Amazzi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jump to navigation Jump to search
Michael Melgar LiquidArt resize droplet.jpg

Yangtze gwe mugga ogusinga obuwanvu mu China era nga gwe gwo'kusatu mu nsi yonna. Emigga egisinga obuwanvu mulimu, Amazon mu South America ne Nile mu Afirika. Ku nsi kuliko ensulo z'amazzi obusiriivu obukadde 326. Wansi w'ebitundu bisatu ku buli kikumi (3%) eby'amazzi gano malungi era ku muwendo guno ebitundu bibiri ku bisatu gasangibwa mu bitundu ebirimu omuzira. Olw'amazzi amangi agatwetoolodde oyinza okulowooza nti gatumala okukozesa emyaka bukadde na bukadde. Naye obadde okimanyi nti amazzi ago ge tulaba ng’amangi gasobola okutubulako mu lunaku lumu?[1]

Bungi ki obw'amazzi agali ku nsi?[kyusa | edit source]

Tusooke tubeeko bye tumanya ku bikwata ku mazzi agali ku nsi. Amazzi gavaamu amasannyalaze. Omugaso gw'amazzi ogusinga kwe kutuwa amasannyalaze okusinga ensulo endala yonna evaamu amaanyi. Amazzi kintu kya butonde era tegaliimu kakicya yenna.

Engeri y’Okukuuma amazzi[kyusa | edit source]

Tetusobola kukola mirimu gyaffe egya bulijjo nga okwoza ebintu, engoye oba okukozesa kaabuyonjo nga tetulina mazzi.

Amazzi galituggwaako?[kyusa | edit source]

Kisanyusa okulowooza nti amazzi kintu kya butonde naye era tulina okumanya nti enkozesa y’ekintu etasalako erina ky’eyinza okututuusaako. Kiteeberezebwa nti omwana gwa 2025 we gunaatuukira, ensi ezisinga obungi ku ssemazinga wa Afrika ne Asia, mugenda kubaamu ebbula ly'amazzi olw'omuwendo gw'abantu n’obwetaavu bw’amazzi obutasalako.

  1. http://wwf.panda.org/about_our_earth/teacher_resources/webfieldtrips/water/