Jump to content

Amasannyalaze ag'entagenda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Charles Muwanga Obutafaanana nga masanyalaze gabeera mu mugendo , "amasannyalaze ag'omugendo" (current electricity), amasanyalaze agali mu kiwummulo (static electricity) gasigala mu kifo kimu.

static electricity

Ddira baluuni erimu omukka ojikuube ku mpale oba ku nviiri zo. Bw’omala ogiteeka waggulu ku kisenge. Baluuni ejja kusigala yekutte waggulu ku kisenge ku bwayo. Siba obuwuzi ku nkomerere ya bbaluuni bbiri bwe ziti bw’omala okuubaganye balooni zino wamu ng’ozikwatidde ku buwuzi oziriraniganye. Buli emu ejja kuviira endala.

Okukuubaganya bbaluuni kiziwa amasanyalaze agatatambula agayitibwa amasannyalaze ege'entagenda(Static electricity). Bw’okuuba bbaluuni ku kintu ekirala nga enviiri zo oba empale, efuna obusannyalazo obulala okuva mu kintu ekyo ky’ojikuubyeko n’efuuka eya kyagi eya negatiivu. Kyagi oba ekisannyalazo ekya negatiivu mu baluuni kyesikira ku kyagi za pozitiivu mu kisenge.

Bbaluuni ebbiri eziri ku buwuzi zombi zirina kyaagi za negatiivu. Kyagi za negatiivu zesindikaganya (repel) okuva ku kyagi za negatiivu era mu ngeri y’emu kyagi za pozitiivu nazo zezekandula okuva ku kyagi za pozitiivu. N’olwekyo negatiivu kyagi eza bbaluuni zombi zesendika zeyongerayo buli emu okuva ku ndala.

Amasanyalaze ag'entagenda nago gakuba. Ssinga oyita ku kiwempe nga bwokululakulula ebigere byo ate n’okwata ku kintu eky'ekyuma, wayinza okubaawo ensasi(sipaaka) wakati wo n’ekintu eky'ekyuma. Bw’okulula ebigere byo ku kiwempe kireetawo okuyingiza obusannyalazo(electrons) obulala mu mubiri gwo gwonna era singa okwata ku kompyuta oyinza okugireetela okwononeka.

Ekika ekirala eky’amasanyalaze ekyewunyisa kye kya laddu oba ekimyanso mu kire ky’enkuba.

Ebire bifuna kyagi eya negatiivu olw’obukerenda bw’omuzira obuli munda mu kire okukuubagana. Mu kiseera kye kimu, ku ttaka, kyagi ya pozitiivu yeyongera. Ebire byeyongera okufuna kyagi ey’amaayi n’ekivaamu obusannyalazo(electrons) okwekubuuka mu bire okudda eri kyagi za pozitiivu ku ttaka oba okuva ku ttaka okudda mu kire oba okuva mu kire ekimu okudda mu kirala. Kino kireetawo ensansi(sipaaka) ey’amaayi ey’amasanyalaze ag'entagenda mu kikaayi /u lubaale (sky). Kino kye kireetawo ekimyansuko n'ekire okuvaamu eggulu okubwatuka.