Amasomo ga sayansi(Scientific fields of study)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Weetegereze obuwango obusookeso(prefixes) obw'Oluganda buno::


(i)Essoma..prefix = essomo lya... , kivvuunulwa "study of..."

(ii)Eby...prefix = ebyenjigiriza oba ebikolebwa ebya ... kivvuunula "study of .."


Obuwango buno bwe buyinza okuyamba oluganda okuzimba ebigambo by'amasomo ga sayansi agasinga obungi , omuli na gano:


(a) Essomampimo oba essomankula oba ebyempimo(geometry)

(b) Essomabuziba oba ebyobuziba (Chemistry)

(c)Essomabutonde oba essomabuzimbe oba ebyobuzimbe (Physics)

(d)Essomabiramu oba "ebyebiramu"(Biology),kyokka "ebyobulamu"(health education)

(e) Essomabibuuka(Aeronautics)

(f)Essomansi(Geography)

(g)Essomabwengula(Astronomy)

(h) Ekinonoozo(engineering), omunonooza(engineer) ; Ekitambuzo (mechanics)


Emiramwa gya sayansi emirala emikulu mu Luganda:


(i) Empalirizo (Force)

(ii) Amasoboza , ekitegeeza amaanyi agasobozesa (energy)

(iii) Okuva (motion), omugendo(linear motion),amateeka ga Newton ag'Okuva (Newton'sLaws of Motion)

(iv) Obuwangaaliro(environment) ,ekitegeza obutonde bw'ensi mwe tuwangaalira

(v) Entababutonde(ecology)

(vi)Entababiramu(biomes)

(vii)Entababimera(vegetation)

(viii) Entuumo y'ebimera (biomass)

(ix) Entabamuliro(Combustion)

(x) Entababantu oba entabaganyabantu oba "entabganya" (Human society), entababuvo(community)

(xi)Essomabulamu obusirikitu(microbiology) , essomabulamu bwa nsolo(animal biology), essomabulamu bwa bimera (plant biology)

(xii) Essomabuzaale(Genetics) , obusekese(chromosomes) ,Endagabutonde(DNA),Endagabuzaale oba Ennambuzaale(Genes), Ennabuzaale ennemu (mutated genes),

(xiii) Omulengera (the human mind)