Jump to content

Alubbaati Ansitayini

Bisangiddwa ku Wikipedia
Alubbaati Ansitayini (1947)

Albert Einstein yali kakensa Munnassomabutonde (physicist) eyasooka okugereesa nti “buli kintu kusinziira” (everything is relative) era n'agamba nti :

(i)Okuva(motion) kusinziira ku busangiro (its position) bwa kintu n’obusangiro bw’omulabi.

(ii)Amasoboza(Energy) gasinziira ku nzitoya(mass)M

Ng’akkaatiriza endowooza ye ey’obusinziiro (relativity) , yayongera n’agereesa nti amasoboza nago gasinziira ku nzitoya (energy is also relative to the mass of an abject). Ekintu gye kikoma okubaamu enzitoya ennene(big mass) gye kikoma okubaamu amasoboza amatereke (potential energy) amangi.

Ekyo kye kiyitibwa Ekigereso kya Albert Einstein eky’Obusinziiro (Albert Einstein’s Theory of Relativity). Einstein yatondekawo ne nakyenkanyampuyi eraga ekigereeso kye.

Nakyenkanyampuyi ya albert Einstein ey’obusinziiro egamba nti:

"Amasoboza (energy) genkanankana Enzitoya (mass) nga okubisizzaamu emisinde gy’ekitangaala egya kyebiriga" (speed of light squared).


Waliwo abayivu Einstein be yatuukirira okubategeeza ku kigereeso kye kyokka ne bagezaako okumulemesa n’okumujja ku mulamwa n’alemerako ng’agamba nti “Its because of those who said no to me that I am doing it myself”.

Oluvannyuma kyazuulibwa nti ekigereeso kye kyali kituufu , abo abaali bamugyereegerera ne bafotooka.

Tovanga ku mulamwa kasita oba nga wekkirirzaamu olw'ekyo ky'Oliko !!!