Angella Katatumba
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Yazaalibwa nga | 21 Gwakubiri (Mukutulansanja) 1989 |
| Gy'azaalwa | Yuganda |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | singer |
| Gyeyasomera | Katatumba Academy Senior School, Oxford Brookes University |
| Instrument | voice |
Angella Franklin Keihongani Katatumba (yazaalibwa nga 21 Ogwokubiri 1989) Munnayuganda omuyimbi, omuwandiisi w'ennyimba, omugabi w'obuyambi, omukungu ye era omusuubuzi.[1][2]
Obuto bwe n'obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Angella yazaalibwa nga 21 Ogwokubiri 1989 mu Nairobi, Kenya. Muwala w'omubaka wa Pakistan mu Uganda, Omukenkufu Boney Mwebesa Katatumba ne Gertrude Katatumba omutandisi wa AFK Beauty Clinic esangibwa e Kabalagala. Angella alina muganda we omuwala omu ayitibwa Rosemary ne bannyina musanvu; Allan, Dennis, Rugiirwa (omulongo wa Angella), Colin (omugenzi), Ken, Ian ne Jay.
Pulayimale yagisomera mu Uganda ku Katatumba Academy nga tannagenda ku Belmont Senior Secondary School e Vancouver, B.C Canada, gye yafunira dipulooma mu nkolagana y'abantu. Oluvannyuma yagenda ku Oxford Brookes University, England gye yafunira diguli mu by'enfuna n'amateeka. Era gye yafunira diguli eyookubiri mu nkolagana y'abantu. Oluvannyuma yagenda mu Chicago, Illinois, gye yakolera.[3]
Nga Angella azzeyo e Uganda, yatandika okukola ng'akulira abakozi ku wooteri ya taata we eyitibwa Diplomaté. Taata we bwe yafa mu 2017, yakola ng'omubaka wa Pakistan mu Uganda okumala emyaka ebiri okutuusa Pulezidenti wa Pakistan Oweekitiibwa Mamnoon Hussain lwe yalonda omuntu omulala.
Okwongereza ku kuyimba, Angella yatandikawo ekitongole ky'obwannakyewa ekiyitibwa Angella Katatumba Development Foundation (AKDF) ekiwagira pulojekiti za Angella ez'okuyimba.
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2010 olukiiko lw'e Bungereza lu British Council lwalonda Angella ng'omumuli gw'enkyukakyuka mu mbeera y'obudde mu Uganda.
Nga 23 Ogwokutaano 2016, Angella yayitibwa omuwandiisi w'ekitongole ky'ensi yonna Ban-Ki Moon, okwetaba wamu n'okwolesa ku mukolo gw'ensi yonna ogwali gusookedde ddala okubaawo ogwali gutunuulira embeera za bantu e Istanbul, Turkey.
Nga 28 Ogwekkuminoogumu 2016 Angella yayitibwa omukago gw'amawanga g'Afrika okukiikirira Uganda mu lukungaana olwokuna olubeerayo buli mwaka olukwata ku nkola z'abantu e Nairobi, Kenya.
Nga 9 Ogwomwenda 2017, Angella yayolesa e Bungereza mu Austria, omwoleso ogwali gutuumiddwa ‘African Gala’ ku nguudo za Längenfeldgasse 13-15 1120, Vienna.
Ennyimba ze
[kyusa | kolera mu edit source]- Supernatural Girl(2020)
- I Live For You (2021)
- Wendi (2022)
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Atukunda, Rogers (29 August 2022). "Angella Katatumba Announces New Music Album 'Masterpiece'". SoftPower News. Retrieved 12 July 2023.
- ↑ "Vocalist Angella Katatumba, Masters Records unveil 'Masterpiece' album". PML Daily. 30 August 2022. Retrieved 12 July 2023.
- ↑ "How I keep fit Angella Katatumba: Artiste, managing director, Hotel Diplomat". Monitor. 2021-01-07. Retrieved 2026-07-13.