Jump to content

Amaanyi g’Enjuba

Bisangiddwa ku Wikipedia
Solar punnel

Amaanyi g’enjuba kye kitangaala n’ebbugumu ebiva ku Njuba. Amaanyi ago ge gakozesebwa mu ngeri ng’okufumba, okuwa ekitangaala n’okukola emirimu emirala egy’enjawulo egy’ekikugu nga tweyambisa tekinologiya ow’engeri ez’enjawulo. Amaanyi gano ga buttoned era weegali mu bungi. Ky’ova olaba nga gettanirwa nnyo. Ekitongole kya Amerika eky’eby’Enkulaakulana, United Nations Development Programme kyakola okunoonyereza mu 2000 ne kizuula nti amaanyi g’enjuba gali mu kigero ky’obungi obwenkana 1,575–49,837 exajoules (EJ). Ekigero ekyo kisingira wala nnyo obungi bw’amaanyi obukozesebwa mu nsi obuwera nga 559.8 EJ nga bwe kyalabibwa mu mwaka gwa 2012. Mu mwaka gwa 2011, Ekitongole ky’Ensi yonna ekikola ku Amaanyi agakozesebwa mu nsi, International Energy Agency kyagamba nti tekinologiya w’amaanyi g’enjuba agataggwaawo ate nga si ga buseere, bw’anaakulaakulanyizibwa obulungi tujja kuganyulwa nnyo. Kyayongerako nti tekinologiya ono ajja kusobozesa ensi obuteeraliikirira bikwata ku Maanyi nga balina amaanyi g’enjuba agatasalako era ge tutasobola kumalawo; kikendeeza ku kucaafuwaza obutonde, kikendeeza ku lubugumu olungi oluzze mu nsi n’emiganyulo emirala mingi. Ekitongole ekyo kigamba nti nti emiganyulo egyo gituuka mu buli nsi. [1]

Emiganyulo gy’amaanyi g’enjuba

[kyusa | edit source]

Amaanyi g’enjuba tusobola okugakozesa ebintu bingi. Tusobola okugakozesa okufumba amazzi. Kino kikolebwa nga tukozesa ekyuma ekifumba amazzi ekikolera ku maanyi g’enjuba. Amaanyi g’enjuba era tusobola okugakozesa mu kufumba ne mu kugera ebbugumu. Mu Amerika, emirimu gy’okufumba n’okugera ebbugumu bikozesa amaanyi agaweza ebitundu 30% ku maanyi agakozesebwa mu bizimbe by’ebyobusuubuzi.

Ebifumbisa amaanyi g’enjuba bikozesa kitangaala kya njuba okufumba era n’okukaza. Waliwo n’ebikozesebwa mu kufumba ebikozesa amaanyi g’enjuba. Ekifumba ekikozesa amaanyi g’enjuba kyasooka kukolebwa Horace de Saussure mu 1767.

Ekirala ekikolebwa ku maanyi g’enjuba kwe kulongoosa amazzi. Okulongoosa amazzi kuno kukolebwa mu ngeri ya kufumba n’okusengejja nga bw’olaba bwe bafumba waragi okuva mu mwenge. Kino kikolebwa nga baddira obucupa obulimu amazzi ne bussibwa mu kasana okumala ebbanga eriwera. Eccupa zino zissibwa mu kasana okumala ebbanga okusinziira ku kasana akabaayo. Ebbanga liyinza okubeera wakati w’essaawa 6 n’ennaku ebbiri. Ekitongole ky’Ebyobulamu ekyensi yonna kisemba enkola eno. Abantu obukadde nga 2 mu nsi ezikyakula bakozesa enkola eno okulongoosa amazzi gaabwe ag’okunywa.

Amasannyalaze

[kyusa | edit source]

Amaanyi g’enjuba era tugafunamu amasannyalaze. Amasannyalaze g’enjuba gaggyibwa mu kitangaala kya njuba. Kiteeberezebwa nti omwaka gwa 2050 we gunaatuukira, amasannyalaze g’enjuba ge gajja okusinga okukozesebwa mu nsi okusinga amasannyalaze ag’ebika ebirala. Amaanyi g’enjuba era gakozesa ne mu tekinologiya w’ebyokulima.

Entambula

[kyusa | edit source]

Okuviira ddala mu myaka 1980, waliwo kaweefube abaddenga akolebwa okukola ebidduka ebikozesa amaanyi g’enjuba. Waliwo Ssettendekero ez’enjawulo mu nsi ezizzenga zeetaba mu kaweefube ono ow’okuwanira okuvuga ebidduka ebikolera ku maanyi g’enjuba. Tunajjukira nti ne mu Makerere University, waliwo abayizi abaakola bbaasi esaabaza abantu ng’ekolera ku maanyi g’enjuba (Kiira EV). Waliwo kaweefube akolebwa okulaba nti omulimu ogwo gukulaakulanyizibwa mu ggwanga. N’emiganyulo emirala mingi egiri mu mu kukozesa amaanyi g’enjuba. Emiganyulo gino gijja kugenda nga gyeyongera okusinziira nga tekinologiya bw’agenda akulaakulanyizibwa.

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Solar_energy