Jump to content

Anne Kabagambe

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Anne Namara Kabagambe Munnayuganda omukugu mu by'enfuna ate era mukungu eyali Ssenkulu wa International Bank for Reconstruction and Development Group ye Bank y'ensi yonna eyasooka mu Africa. Obudde buno akola nga mmemba ku ku lukiiko olufuzi olwa Barrick Gold Corporation.

Obulamu bwe n'ebyensoma

[kyusa | edit source]

Kabagambe yazaalibwa Kisoro, mu ttawuni esangibwa mu bukiika ddyo w'obugwanjuba mu Uganda okuliraana ensalo ya Rwanda ne Democratic Republic of Congo, nga ye mwana ow'omunaana ku baana 12 eri omukungu wa Gavumenti eri maama ow'awaka.[1][2] Yamaliriza Siniya mu Uganda nga tannagenda mu ggwanga lya America eyo gye yafunira ddiguli ye eyasooka okuva mu University of California at San Diego.[3] Yafuna ddiguli ey'okubiri mu nkolagana y'amawanga okuva mu Columbia University ne mu nkologana y'abantu okuva mu George Washington University. Era yafuna Dipulooma ez'enjawulo mu nkogana y'amakampuni okuva mu ssomero lya John F. Kennedy School of Government ku Ssettendekero wa Harvard, n'eyobukulembeze mu Cranfield School of Management.[4]

Emirimu

[kyusa | edit source]

Emirimu egyasooka ne African Development Bank

[kyusa | edit source]

Kabagambe yatandika emirimu gye ng'akiikirira ekibuga New York ku by'okusuubulaziganya n'enkulakulana mu China, India ne Middle East.[1] Yakolako n'ekitongole ky'amawanga amagatte wamu n'ekitongole ky'amawanga amankuseere mu kibuga New York.[4] mu 1989, Kabagambe yeegatta ku African Development Bank, eyo gye yafuukira omukulembeze ow'okuntikko.[5] Yakola ne ttiimu eyakola ennyo okukwanaganya enteekateeka empanvu ezaakola ennyo okutembekenza akatyabaga k'ebyenfuna mu 2007-2008 wamu n'amawanga g'obugwanjuba bwa Africa okulwanyisa obulwadde bwa Ebola.[2] Mu mwezi ogusooka 2016, yeegatta ku lukiiko olukulu olwa Africa-America Institute.[4]

Bank Y'ensi yonna

[kyusa | edit source]

Mu gwekkuminogumu 2018, Kabagambe yalondebwa nga Ssenkulu wa World Bank Group mu Africa ng'akiikirira Botswana, Burundi, Eritrea, Eswatini, Ethiopia, Gambia, Kenya, Lesotho, Liberia, Malawi, Mozambique, Namibia, Rwanda, Seychelles, Sierra Leone, Somalia, South Sudan, Sudan, Tanzania, Uganda, Zambia and Zimbabwe—oluvannyuma lw'okukola ssenkulu w'ettunduttundu lino.[6] Yafuuka omukyala ow'okubiri okutwala ekifo kino oluvannyuma munna Ethiopia [7] Kabagambe era akola nga ssentebe w'olukiiko lwa Bank y'ensi yonna akola ku by'embeera z'obuntu.[8] era mmemba ku lukiiko oluvanaanyizibwa ku by'enteekerateekera y'ebyensimbi olukulaakulanya abantu.[2]

Obulamu bwe

[kyusa | edit source]

Kabagambe alina omutabani, William Teli Muhumuza Keita Kabagambe. Amanyi bulungi nnyo okwogera Olungereza ne Olufaransa.[9]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 https://web.archive.org/web/20130707065214/www.afdb.org/en/news-and-events/article/women-of-the-afdb-11593/
  2. 2.0 2.1 2.2 https://www.ifc.org/wps/wcm/connect/430b0890-382e-46af-b04a-be00f365d863/Trailblazers_Portraits_of_Female_Business_Leadership_in_Emerging_and_Frontier_Markets.pdf?MOD=AJPERES&CVID=mQCNgtt
  3. https://www.worldbank.org/en/about/people/a/anne-kabagambe
  4. 4.0 4.1 4.2 "Archive copy". Archived from the original on 2023-06-08. Retrieved 2023-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.afdb.org/fileadmin/uploads/afdb/Documents/Publications/AR2014/AR2014-append-EN.pdf
  6. "Anne Kabagambe élue au Conseil d'administration de la banque mondiale".
  7. https://www.worldbank.org/en/about/leadership/directors/eds14/photogallery
  8. Edwards, Sophie (7 November 2019).
  9. https://live.worldbank.org/experts/anne-kabagambe

Template:S-start Template:S-dip Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-inc Template:S-end