yavumirira babuulizi banne n’abantu bonna olw’okuvuma mukyala we Teddy mu lujjudde n’okwasanguza ebyama by’obufumbo bwabwe. [30]

Teddy Bugingo yatongoza ekkanisa ye, Word of Salvation Ministries International (WSMI) mu January 2020. [31] [32] [33] [34] Mu 2020, abasumba bataano bagambibwa nti baava mu HPMI ne bagenda mu Kanisa ya Teddy Bugingo. [35]

Mu September 2019 yabuuzibwa minisita Nakiwala ku [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Child_neglect ky'okulagajjalira abaana] . [36]

Oluvannyuma Bugingo yayingira omukwano ne Susan Makula. Mu December 2019, yalangirira nti yali lubuto lwa balongo. [37]

Mu June 2021, kyategeezebwa nti yakwatibwa [./Https://en.wikipedia.org/wiki/COVID-19 COVID 19] . [38]

Ebiwandiiko ebikozesebwa[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 1.6 "Profile: How Pastor Aloysius Bugingo became one of the most successful pastors in Uganda". Flash Uganda Media. 25 August 2019. Retrieved 14 May 2020.
  2. "Profile: Who is Pastor Aloysius Bugingo?". Watchdog Uganda (in British English). 4 May 2019. Retrieved 14 May 2020.
  3. "pastor aloysius bugingo – theinsider.ug" (in American English). Retrieved 21 May 2020.
  4. "Pr. Bujjingo appreciates Ugandans for voting him". salt media (in British English). Retrieved 14 May 2020.
  5. "Why Pastor Aloysius Bujjingo Was Awarded The Most Admired And Influential Born Again Faith Leader In Uganda". salt media (in British English). Retrieved 21 May 2020.
  6. "Pastor Aloysius Bugingo Archives". Kyakala (in American English). Retrieved 21 May 2020.
  7. "Pastor Bugingo Acquires Degree | Kampala Sun" (in American English). Archived from the original on 29 June 2019. Retrieved 14 May 2020.
  8. "Pastor Bugingo Heeds Gov't Call, Acquires Degree". Campus Bee (in American English). 28 June 2019. Retrieved 21 May 2020.
  9. "Pastor Bugingo Graduates in Theology – theinsider.ug" (in American English). Retrieved 14 May 2020.
  10. "Aba Victory Christian Centre, Bujingo gye yava nga tasiibudde bavumiridde eky'okwokya Bayibuli". www.bukedde.co.ug. 23 April 2017. Archived from the original on 27 April 2017. Retrieved 21 May 2020.
  11. "Canaan Land HOUSE OF PRAYER MINISTRIES, Central (+256 207 777777)". vymaps.com. Retrieved 21 May 2020.
  12. "Pastor Bugingo's Shs70b Church is the greatest religious fraud in Uganda". Watchdog Uganda (in British English). 17 January 2019. Retrieved 21 May 2020.
  13. "Over 40000 Souls Turn to Jesus". salt media (in British English). Retrieved 21 May 2020.
  14. "God has Always Protected Kampala – Afande Omala". ChimpReports (in American English). 2 January 2015. Retrieved 21 May 2020.
  15. "Robbing, cunning pastors blasted". www.newvision.co.ug. Retrieved 21 May 2020.
  16. "Bugingo Tells Off Fellow Pastors: Let's Stop Mobile Money, Corona is Enough Burden for Christians Now". mulengeranews.com (in American English). Retrieved 21 May 2020.
  17. "Pastor Bugingo under fire for burning 'deceptive' Bibles". The Observer (in British English). Retrieved 21 May 2020.
  18. "Ugandan Pastor Under Fire for Burning 'Deceptive' Bibles". allAfrica.com (in Lungereza). 24 April 2017. Retrieved 21 May 2020.
  19. "Pastor Bugingo Burns Thousands of Holy Bibles at Makerere Kikoni". Campus Bee (in American English). 18 April 2017. Retrieved 21 May 2020.
  20. "Bible burning sparks outrage in Uganda". The Independent (in American English). 30 April 2017. Retrieved 21 May 2020.
  21. "Bible burning sparks outrage in Uganda". The Independent (in American English). 30 April 2017. Retrieved 21 May 2020.
  22. "How Pastor Bugingo outsmarted critics with his Shs100m COVID-19 donation to government". Watchdog Uganda (in British English). 21 April 2020. Retrieved 14 May 2020.
  23. "OUGANDA Un célèbre pasteur ougandais blessé dans une "tentative de meurtre"". Voa Afrique (in Lufalansa). 3 January 2024. Retrieved 3 January 2024. {{cite web}}: line feed character in |title= at position 8 (help)
  24. "I'll stay discreet for my kids, in-laws' peace – Pr Bugingo". www.newvision.co.ug. Retrieved 14 May 2020.
  25. Joshua, Walakira. "Bugingo wife quits over church assets". Mulengera News (in American English). Retrieved 21 May 2020.
  26. Kigongo, Juliet (22 August 2019). "Court to hear Pastor Bujjingo's divorce case, dismisses wife's". Daily Monitor (in Lungereza). Retrieved 14 May 2020.
  27. "No way back! Pastor Bugingo insists on divorce, offers to share UGX2b property with estranged wife". PML Daily (in American English). 11 July 2019. Retrieved 21 May 2020.
  28. "What religious leaders think of Pr. Bugingo". www.newvision.co.ug. Retrieved 14 May 2020.
  29. ""Pastor Bugingo is teaching heresy about marriage – Flee", Rev. Onesimus Asiimwe | Church of Uganda". churchofuganda.org. Archived from the original on 28 February 2020. Retrieved 21 May 2020.
  30. "Bugingo: Pastors speak out". www.newvision.co.ug. Retrieved 14 May 2020.
  31. "Bugingo: Pastors speak out". www.newvision.co.ug. Retrieved 14 May 2020.
  32. "Bugingo is mine and will return – Teddy Naluswa". www.newvision.co.ug. Retrieved 14 May 2020.
  33. "Pastor Bugingo's wife Teddy Naluswa opens own church". Flash Uganda Media (in English). 6 January 2020. Retrieved 14 May 2020.{{cite web}}: CS1 maint: unrecognized language (link)
  34. "Teddy Bugingo Starts Own Church". ChimpReports (in American English). 7 January 2020. Retrieved 21 May 2020.
  35. "He is a disgrace! Five pastors leave Bugingo, join wife's new church". PML Daily (in American English). 7 January 2020. Retrieved 21 May 2020.
  36. "Video: Bugingo quizzed by minister Nakiwala over child neglect". Nile Post (in American English). 18 September 2019. Retrieved 14 May 2020.
  37. "Pastor Bugingo Finally Parades Off Heavily Pregnant Suzan Makula, With Reports of Expecting Twins". Accurate Uganda News,Leaks,Politics, Entertainment,Travel ,Rwanda-Uganda Conflict and Special Reports (in American English). 7 January 2020. Archived from the original on 25 March 2022. Retrieved 14 May 2020.
  38. Jamal, K. Y. (2021-06-14). "Pastor Bugingo Reportedly Battling with Covid -19". Celeb Patrol UG (in American English). Archived from the original on 2021-11-15. Retrieved 2021-11-15.