Jump to content

Anne Atai Omoruto

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Anne Deborah Atai Omoruto (22 Ogwekkuminogumu 1956 okutuusa nga 5 Ogwokutaano 2016) yali Munnayuganda, musawo wa famire, omusawo omukugu mu nddwadde zonna, era musomesa. Mu 2014, yakulemberamu abasawo 12 okuva mu Uganda ng'abakugu ab'egatta ku kitongole ky'ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organization okulwanyisa okubalukawo kw'ekirwadde kya Ebola mu Liberia.[1]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti ye Kumi nga 22 Ogwekkuminogumu 1956. Yasomera ku Dr. S.N. Medical College, Jodhpur, mu India, nga yatikkirwa ne Diguli mu busawo n'okulongoosa. Oluvanyuma, yatikkirwa okuva ku Settendekero wa Makerere University School of Medicine ne Diguli ey'okubiri eya Master of Medicine in internal medicine.[2][3]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Atai yali ssentebe wa dipaatimenti y'abasawo ba famire ku somero ly'abasawo erya Makerere University Medical School era nga bw'aweereza nga ssentebe wa Dipaatimenti y'abasawo abakwasganya enddwadde z'abulijjo ku Ddwaliro eddene erya Mulago National Referral Hospital.

Okubalukawo kw'ekirwadde kya Ebola mu 2014

[kyusa | edit source]

Mu Gwomusanvu 2014, Omoruto yasabibibwa ab'ekitongole kya World Health Organization okuyambako mu kulwanyisa ekiradde kya Ebola ekyali kibaluseewo mu Liberia. Yagenda ne tiimu y'abasawo 12 okuva mu Uganda. Era nga batendeka abasawo abasoba mu lukumi ku nggeri y'okwasaganyamu abalwadde ba Ebola n'okukuatangira okusaasana.

Obulwadde n'okufa kwe

[kyusa | edit source]

Anne Atai Omoruto yafa nga 5 Ogwokutaano 2016 ku myaka 59. Okufa kwe kigambibwa nti bw'ava ku Kkookolo w'akalulwe.[4][5]

Ebikwata ku Famile ye

[kyusa | edit source]

Yali Maama w'abaana bataano Wamala Francis, Kiyai Dorothy Esther Ndiko, Ariong James Oscar, Atai Elisabeth Mary ne Acom Victoria Ruth.[6]

Ebirala ebikulu

[kyusa | edit source]

Ekitongole kya World Organization of Family Doctors (WONCA) kitandiisewo sikaala mu linnyalye. Dr Atai Anne Deborah Omoruto Scholarship Award nga ziweebwa abakyala abasawo okuva mu African'addala eb'enfuna entono. Awaadi zino zisobozesa abasawo abazifunye okwetaba mu nkiiko ttabamiluka eza WONCA ezibeerawo buli luvanyuma lw'amyaka ebiri.[7]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]