Angelina Atyam

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Angelina Acheng Atyam yazaalibwa mu mwaka gwa 1946 nga munayuganda omulwanirizi w'eddembe ly'abantu era omuzaalisa.[1] Mu mwaka gwa 1996, muwala wa Atyam n'abawala abalala 138 baawambibwa okuva mu somero lya Aboke abayeekera abaali basibuka mu kibinja kya Lord's Resistance Army (LRA). Atyam yatandikawo ekibiina kya ekyaali kyegatibwamu abazadde ekya ''Concerned Parents Association'' okulaba ng'abaana abaali bakwatiddwa nga bateebwa okuva mubuwambe, ng'era yeeyali akola ng'omwogezi w'ekibiina kino, eyatambula ng'okugenda mu Bulaaya ne mu Amerika. Mukumusiima olw'emirimu gyeyali akoze, yaweebwa ab'ekibiina ky'amawanga amagate ekirabo ky'okubeera omu kubaali abalwanirizi b'eddembe ly'abantu mu mwaka gwa 1998.[2] Atyam yaddamu n'asisinkana muwala we mu mwaka gwa 2004.[3]

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Yazaalibwa ye Angelina Acheng mu Bobi, mu ggwanga lya Uganda mu mwaka gwa 1946, Atyam alina ensibuko ly'eggwanga lya Luo. Muzaalisa omutendeke, yasenga mu Lira oluvannyuma lw'okufumbirwa George Atyam, n'azaala abaana mukaaga okwali abalenzi basatu ssaako n'abawala basatu. 

Ng'enaku z'omwezi 10 mu mwezi ogw'ekumi, mu mwaka gwa 1996, yakitegeera nti muwala we Charlotte, ng'ebiseera ebyo yalina emyaka 14, yali omu kubawala 139 abaali bawambiddwa okuva musomero lya St Mary's Catholic boarding school mu Aboke nga batwalibwa abayeekera okuva mu kibiinja kya Lord's Resistance Army (LRA). Okwebaza amaanyi n'obuvumu omukulmebezze w'esomero bweyateekamu, Sister Rachel, eyabgoberera nga batwalibwa munsiko, 109 kubano baateebwa oba baasobola okubataasa. Charlotte yali omu kubawala 30 abatasobola kutaasibwa; baatwalibwa nebayingizibwa mu Sudan y'omubukiika kkono (southern Sudan), nga baali bakusigala mubuwambe bw'ekibiinja kino ekya LRA okumala emyaka egyaali kiddako. Atyam, eyali omukatuliki omugundiivu, yakizuula nti muwala we yali yakwatibwa aduumira ekibiinja kyabayeekera ekya LRA Rasca Lukwiya nga mukazi we, yakyalira maama wa Lukwiya mu kyalo ekyaali kirinaanyeewo, naamumatiza nga bweyali omwetegefu okusonyiwa mutabani we, famire yabwe, ekika kyabwe wamu n'abantu b'ekika kyabwe bonna.[4]

Ng'ali wamu n'abazadde abalala, Atyam yatandikawo ekibiina ekyali abazadde abafaayo ekya 'Concerned Parents Association'. Nga omwogezi wakyo era eyali akola ennyo okulaba atuuka kukiruubirirwa ky'ekibiina, yagenda mubukiika ddyo bwa Uganda okukomyawo omukwano. Amaanyi ge mu kufalasira gavumenti ya Uganda okuteesa n'ekibiinja ky'abayeekera ekya LRA okuleka abaana bebaali bakute byagaanibwa, kubanga abakungu baagaana okuyingira enteeseganya n'abatujju. Yasaakaanya ensonga ye okwetooloola Bulaaya yonna wamu ne Amerika.[5]

Atyam n'okulwanirira okulaba ng'abaana abawala abaali baawambibwa byatekebwa kumpewo leediyo ez'enjawulo wamu n'abamawulire abalala. Puleesa eyavaamu yawaliriza eyali akulira ekibiinja ky'abayeekera ekya LRA Joseph Kony okukiriza okuleka Charlotte okugenda oba okumutta wabula kukakwakulizo kamu nti Atyam yakiriza okulekeraawo okukuba kakuyege. Yategeeza nti yali wakukikola singa abawala abalala 30 baatebwa. Tewali ntegeregana yatuukibwako. Oluvannyuma yanyonyola nti: "mungeri emu abaana baafuuka omu mu Charlotte. Tetuyinza kusika ngeri emu ate netuleka endala .... Abaana abo bonna baali baafuuka bange."[4]

Abamu ku abo Atyam beyasaba obuyambi yeeyali pulezidenti wa Uganda Yoweri Museveni, gavumenti y'e Sudan, naabakyala wa Amerika oba mukyala wa pulezidenti wa Amerika Hillary Clinton, abali mu kakiiko akakola amateeka mu Amerika aka United States Congress, n'ebitongole by'amawanga amagate.[2] Amaanyi gano geyasaamu gaavirako aba US Congress okuyisa eteeka eryali livumirira okuwambibwa kw'abaana b'omu Uganda, n'okutegeeza Sudan okuleka abo abaali bakyali mubuwambe badde ewaabwe .[6]

Mu mwaka gwa 1998, Atyam yafuna ekirabo okuva mu mawanga amagate ekyaali kimusiima okubeera nga yali alwanirira eddembe ly'abantu. Ng'enaku z'omwezi 23 mu mwezi ogw'ekumi ,mu mwaka gwa 2002, yaloopa mu kakiiko k'amawanga amagatte akavunaanyizibwa mu by'okwerinda olw'obutabanguko obwali buleteddwa ab'akabiinja ky'abayeekera abaali beegatira mu LRA. Yategeeza akakiiko nti mu myaka 17, abaana 14,000 baali bawambiddwa aba LRA mu bukiika ddyo bwa Uganda, ng'abaana bano baali bakiikirira amagye g'abayeekera bano ebitundu 85 ku 100.[7] Abo abaali mu buwambe baakakibwa ng'okulwana muntalo nebabaleetera okuta wamu n'okutuusa obuvune kubaana abalala abaali abajaasi. Bangi baatusibwako ogw'obuliisa maanyi era nebazaala abaana.[8] Mukaseera k'okubaleka okugenda, ekitundu kubaana bano baalina akawula kamukenenya oba obulwadde bwa siriimu oba enddwadde ezifunibwa nga ziyita mu mwegata. Banji kubano famire zaabwe zaagana okubakiriza oba okubaaniriza.[7]

Okuyuuka mu mwaka gwa 2004, nga wadde okuwambibwa kwali kugenze kukendeera,kyali kitebeerezebwa nti abakazi 2,000 n'abaana baali bakyali mu mikono gy'abayeekera ba LRA, nga bakakibwa okubeera abajaasi n'abaddu b'okweyambisa mu by'obukaba oba okwegadaanga.[8]

Mu mwezi ogw'omusanvu mu mwaka gwa 2004, Atyam yaddamu okubeera ne muwala we Charlotte eyali yatolose okuva mu ba LRA ng'ali ne mutabani we eyalina emyaka 5. Mutabani we ow'emyaka 2 naye yazuulibwa olunaku lwelumu.[9]

Atyam ajukirwa ol'obubaka bwe obwali busonyiwa. yawakanya okusalawo kwa gavumenti ya Uganda okukozesa amagye okugonjoola ekizibu kya LRA, olw'oba kyaloi kirina abaana nga bajaasi banji mu madaala g'abayeekera ba LRA. "Tulowoozo okusonyiwa," yayogera olumu, " kubanga singa tetusonyiwa bayeekera bano, tuteeka mukono kundagaano yakufa eri abaana bafe." Nga kati yawumula, abeera mu bukiika ddyo bwa Uganda.[10]

Laba ne[kyusa | edit source]

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.wikidata.org/wiki/Q19829171
  2. 2.0 2.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.hrw.org/news/1998/12/10/hrw-hails-un-award-ugandan-advocate
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.theglobeandmail.com/news/world/a-mothers-plea-for-a-missing-daughter/article4086510/
  4. 4.0 4.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://faithandleadership.com/we-forgive
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.un.org/press/en/1998/19981210.hr4395.html
  6. {{cite book}}: Empty citation (help)https://books.google.com/books?id=9VeI76JSJZAC&pg=PA87
  7. 7.0 7.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.peacewomen.org/sites/default/files/ngowgtwoyearson.pdf
  8. 8.0 8.1 {{cite book}}: Empty citation (help)https://books.google.com/books?id=VJJVDwAAQBAJ&pg=PA57
  9. {{cite web}}: Empty citation (help)https://reliefweb.int/report/uganda/uganda-mothers-tears-joy-she-reunited-daughter-and-grandchildren
  10. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230321182303/https://mcccanada.ca/stories/11-days-peace-angelina-atyam