Jump to content

Anne Kansiime

Bisangiddwa ku Wikipedia
Anne Kansiime
Munnayuganda omuzannyi wa firimu era munnakatemba Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamukyala Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeYuganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waAnne Kyusa Wikidata
Erinnya lya famireKansiime Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga13 Gwakuna(Kafuumuulampawu) 1986 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waMparo, Rukiga Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimuactor, writer, television producer Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raSsettendekero wa Makerere Kyusa Wikidata
GyabeeraKampala Kyusa Wikidata
Ebbanga ly'a­ko­led­de (oku­tan­di­ka)2007 Kyusa Wikidata
Official websitekansiimeanne.ug Kyusa Wikidata
IMDb IDnm10487827 Kyusa Wikidata

 Kansiime Kubiryaba Anne yazaalibwa 13 Ogwokuna mu1986, ng'asinga kumannyikwa nga Anne Kansiime, Munnayuganda asannyusa abantu, azannya komedi n'okuzannya ffirimu. Emikutu gya Afrika egisinga gyamukazaako erya 'Naabagereka w'Ebisesa mu Afrika".[1][2][3]

Ebimukwatako n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Mparo, enaku zino gyebayita disitulikiti y'e Rukiga, mu kitundu ky'omubugwanjuba bwa Uganda. Mu kaseera beyazaalibwa, Mparo kyali kitundu ku disitulikiti y'e Kabale. Kitaawe yali akola mu baanka, ng'ate maama we yali mukyala eyali takola ng'asiiba waka. Kansiime yasomera ku Kabale Primary School, Siniya ye ey'okuna n'ey'omukaaga yabisomera ku Bweranyangi Girls' Senior Secondary School e Bushenyi. Alina diguli mu bukwatagana ku bantu neebibetoloode gyeyafuna okuva ku yunivasite y'e Makerere.[1][4]

Okuzannya Katemba

[kyusa | kolera mu edit source]

Okutandikira mu 2007, ng'akyasomera ku yunivasite y'e Makerere, Kansiime yatandika okwetaba mu kuzannya katemba n'ekibiina ky'okusiteegi kyebaali bayita ''Theatre Factory,'' abaazannyira nga ku Uganda National Theatre mu kibuga kya Kampala wakati. Ekibiina kino ekya Theatre Factory bwekyasaanawo, yeegata ku kyebaali bayita Fun Factory, ekyali kikididde kiri mu bigere. Ekibiina kino kizannya buli Lwakuna ekawungeezi. Obutundu obusinga okunyuma baabulaga nga ku mukutu gwa NTV Uganda mu pulogulaamu ya 'Barbed Wire ey'oku ttivi eyakyusibwa erinya oluvannyuma nebaguyita U-Turn. Yakwatagana ne Brian Mulondo nga bakola nga bakondakita ba takisi abasoya ebibuuzo mu pulogulaamu y'obutundu eyitibwa 'MiniBuzz' nga bafuna embeera gyebakubaganyako ebirowoozo nga bali n'abasaabaze.[4]

Okusinziira ku bibuuzo byebamusoya ebyakwatibwa ku butamba mu 2014, Anne yatandika okuteeka komedi we gw'azze azannya ku mukutu gwa 'YouTube'. Yafuna obuwagizi okuva mu bantu abaamuzaamu amannyi nebamukubiriza okwongerayo okuteekayo vidiyo endala. Okuvaayo kwe n'amannyikwa nnyo kwajja ku mukutu gwa Citizen TV okuva kumulirwaano e Kenya ogwamuwa akakisa k'okubeera ng'afulumya, azannyira n'okwolesa komedi we omulundi gumu buli wiiki. Wano weyagira pulogulaamu gyebaali bayita tozannyisa Kansiime ''Don't Mess With Kansiime'' eyali eya komedi.[5] Okutuuka mu 2014 Ogwekuminoogumu, omukutu gwe ogwa 'YouTube' gwaali gufunye abalabi abasoba mu bukadde 15. Vidiyo zze ku 'YouTube' zifuna abalabi enkumi n'enkumi, ng'abaddeko ne ku pulogulaamu gyebayita 'BBC Focus on Africa'. Azannye katemba mu mayumba agajudde obulungi mu bitundu okuli; Blantyre, Gaborone, Kigali, Kuala Lumpur, Lagos, Lilongwe, London, Lusaka ne Harare.[3]

Ebirala by'atekako essira

[kyusa | kolera mu edit source]
Ann Kansiime nga alimubulamu bwe ewaka

Wadde alina emirimu gy'okuzannya katemba, Kansiime asigadde azannya katemba n'okutalaaga ng'omuzannyi wa komedi. Engeri Kansiime gy'azannyamu komedi we, esira asinga kuliteeka ku bulamu bwe obw'obuntu. " Njagala nnyo okwogera ku bintu ebigenda mu maaso mu bulamu, kubanga kibeera kigenda kubeera kyanjawulo ng'ate kyaddala.'," bw'agamba. Yafumbirwa Gerald Ojok, enzaalwa za Acholi. Mu 2017, Ogwekuminoogumu, baayawukana mu mateeka. Tebaalina baana, okutuusa mu 2015 Ogwokubiri. Mu kaseera ako, yali munteeka teeka yakumaliriza lutaambi lwaliko nnyimba z'abaana, lweyali agenda okufulumya oluvannyuma mu 2015.[3]

Omwaka Firimu oba akazannyo k'obutuundu ku ttivi Yazannya ng'ani Ogwali omulimu gwe
2018 Girl From Mparo[6] Anne Kansiime Sitcom
2014 Don't Mess With Kansiime Kansiime – Protagonist
2022 Kanseeme Reality Show
2024 Juniors Drama Club Sitcom

Engule oba Awaadi

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Yasiimbibwa mu bitiibwa aba SIIKETV Rising Star Academy Awards, the "Queen of Comedy" 2018[7]
  • Comedy YouTube Sub-Saharan Africa Creator Award 2016[8]
  • Mukyala eyasinga okuzannya komedi mu 2016[9]
  • 'Teeniez Funniest Comedian' mu mwaka gwa 2016[10]
  • African Entertainment Awards USA, Engule y'asinga okuzannya komedi mu 2015[11]
  • Rising Star – Omuzannyi wa komedi eyasinga mu 2015[12]
  • Engule ya African Oscar Award ku lw'omuzannyi wa komedi asinga okwagalwa mu 2015[13]
  • Engule ya Nollywood & African People's Choice, ku lw'omuzannyi wa komedi eyali asinga okwagalwa mu 2015[14]
  • YouTube silver play button 2015[15]
  • AIRTEL Women of Substance Awards 2014[16]
  • BEFFTA 2013 (Omuzannyi wa komedi eyali asinga) Yawangula[17]
  • Lagos International Festival 2013 (Omuzannyi wa katemba omukyala eyali asinga)[18]
  • Yawangula engule mu Social Media Awards (Omuntu omumannyifu eyali asinga okwagalwa)[19]
  • African Social Awards Malaysia (ASAM) – 2013[20]

Okuyamba abataliiko mwasirizi

[kyusa | kolera mu edit source]

Anne Kansiime ng'ayita mu kibiina kye ekiyamba abataliiko mwasirize ekiyitibwa, 'The Kansiime Foundation', ayamba abaana abeetaaga obuyambi nga bagezi ng'abakwatirako okusigala musomero. Kati ayamba abaana abasoba mu 35 mu masomero ga pulayimale ne siniya.

Bizineensi zze

[kyusa | kolera mu edit source]

Anne Kansiime alina bizineenzi y'okwewumuzaamu. Adukanya kyebayita 'Kansiime Backpackers' esingaanibwa ku myalo gy'enyanja ya Bunyonyi, kwebalengerera enyanja eno mu disitulikiti y'e Kabale mu Uganda.

Ebujjuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 http://allafrica.com/stories/201307040088.html
  2. https://web.archive.org/web/20150204083110/http://www.cimamag.com/kansiime-anne-ugandas-queen-of-comedy/
  3. 1 2 3 http://allafrica.com/stories/201412082748.html
  4. 1 2 https://web.archive.org/web/20160303222718/http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Ann-Kansiime--The-story-of-a-funny-lucky-girl/-/689842/1694010/-/item/0/-/1np61lz/-/index.html
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20150219073057/http://naibuzz.com/2014/05/10/lillian-mulis-interview-with-anne-kansiime-on-citizen-tv-one-on-one/
  6. "Anne Kansiime Debuts New TV Show 'Girl From Mparo". Chimplyfe. Retrieved 13 October 2018.Template:Dead link
  7. http://www.ghafla.com/ug/remembering-the-july-11th-world-cup-bombings/s
  8. https://face2faceafrica.com/article/google-launches-youtube-sub-saharan-africa-creator-awards
  9. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20171111042436/http://www.accelerateyourambition.org/nail-like-anne-kansiime-career-lessons-can-learn-african-queen-comedy/
  10. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20170606041859/http://chimpreports.com/entertainment/buzz-teeniez-awards-2016-full-list-of-winners/
  11. https://web.archive.org/web/20180129004337/https://solangitube.com/watch/x3d89yk/anne-kansiime-scoops-african-entertainment-awards-usa-best-c.php
  12. http://bigeye.ug/rising-star-awards-2015-successful-full-list-of-winners/
  13. https://www.nation.co.ke/lifestyle/showbiz/Kansiime-wins-African-Oscarfor-fauvorite-comedian/1950810-2820612-12wst46/index.html
  14. https://web.archive.org/web/20211029140230/https://chano8.com/anne-kansiime-wins-the-nollywood-african-peoples-choice-award-for-favorite-comedian/
  15. "Archive copy". Archived from the original on 2020-12-07. Retrieved 2022-12-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  16. http://bigeye.ug/top-women-receive-airtel-women-of-substance-awards/
  17. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20211101171155/https://bigeye.ug/ugandas-anne-kansiime-and-dr-jose-chameleone-win-beffta-2013-awards-in-london/
  18. https://web.archive.org/web/20180129140522/http://kansiimeanne.ug/meeee-winner-of-the-lagos-international-film-festival-best-actress-2013-award/
  19. "Archive copy". Archived from the original on 2021-11-01. Retrieved 2022-12-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  20. https://web.archive.org/web/20180129004902/http://m.howwe.biz/256/kansiime-to-scoop-award-in-malaysia.html

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]