Annet Katusiime Mugisha

Bisangiddwa ku Wikipedia
Annet Katusiime Mugisha
Yazaalibwa 1974

Kukyalo Kantunda Mu muluka gwa Bumbaire Mu Disitulikiti ye Bushenyi

Egggwanga Munayuganda
Gyeasomera Uganda Maryrs University
Emirimu gye yakuguka mu by'okujanjaba obwongo bw'abantu ne neeyisa yabawe, munabyabufuzi, awabula abantu abatawanyizibwa embeera ez'enjawulo, musiga nsiimbi wamu n'okubeera omubuulizi w'enjiri
Ekibiina ky'ebyobufuzi National Resistance Movement
Omwami we Silver Mugisha

Annet Katusiime Mugisha yazaalibwa 1974, nga munabyabufuzi Omunayuganda, awereza nga Omubaka wa Paalamenti ya Uganda eyekumineemu ng'akiikirira Disitulikiti ya Bushenyi.[1][2]

Obulamu bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Mugisha yazaalibwa mu 1974, ku kyalo Kantunda mu muluka gwa Bumbaire mu Disitulikiti y'e Bushenyi mu ggwanga lya Uganda. Alina Diguli mu Kuwabula n'Okubudabuda gyeyafuna okuva ku Uganda Martyrs University, yunivasite y'obwa nannyini edukanyizibwa Eklezia, nga esinganibwa Nkozi mu Uganda. Mu 2021, yatandika okusoma Diguli ey'okubiri mu Kudukanya Bizineensi ku Uganda Martyrs University.[3][4]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Egyobukugu[kyusa | edit source]

Mugisha mukusooka yali akola nga omusomesa wa pulayimale, nga esaawa eno adukanya kampuni ekola ku by'okufumba emere.Yakuguka mu by'okujanjaba abantu neneeyisa yabwe, abudabuda abatawanyizibwa ensoga ez'enajwulo, musiga nsiimbi, ng'era mubuulizi wanjiri. Ye ne baawe Silver Mugisha, akulira eby'emirimu n'okudukanya ekitongole ekivunaanyizibwa ku Mazzi ne Kazambi mu Uganda,baatandikawo ekibiina ekiyitibwa Bamugisha Community Welfare Ltd., ekibiina ekitadukanyizibwa gavumenti, wabula nga kirina ebigendererwa[5] by'okulakulanya eby'enjigiriza, okwongera eby'enfuna by'amaka ag'enjawulo, n'ogaba emere wamu n'okulakulanya ebitundu eby'etolodde eri abantu ba Disitulikiti ya Bushenyi.[6][7][8]

Ebyobufuzi[kyusa | edit source]

Mugisha ialina akakwate ku kibiina ky'ebyobufuzi mu Uganda ekya National Resistance Movement (NRM). Emirimu gye mu byobufuzi gyatandika mu kalulu ka Paalamenti aka 2021, nga eno gyeyawangulira Mary Karooro Okurut mu kayufu ka NRM nga kuno kweyateeka n'okuwangula ekifo mu kalulu ka bonna aka Paalamenti. Ng'ali mu kakuyege w'okunoonya obululu bw'akamyuufu, Mugisha baamulumirira okubeera nga yakozesa emapula z'esomero mu kuwaaba okwali kulembeddwamu Zeddy Gakyalo ne Phillip Murwani.[9][10] Mugisha yeegana byonna byebaali bamuwaayiriza, ng'akatiriza ebyali bimwogerwako ku mpapula zze nti yali yayita mu mateeka okukyusa amannya gge okuva mu Musoga okudda mu Mugisha.[11]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. https://mknewslink.com/ms-annet-katusiime-mugisha-first-to-be-nominated-for-bushenyi-district-woman-mp/
  2. https://eastafricanwatch.net/i-will-kick-poverty-out-of-bushenyi-annet-katusiime-mugisha/
  3. https://www.pmldaily.com/news/analysis/2020/06/eyes-on-the-prize-how-annet-katusiime-mugisha-has-won-hearts-and-minds-in-bushenyi.html
  4. https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/elections/four-in-race-to-replace-karooro-in-bushenyi-3244760
  5. https://www.pmldaily.com/investigations/special-reports/2019/07/bushenyi-ba-mugisha-community-welfare-resort-to-disease-fighting.html
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-19. Retrieved 2024-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://opencorporates.com/companies/ug/80010004273347
  8. https://www.pmldaily.com/news/analysis/2020/06/eyes-on-the-prize-how-annet-katusiime-mugisha-has-won-hearts-and-minds-in-bushenyi.html
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2022-01-24. Retrieved 2024-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. https://www.youtube.com/watch?v=Vtb0qgf639U
  11. https://mknewslink.com/petition-on-my-qualifications-by-phillip-and-zeddy-is-trash-ms-annet-katusiime-mugisha/