Jump to content

Amelia Kyambadde

Bisangiddwa ku Wikipedia
Amelia Kyambadde.jpg

Amelia Anne Kyambadde munnabyabufuzi mu Uganda. Yaliko Minisita w’Ebyobusuubuzi, Amakolero n’Ebibiina by’obwegassi mu Gavumenti ya Uganda. Yalondebwa ku bukulu obwo nga 6 Ogwomukaaga 2016.[1] Yaweerezaako nga Minisita w’Ebyobusuubuzi n’Amakolero wakati wa 27 Ogwokutaano 2011 ne nga 6 Ogwomukaaga 2016 .Yalya ekifo kino ng’asikira Kahinda Otafiire, ayali alondeddwa nga Minisita w’ebyamateeka ne Ssemateeka. Amelia Kyambadde yaliko omubaka mu Paalamenti ya Uganda wakati wa 2011 ne 2021 ng'akiikirira abantu b’omu bukiikakkono bw’essaza ly’e Mawokota mu disitulikiti y’e Mpigi.


Ebyafaayo

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu mwezi Gwomukaaga 1955, nga kitaawe ye mugenzi Serwano K. Kulubya ne nnyina ye Mary Kafureka, mu kitundu ekiyitibwa Guildford, Surrey, e Bungereza. Eyo gye yaggyibwa okudda e Uganda, mu 1959, nga wa myaka ena egy’obukulu.[2]

Obuyigirize

[kyusa | edit source]

Yatandikira okusoma kwe ku Gayaza Primary School mu Disitulikiti y’e Wakiso, Ssekendule yagisomera ku Sacred Heart High School mu Disitulikiti y’e Gulu. Oluvannyuma lwa ssekendule yeegatta ku Aga Khan School of Secretarial Studies e Nairobi- Kenya. Amelia Kyambadde alina ddiguli esooka mu by’okuddukanya ebyenfuna (Bachelor of Business Administration), okuva ku Ssettendekero Makerere ( Makerere University),Ssettendekero asinga obukadde mu Uganda anti yatandika mu mwaka 1922. Amelia alina ne ddiguli ey’eddaala eryokubiri mu byenfuna(Master of Business Administration), gye yafunira ku Ssettendekero wa American InterContinental University e London, mu Bungereza.[3]

Gy’akoledde

[kyusa | edit source]

Yatandika okuweereza nga omukozi wa gavumenti ya Uganda mu 1979, nga wa myaka amakumi abiri mu ena (24).Yalinnyisibwa eddaala n’afuuka omuwandiisi w’Omukulembeze w’eggwanga ow’ekyama mu mwaka 2010; Oluvannyuma yasalawo n’alekulira ekifo ekyo nga aluubirira okwesimbawo ku kifo ky’omubaka akiikirira abantu b’omu Bukiikakkono bw’essaza ly’e Mawokota mu disitulikiti y’e Mpigi. Mu kulonda kwa Uganda okwa bonna okwaliwo mu 2011, Amelia yawangula ekifo ekyo era nga na kati y’akirimu. Nga ennaku z’omwezi 27 Ogwokusatu 2011, yalondebwa okuweereza eggwanga nga Minisita w’ebyobusuubuzi n’amakolero.[4]Ate nga 6 Ogwomukaaga 2016 yalondebwa okubeera, Minisita w’Ebyobusuubuzi, Amakolero n’ebibiina by’Obwegassi.[5]

Ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Amelia Anne Kyambadde mukyala mufumbo era bba ye Wilson Kyambadde era nga baafumbiriganwa nga 1976. Balina ezzadde lya baana bataano. Ye muyima era omutandisi w’ekitongole ky’obwannakyewa ekiyitibwa Twezimbe Development Foundation (TDF), ekyatandikibwawo okukulaakulanya abantu b’ekitundu kyeyali akiikirira.[6]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. Kavuma Kaggwa (23 November 2014). "What We Should Include In Uganda's New Constitution". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 22 December 2014.
  2. Ssempijja, David (3 August 2010). "Why Amelia Kyambadde Is Leaving State House for Peasants". New Vision (Kampala). Archived from the original on 2014-12-22. Retrieved 22 December 2014. {{cite web}}: Unknown parameter |dead-url= ignored (|url-status= suggested) (help)
  3. Kyambadde, Amelia (2010). "Profile of Amelia Anne Kyambadde". Amelia-Kyambadde.Org. Archived from the original on 27 January 2016. Retrieved 22 December 2014.
  4. Parliament of Uganda (2011). "The Work History of Kyambadde Amelia Anne". Kampala: Parliament of Uganda. Archived from the original on 22 December 2014. Retrieved 22 December 2014.
  5. Uganda State House (6 June 2016). "Uganda's New Cabinet As At 6 June 2016". Scribd.com. Retrieved 13 June 2016.
  6. TDF, . "About Twezimbe Development Foundation". Twezimbe Development Foundation (TDF). Archived from the original on 2014-12-18. Retrieved 22 December 2014. {{cite web}}: Unknown parameter |dead-url= ignored (|url-status= suggested) (help)CS1 maint: numeric names: authors list (link)