Jump to content

Amayengo g'Omugendo gw'amasannyalaze n'Ebyebulungulo bya magineeti

Bisangiddwa ku Wikipedia
electromagnetic radiation

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! "Amayengo g'omugendo gw'amasannyalaze n'ebyebulungulo bya Magineeti" era oyinza okugayita "amayengo g’erakitomagineeti" (electromagnetic waves) .

Amayengo gano , okwawukana ku g’amazzi, geewuunyisa kubanga gayinza n’okuyita awatali muyitiro(medium) gwonna. Kino kiba kitegeeza nti go gayita ne mu kyangaala (vacuum).

Bwe njogera ku kyangaala mba sitegeeza bbanga kubanga n’awali ebbanga wayinza okubaawo ekintu mu kikula ky’empewo oba ggaasi, omuli obutoffaali obwa watomu (atoms) ne molekyu (molecules).

Ejjengo ly’ekitangaala liba n’amasoboza ageyoleka ng’ebyebulungulo by’amasanyalaze ne magineeti (electric and magnetic fields). Ebyebulungulo bijugumila ku maweto (angles) amesimbu nga bidda ejjengo gye liraga ne ku maweto amesimbu okuva ku ddala.

Amayengo g’ekitangaala gatambulira mu bipimo bya njawulo. Buli jjengo lirina” ekipimo kya:

• Obuwanvu.

Buno bwe buwanvu obuli wakati wa punkuti (point) emu n’endala oba punkuti ebbiri eziddiringana okuva ku ntikko emu okudda ku ndala oba okuva ku kiwonvu ekimu okudda ku kirala.

• Amasoboza.

Ejjengo gye likoma obuwanvu gye likoma n’okuba n’amasoboza amatono.

• Enziring’ana (frequency).

Ejjengo gye likomya obumpi gye likoma n’okuba n’amasoboza agali waggulu ate era gye likoma n’okuba n’enzirinagana eri waggulu.