Jump to content

Andrew Kaggwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Andrew Kaggwa (oba Andrea Kaahwa) (1856 – Ogwokutaano 26, 1886) yali Munnayuganda Omukatoliki Omujulizi eyattibwa olw'okukkiriza kwe. Y'omu ku B'akirisitu abangi abattibwa Ssekabaka Mwanga II wakati wa 1885 ne 1887. Ye yali Omukulu w'abakubi ba bbandi ya Ssekabaka Mwanga Omugowa.

Yabatizibwa nga 30 Ogwokuna 1882 nga yabatizibwa Père Simon Lourdel M.Afr. (amanyiddwa nga Faaza Mapera) e Nabulagala.

Olunaku lwe yafa, yakwatibwa kuva wuwe, era naatwalibwa ewa Mukajanga, eyalagira abassi okumusalako omukono. Omukono gwa Kaggwa gwasalibwako era negutwalibwa ewa Mukasa bwe baali tebannaba ku musalako mutwe n'oku mutemaatema mu ebitundutundu e Munyonyo. Yafa misana ku Lwokusatu lwa 26 Ogwokutaano, 1886.

Kaggwa ye Muwolereza W'abasomesa ba katekiisimu, abasomesa n'amaka. Yoomu ku bajulizi ba Uganda abajjulirwa Ku Lunaku Lw'abajulizi.

Ebiyungo eby'ebweru

[kyusa | edit source]