Ann Maria Nankabirwa
| Ekikula | mukyala | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Ann, Maria | |
| Yazaalibwa nga | 20 Gwakutaano(Muzigo) 1975 | |
| Gy'azaalwa | Uganda, Kyankwanzi | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | legislator, engineer, munnabyabufuzi | |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda, District Woman Representative | |
| Disitulikiti mwalondera | Kyankwanzi | |
| Gyeyasomera | Hocking College | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Ekibiina kya National Resistance Movement | |
| Okwesiimbawo kwe mu kalulu | Akalulu ka Uganda aka 2026 | |
| Mmemba wa | 12th Parliament of Uganda | |
Ann Maria Nankabirwa yazaalibwa nga 20 Ogwokutaano 1975. Munnayuganda munnabyabufuzi era yinginiya.[1][2] Ye yali omubaka omukyala akiikirira Disitulikitti y'e Kyankwanzi mu Paalamenti ya Uganda ey'omwenda n'eyekkumi.[1][3][4][5][2]
Ali mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement.[1][2] Yesimbawo ku kifo ky'omubaka omukyala owa Kyankwanzi ku kisanja kya 2021–2026 wansi w'ekibiina eky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement mu Paalamenti ya Uganda ey'ekumineemu, naye, ne ba muwangula mu kalulu.[6]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Wakati w'omwaka gwa 1996 ne 1998, yafuna Dipulooma okuva mu Uganda Polytechnic Kyambogo.[1] Mu 1998 okutuusa mu 2000, bamutikira diguli ya Bachelors in Cheremic Enginery Technology okuva mu Hocking College.[1] Mu 1999, yamaliriza satifikeetti mu kompyuuta okuva mu Yunivasite ya ASM e Texas.[1] Mu 2012, yewandiisa okusoma eby'amafuta (Certificate in Oil and Gas Management Leadership) okuva mu Australian Aid.[1] Alina satifikeetti mu Attractive Industries Management (2014) okuva mu CPA.[1]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Nga tannaba kuyingira byabufuzi
Mu 2002–2006, Ann yaweereza ng'omukubiriza wa Youth Leadership and Entrepreneurship Program ku kakiiko k'abavubuka aka National Youth Council.[1] Mu mwaka gwe gumu (2002-2006), era yaweereza nga Kansala omuvubuka omukyala owa Disitulikti.[1] Okuva mu 2002 okutuusa mu 2003, yali akola ng'omuwandiisi ku Disitlikitti y'e Kiboga ow'akakiiko ka Gender and Community Development.[1] Mu 1998 okutuusa mu 2002, Yaddayo mu National Youth Council n'akola ng'omuwandiisi w'ebyenfuna.[1] Mu 2012, yaweereza mu Paalamenti ya Uganda ku kakiiko ka ba mmemba abalondebwa ku nsonga za NSSF.[1] Mu 1999, yakolera ku Uganda Clays Limited nga Cheremic Technician.[1] Wakati wa 2011 ne 2016, ye yali sentebbe DISM w'akakiiko k'ebyenguudo mu Disitulikiti y'e Kyankwanzi mu Gavumenti z'ebitundu. Mu 2002, yatandika okukolera ku Kigoma Farm nga dayirekita adukanya emilimu.[1] Wakati wa 2015 ne 2000, yeegatta ku National Resistance Movement nga sentebbe wa Disitulikiti y'e Kyankwanzi mu NRM.[1]
Eby'obufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva Mu Gwokuttaano 2011 okutuusa 2021, yaweereza ng'omubaka wa Paalamenti mu Paalamenti ya Uganda.[1] Yaweereza nga mmemba ku kakiiko ka Natural Resources Committee.[7] Amanyikiddwa okwasanguza ebikolwa by'obuli bw'enguzi.[3] Mu kiseera ky'okugya ekkomo ku myaka, abakulembeze ba NRM abamu baamuvumirira olw'okukulemberamu okuyisa ekiteeso kya NRM eky'okuggya ekkomo ku myaka ku bwa Pulezidenti mu Disitulikiti era ekiteeso ekyo kyayisibwa era ne kirangirirwa nga 4 Ogwomusanvu.[8][9]
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mufumbo.[1][2] Okuzanya emizannyo n'okuwuliriza muziki by'akola mu biseera bye eby'eddembe.[1] Alina okwagala okungi mu bibiina by'abakyaala eby'enkulaakulana era ne mu Kkanisa.[1]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Olukalala lwa ba mmemba ba Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi
- Olukalala lwa ba mmemba ba Paalamenti ya Uganda ey'omwenda
- Kyankwanzi
- National Resistance Movement
- Paalamenti ya Uganda
Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipediya
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 "Parliament of Uganda". www.parliament.go.ug. Archived from the original on 2021-04-29. Retrieved 2021-04-02.
- 1 2 3 4 "NANKABIRWA MARIA ANN". NRM - NETTECH RELIABLE MEDIA (in American English). Archived from the original on July 31, 2021. Retrieved 2021-04-02.
- 1 2 "Could this be why Nankabirwa isn't popular in NRM?". Daily Monitor (in Lungereza). Retrieved 2021-04-02.
- ↑ "We are committed to the payment of Ugandan traders – South Sudan Speaker". PML Daily (in American English). Retrieved 2021-04-02.
- ↑ "Govt sets aside UGX41b to compensate traders who lost goods in South Sudan". PML Daily (in American English). Retrieved 2021-04-02.
- ↑ "MARIA NANKABIRWA ANN, Aspiring Woman MP 2021-2026, KYANKWANZI". www.ugandadecides.com (in Lungereza). Retrieved 2021-04-02.Template:Dead link
- ↑ "Chief whip under attack over committee deployment". The Independent Uganda (in American English). 2019-07-10. Retrieved 2021-04-02.
- ↑ Kaaya, Sadab Kitatta. "NRM split over Museveni age limit". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2021-04-02.
- ↑ "Anne Maria Nankabirwa – theinsider.ug" (in American English). Archived from the original on 2021-08-01. Retrieved 2021-04-02.
- CS1 American English-language sources (en-us)
- CS1 Lungereza-language sources (en)
- Bannabyabufuzi ab'ekibiina kya National Resistance Movement
- Ba mmemba ba palamenti ya Uganda eyomwenda
- Ba mmemba ba palamenti ya Uganda eyekkumi
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda Abakyala
- Abaakiika mu Palamenti ya Uganda ey'omwenda
- Abaasomera ku Kyambogo University
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'omwenda