Jump to content

Anita Among

Bisangiddwa ku Wikipedia

Anita Annet Among yazaalibwa 23 Ogwekkuminogumu 1973. Munnayuganda, mubalirizi w'ebitabo, munnamateeka era munnabyabufuzi nga ye Sipiika wa Paalamenti ya Uganda ey'ekkuminemu okuva mu 2022.[1][2] Mu kiseera kye kimu ye mubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Bukedea, ekifo kye kimu ky'abaddemu okuva mu Paalamenti ey'ekkumi (2016–2021).[3] Yali mu kibiina kya FDC nga taneegatta ku kibiina kya NRM ekiri mu buyinza mwe yalondebwa ng’omumyuka wa Sipiika wa Paalamenti ey’ekkumi. Era ye mumyuka wa sipiika omukyala ow'okubiri mu byafaayo bya Paalamenti ya Uganda nga yadda mu bigere bya Rebecca Alitwala Kadaga.[4] Erinnya lye lyayogerwako mu kwemulugunya okw’okutulugunya kwa gavumenti ya Uganda okwaweebwayo mu kkooti y’ensi yonna.[5]

Ye mutandisi wa Bukedea Comprehensive Academy, essomero ly’ekisulo eryatandikibwawo mu 2018, nga Academy eno, esangibwa mu Disitulikiti y’e Bukedea,[6] era esomesa emisomo gy’eby'emikono ne mu mutwe okwongereza ku pulogulaamu z'eby'enjigiriza.[7]

Era ye mutandisi wa Bukedea Teaching Hospital ne Bukedea Comprehensive Sports Park ebyagulwawo Pulezidenti Museveni mu 2024.[8][9]

Obuto bwe n’okusoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Among yazaalibwa mu Ssaza ly'e Bukedea, Disitulikiti y'e Kumi, kati eyafuuka Disitulikiti y'e Bukedea nga 23 Ogwekkuminogumu 1973 mu maka agaalimu abaana 48 - nga baganda be abasinga baali bawala. Yasomera mu masomero ag’omu kitundu mu pulayimale era ku mutendera guno, yayolesa amagezi eg'ekikka eky'awaggulu bwe yabuusibwa ebibiina okuva mu P.1 okutuuka ku P.3 n’oluvannyuma n’abuusibwa okudda mu P.5.

Emboozi ya Anita eraga okusoomoozebwa okungi abawala abato kwe basanga mu kufuna obuyigirize naddala mu bitundu obufumbo gyebusoosowazibwa okukira ebirala byonna. Wadde nga yasomanga bulungi, kitaawe yali ayagala afumbirwe ng’amaze okutuuka mu P.7 kubanga yye yali asinga kutwala nte ng’ekikulu okusinga okussa ssente mu kumuweerera. Kino kyaviirako Anita okudduka mu maka ga kitaawe era bwatyo n’atandika okukola ng'omukozi w'awaka mu maka ag’enjawulo.

Olw’okuba yali muto mu mulimu ogwo, yafunanga okusomoozebwa kungi omuli n’okugezaako okumusobyako omu ku bba ba mugandawe y'ennyini ekyamuwalirizza okuddamu okudduka awaka kyokka nga tewali yali amubuuza ku by’okweyongerayo okusoma.

Mu zimu ku mboozi ez'akafubo Anita zeyakola, yagamba nti, nalina okukiriza nti "nze nina okubeera omuyivu asinga mu maka ga kitange" era leero ayimiridde ng'obujulizi ku maanyi g'eby'enjigiriza agakyusa n'amaanyi ageetaagisa okuvvuunuka enkola z'obuwangwa ezisimbye amakanda ennyo.

Yatikkirwa mu kuddukkanya bizinensi eya Bachelor of Business Administration okuva mu Ssettendekero wa Makerere mu 2005. Mu 2008, yaweebwa diguli ey'okubiri eya Masters of Business Administration,nga nayo yagifunira ku Ssettendekero wa Makerere.[10]

Mu 2018, Among yatikkirwa mu Kampala International University, bweyafuna diguli mu Mateeka.[11] Mu kiseera ekyo yali mu nteekateeka y'okufuna ebisaanyizo by'okubeera omubalirizi w'ebitabo bya Gavumenti ajjudde.[10]

Okuva mu 1998 okutuuka 2006, Among yakolerako mu Banka ya Centenary, emu ku banka z'eby'obusuubuzi mu ggwanga ng'alongoosa bweyali mu luwummula lwe owa Siniya ey'omukaaga. Obumalirivu n'okulafuubana kweyayolesa kwamusobozesa okufuna omulimu gw'okukwata sente. Mu 2006 ekiseera weyaviirayo, yali asuumusidwa n'atuuka ku ddaala erya akulira ettabi. Emyaaka ekkumi egy'agidirira okulondebwa kwe mu Paalamenti, yali aweerezaako ng'omusomesa mu by'obubalirizi, mu bbanguliro ly'abannabizinensi erya Makerere University Business School ne Kampala International University.[10]

Mu kulonda kwa babaka ba Paalamenti okw'emirundi ebiri mu 2007, Disitulikiti y’e Bukedea bwe yatondebwawo, ne mu 2011, Among yawagulwa Rose Akol ku kifo ky'omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ng'ono wa kibiina kya National Resistance Movement (NRM) .[3]

Among, ng'aludde mu kibiina ky’eby'obufuzi ekivuganya gavumenti ekya Forum for Democratic Change (FDC), yeesimbawo mu 2016 ng’avuganya ku bwa nnamunigina. Yawangula era ye mubaka wa Paalamenti aliyo.[3]

Mu 2020, yegatta ku kibiina kya National Resistance Movement (NRM) oluvannyuma lw’okuva mu kibiina kye ekya FDC[12][13]n’awangula mu kamyuufu. Mu kulonda kwa bonna okwa 2021, Among y’omu ku babaka abatono abayitamu nga tavuganyiziddwa okwegatta ku Paalamenti ey'ekkuminemu newankubadde ng’obuwanguzi bwe bwalimu okusika omugwa olw'okuba akakiiko k’eby'okulonda kalemesa abamu ku baali bamuvuganya okusunsulwa.[14][15][16][17][18][19][20]

Mu Paalamenti ey'ekkumi, Among yaweereza ng’omumyuka wa Ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku bukiiko, ebitongole ebifuga amateeka n’ebitongole bya gavumenti (COSASE).[3][10][21]

Among yalangirira okuvuganya kwe ku ky’omumyuka wa Sipiika wa Paalamenti ya Uganda ey'ekkuminemu.[22][23][24][25]

Among yalondebwa nga Sipiika wa Paalamenti ya Uganda omugya nga 25 Ogwokusatu, 2022 [1] ng'adda mu bigere bya Jacob Oulanyah, eyafiira mu Seattle, Washington . [26][27][28][29]. Mu 2023, yakubiriza ba mmemba ba Paalamenti okuwagira ebbago epya erigamba nti omuntu okweyita LGBT kimenya mateeka era ayinza okusibwa emyaka kkumi.

Envumbo ez'amuteekebwako ez’ensi yonna

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 30 Ogwokuna 2024, offiisi ya Bungereza ekwasaganya ensonga z’ebweru yalangirira envumbo ku Anita Among n’abakungu ba Uganda abalala babiri ab’oku ntikko mu okusinziira ku nkola yaayo ey'ensi yonna ey'okulwanyisa obuli bw'enguzi olw'okwenyigira mu buli bw'enguzi obw'amaanyi, kyamuviirako okusiba eby'obugagga bye n'okuwera entambulaze.[30][31] Nga 30 Ogwokutaano 2024, Among n'abakungu ba Uganda abalala abawerako baatekebwako envumbo okuva mu Dipaatimenti ya America ku misango gy'okulya enguzi.[32]

Ebikwata ku Famire ye

[kyusa | kolera mu edit source]

Among ne bba Moses Magogo Hassim balina omugogo gw'abalongo, ekimuyisa Nnalongo mu Uganda. Yamwanjulira bazadde be ku mukolo gw’obufumbo ogw’ennono. Ono era kigambibwa nti alina omwana ow'obulenzi n'omu ku bakungu ba Forum for Democratic Change mu Buggwanjuba bwa Uganda, Patrick Baguma Atenyi.[33]

 

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

https://trumpetnews.co.ug/2024/06/12/omwogezi-mu-ndi-mugezi-nnyo-namaliriza-primary-mu-myaka-3-yabuuka-okuva-p1-okudda-p5/ https://chimpreports.com/anita-mu-mu-nbagaana-okunnyonnyolwa-by-adversity/

  1. 1 2 "NRM's Anita Among beats Opposition's Basalirwa to become Speaker,after gathering a total number of 401 valid votes against 66 votes scored by her opponent Asuman Basalirwa in a speaker election held on 25th March 2022 at Kololo independence grounds Kampala". Monitor (in Lungereza). 2022-03-25. Retrieved 2022-03-25.
  2. "Speaker of Parliament". Parliament of Uganda. Retrieved 2023-03-22.
  3. 1 2 3 4 Kiggundu, Edris (21 September 2016). "MP Among's rise, connections leave key questions unanswered". Archived from the original on 2 December 2021. Retrieved 27 March 2021.
  4. "Home". Parliament of Uganda. Retrieved 2025-03-31.
  5. "Speaker Among named in fresh ICC torture petition". Monitor (in Lungereza). 2023-07-23. Retrieved 2023-08-29.
  6. "Museveni: Anita Among is a 'Good Independent' MP". ChimpReports (in American English). 2019-04-28. Retrieved 2024-08-21.
  7. Betsy, Norah (2021-11-08). "Bukedea Comprehensive Academy, New Curriculum Implementation, Teaching and Learning Resources, ICT Club, Staff Professional Development". KAWA Uganda (in American English). Archived from the original on 2024-08-21. Retrieved 2024-08-21.
  8. "Among's teaching hospital opens". Monitor (in Lungereza). 2024-01-15. Retrieved 2025-08-10.
  9. https://en.wikipedia.org/wiki/Stadium
  10. 1 2 3 4 Parliament of Uganda (2022). "Parliament of Uganda: office of the speaker [Anita Among]". Parliament of Uganda. Archived from the original on 7 January 2019. Retrieved 2022-08-16.
  11. Mujuni, David (23 June 2018). "MP Anita Among Graduates From KIU". Campusbee Uganda. Retrieved 6 January 2019.
  12. https://en.wikipedia.org/wiki/Centenary_Bank
  13. https://en.wikipedia.org/wiki/Centenary_Bank
  14. "Voters petition EC over Bukedea MP's academic papers". Daily Monitor (in Lungereza). 27 October 2020. Retrieved 2021-04-03.
  15. George Okello (1 November 2020). "Bukedea Woman MP Anita Among unopposed as EC cancels nomination of her six rivals". PML Daily News. Retrieved 3 April 2021.
  16. https://ugandaradionetwork.net/story/two-women-aspirants-blocked-from-nomination-in-bukedea
  17. "Anita Among's Unopposed Victory Hanging On Thin Thread As Court Of Appeal Decides". East News. 2020-12-17. Archived from the original on 2021-04-13. Retrieved 2021-04-03.
  18. https://www.independent.co.ug/court-declines-to-order-ec-to-degazette-mp-anita-among/
  19. "MP Anita Among's opponent cries foul after she is declared unopposed in Bukedea". Nile Post (in American English). 2020-10-31. Retrieved 2021-04-03.
  20. "BREAKING! Court upholds EC's decision to Gazette MP Anita Among as "unopposed"". PML Daily News. 2021-03-23. Retrieved 3 April 2021.
  21. Dicta Asiimwe; Halima Abdallah (5 January 2019). "'Let us do our job,' opposition tells Uganda's Speaker". Retrieved 6 January 2016.
  22. "MP Anita Among Declares Bid for Deputy Speaker Slot". The Kampala Post. Retrieved 2021-04-03.
  23. "Battle for Deputy Speaker job heats up as minister joins race". Daily Monitor (in Lungereza). 3 February 2021. Retrieved 2021-04-03.
  24. "Deputy speaker's race: Bukedi MPs ask Oboth Oboth to do more consultions". The Independent Uganda (in American English). 2021-03-18. Retrieved 2021-04-03.
  25. "Seven Eyeing Deputy Speakers Job in Parliament". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2021-04-03.
  26. https://www.newvision.co.ug/articledetails/129819/oulanyah-died-before-accessing-treatment---ac
  27. "Museveni explains why he delayed Oulanyah death announcement". New Vision (in Lungereza). 20 March 2022. Retrieved 2022-03-25.
  28. "Speaker Oulanyah dead". New Vision (in Lungereza). 20 March 2022. Retrieved 2022-03-25.
  29. "L'Ouganda Débat d'un Projet de Loi Rendant Illégale l'Identification LGBTQ". 10 March 2023. Archived from the original on 11 November 2023. Retrieved 24 March 2024.
  30. "UK sanctions corrupt politicians in Uganda who stole from vulnerable communities". GOV.UK (in Lungereza). Retrieved 2024-05-02.
  31. "Financial Sanctions Notice 30/04/2024" (PDF).
  32. "US sanctions Uganda's parliament speaker and others over corruption and rights abuses". Associated Press (in Lungereza). 30 May 2024. Retrieved 2024-05-30.
  33. Stephen Kalema (2019-09-20). "PROFILE: All eyes on Anita Among as Bukedea MP becomes most powerful woman politician". Watchdog Uganda (in British English). Retrieved 2022-08-16.

Ebijuliziddwamu w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]