Jump to content

Anna Bitature Mugenyi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Anna Bitature Mugenyi
Munabyamateeka era omulamuzi omunayuganda Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamukyala Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waAnna Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waUganda Kyusa Wikidata
Omulimumunnamateeka, judge Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raSsettendekero wa Makerere Kyusa Wikidata

Anna Bitature Mugenyi ( amanyiddwa nga Anna Bitature) Munnayuganda mulamuzi owa kooti enkulu eya Uganda okuviira ddala mu Gwokutaano 2016.[1]

Obuvo bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa era n'asomera mu Uganda mukusoma kwe okwa wansi. Yafuna dipulooma ye okuva mu siniya okuva ku Mount Saint Mary's College Namagunga, nga lino lisomesa bawala bokka ate abali mu kisulo mu disitulikiti eyitibwa Mukono kati.[2]

Yafuna diguli mu by'amateeka (LLB) okuva mu setendekero wa Makerere, ng'eno yunivasite ya gavumenti esinga okubeera enkadde era enene. Mu 1993, yafuna dipulooma mu by'okukola nga munamateeka okuva mutendekero lya Law Development Centre, mu Kampala, ekibuga ky'eggwanga ekikulu, awo oluvannyuma n'atwalibwa kutendekero lya Uganda Bar, okutandika okukola nga munnamateeka.[3] Oluvannyuma, yafuna diguli ye ey'okubiri mu by'okudukanya bizineensi okuva mu tendekero lya Eastern and Southern African Management Institute.[2]

Munnamateeka Bitature alina obukugu mu by'amateeka n'okudukanya eby'emisolo. Yakola ng'omumyuka wa kamisona ku kitebe ky'Eggya lya Uganda ekikulu ekya Uganda People's Defence Forces (UPDF), ekisinziira ku kitebe kyabwe ekisinganibwa e Mbuya. Oluvannyuma yaweebwa omulimu ab'ekitongole ekiwooza omusolo mu Uganda ekya Uganda Revenue Authority (URA), gyeyali akolera ng'omumyuka wa kamisona, okutuusa weyaweebwa omulimu mu kooti ya Uganda enkulu ng'omulamuzi.[3] Yateekebwa mu bavunaanyizibwa ku byenteeseganya mu kooti enkulu.[4]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ Aine, Kim (9 May 2016). "Museveni Swears In New Judges". Kampala: Chimp Reports Uganda. Retrieved 25 January 2019.
  2. 1 2 Bitature, Anna (2014). "Anna Bitature: Assistant Commissioner Tax Investigations at Uganda Revenue Authority". Linkedin.com. Retrieved 25 January 2019.
  3. 1 2 Uganda Law Society (December 2014). "Lawyers' Directory: Member: Anna Mugenyi Bitature". Kampala: Uganda Law Society. Archived from the original on 26 January 2019. Retrieved 25 January 2019.
  4. ↑ Judiciary of Uganda (15 August 2017). "The Honorable Judges Of The High Court". Kampala: Judiciary of Uganda. Retrieved 25 January 2019.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipidiya

[kyusa | kolera mu edit source]