Jump to content

Aloysius Mukasa

Bisangiddwa ku Wikipedia
Aloysius Mukasa
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya eriweereddwaAloysius Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimumunnabyabufuzi, musuubuzi Kyusa
Ekifo ky'alimumubaka wa palamenti Kyusa
GyeyasomeraNdejje University Kyusa
Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuziNational Unity Platform, People Power, Our Power Kyusa

Aloysius Mukasa TG (yazaalibwa 1983) Munnayuganda omutandisi wa bizinensi, munnabyabufuzi era omubaka mu Paalamenti akiikirira Rubaga South, mu Disitulikiti y'e Kampala mu Paalamenti ey'ekumineemu okuva mu 2021 okutuuka 2026. Y'omu ku bammemba b'ekibiina ekivuganya gavumenti ekya, National Unity Platform (NUP) ng'era muwagizi nnyo w'enjogera ya People Power, Our Power movement.[1][2][3]

Mukasa yatandika okulwanirira eddembe ly'obuntu ng'akyali ku yunivasite y'e Ndejje. Ng'akyakolera wansi w'ekisinde kya People Power, yatona ambyulensi eri abantu ba Rubaga South okubawa obujjanjabi obw'obwangu n'okutambuza abalwadde abatalinda.[4][5][6]

Mukasa yawangula beyali avuganya nabo abalala 14 okufuuka omukiise mu Paalamenti owa Rubaga South mu Kampala nga yawangula n'obululu 49,501.[7][8] Wabula obuwanguzi bwe bwawakanyizibwa omu ku baali beesimbyewo Eugenia Nassolo eyawandiika ebbaluwa eri kkooti enkulu ng'agisaba okusazaamu obuwanguzi ng'amulumiriza okubeera nga yali talina bipapula byabuyigirize.[9]

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu Uganda ky'afulumya empapula z'obuyigirize nga kisinziira kukusaba kwa looya wa Nassolo, nga biraga nti yali yagwa ebigezo bya S6, ekyamufuula okubeera nga yali tagwanidde kubeera mukiise mu Paalamenti.[10][11][12] Okusaba kw'okujulira kwagyibwayo mu kkooti enkulu oluvannyuma Mukasa n'asigalayo mu kifo kye ng'omubaka mu Paalamenti.[13][14]

Yalayizibwa ng'omubaka mu Paalamenti akiikirira Rubaga South nga 19 Ogwokutaano 2021.[15] Mu Paalamenti, yalondebwa kubukiiko omuli ''Equal Opportunities Committee'' n'akavunaanyizibwa kunsonga z'omubuvanjuba bw'Afrika.[16][17]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Good- job Mp favorite Aloysius Mukasa delivers Lubaga South leaders to Bobi". News Editor. Retrieved 3 December 2021.
  2. Nakintu, Jovitah. "ALL IS SET FOR MONEY-MAGNET MUKASA ALOYSIUS TO SWEAR IN AS LUGABAGA SOUTH MP 2021-2026". News Editor. Retrieved 3 December 2021.
  3. "Mukasa Aloysius Talton Gold - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org. Retrieved 9 February 2023.
  4. Nassamba, Florence. "Mukasa eyalondeddwa e Lubaga adduukiridde bakateeyamba b'e Nalukolongo". The World News. Retrieved 3 December 2021.
  5. Hon. Aloysius Mukasa agamba ababaka ba Palamenti balina omululu gwa ssente okusinga n’abalonzi babwe, retrieved 9 February 2023
  6. "Omubaka Aloysius Mukasa agabye amazzi agoobwereere ku lunaku lw'abaagalana". New Vision. Retrieved 9 February 2023.
  7. "Nine nominated in Rubaga South". The Independent. Retrieved 3 December 2021.
  8. "Mukasa Aloysius Talton Gold: Candidate for Constituency Representative (MP) - Rubaga South Division". Visible Polls. Retrieved 3 December 2021.
  9. Kazibwe, Kenneth. "Court accepts new evidence challenging Aloysius Mukasa's election". The Nile Post. Retrieved 3 December 2021.
  10. "NUP MP Mukasa UACE Results Shock Nation". Red Pepper. Retrieved 3 December 2021.
  11. "Why Rubaga South MP-elect Aloysious Mukasa likely to lose seat over academic documents". The Whisper Eye. Retrieved 3 December 2021.
  12. Kazibwe, Kenneth (24 August 2021). "Court accepts new evidence challenging Aloysius Mukasa's election". Nile Post. Retrieved 9 February 2023.
  13. Ntezza, Michael. "Rubaga: Nassolo Withdraws Petition Against Aloysius Mukasa". Chimpreports. Retrieved 3 December 2021.
  14. Kazibwe, Kenneth (2 September 2021). "Petition challenging NUP's Aloysius Mukasa election withdrawn". Nile Post. Retrieved 9 February 2023.
  15. "WATCH: Aloysius Mukasa sworn in as Rubaga South MP". The New Vision. The New Vision. Retrieved 3 December 2021.
  16. "MEMBERSHIP OF THE EQUAL OPPORTUNITIES COMMITTEE (2021-2022)" (PDF). Parliament of Uganda. p. 2. Retrieved 7 December 2021.
  17. "Committee on East African Community Affairs". Parliament Watch. Retrieved 7 December 2021.