Annet Nyakecho

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Annet Nyakecho era gwe bamannyi nga Okwenye Annet Nyakecho, yazaalibwa nga 27 Ogwounaana 1982, nga munabyabufuzi Omunayuganda era omukyala alina bizineensi zze,[1] nga kuno kw'oteeka n'okubeera omukyala Omubaka wa Paalamenti ow'e saza lye Tororo Ey'omubukiika Ddyo, mu Disitulikiti ye Tororo.[2][3][4] Munabyabufuzi atalina kibiina.[2][4][5] Yawereza nga omubaka wa Paalamenti Omukyala eyali akiikirira Disitulikiti ye Otuke mu Paalamenti eyo mwenda, ng'ate mu Paalamenti eye kumi, yawereza nga omubaka owa Tororo y'omubukiika ddyo.[1][6] Esaawa eno ye mubaka wa Paalamenti omukyala akiikirira Tororo mu Paalamenti ey kumineemu ey'e Uganda .[7]

Oluvannyuma lw'okutondebwawo kwa Disitulikiti ya Otuke mu 2009, kino kyamuwa akakisa nga mu 2011 y'oku kubaali beesimbyeewo ku kifo ky'omubaka omukyala, naye nga teyawangula.[1] Oluvannyuma yeesimbawo n'awangula ekisanja kye ekyali kisooka mu Paalamenti eyo mwenda, ng'ali ku tikiti ya National Resistance Movement, nga Omubaka wa Paalamenti eyali akiikirira abavubuka ng'awangudde abala musavan abaali bamwesimbyeko, wadde nga teyalina ntegeka yakwegata ku byabufuzi.[1]

Eby'enjigiriza[kyusa | edit source]

Mu 1994, yamaliriza ebigezo bye ebya P7 ku Rock View School erisinganibwa e Tororo. Mu 1998, yafuna satifikeeti ye eya S4 okuva kusomero lya Nkono Memorial S.S. erisinganibwa e Kaliro.[2] Mu 2000, syaweewa satifikeeti ya S6 okuva ku City High School nga lino lisinganibwa Kololo, ate oluvannyuma neyeegata ku Yunivasite y'e Makerere[1][4] fgyeyatikirwa ne Diguli mu By'okulakulanya ebitundu mu 2008.[2]

Obulamu bwe mu by'emirimu[kyusa | edit source]

Yaweebwako omulimu gw'okukola nga omumyuka w'akola ku by'okunoonyereza ku kitebe kya kampuni ya massimu ekya MTN ekikulu mu 2000, yaliko ne ku pulojekiti y'okulakulanya 'eby'enddya n'ekikula ky'abaana mu Tororo okuva mu 2001 okutuuka mu 2002), ne ku African Centre for Institutional Development esinganibwa mu Kampala okuva mu 2002 okutuuka mu 2003.[2]

Obulamu bwe mu by'obufuzi[kyusa | edit source]

Yawerezaako mu Paalamenti ya Uganda nga omu kubaali ku kakiiko akavunaanyizibwa ku by'ensonga z'ebweru w'eggwanga, okuva mu 2011 okutuuka mu 2013, yaliko ku kakiiko akavunaanyizibwa ku by'embalirira wakati wa 2011 okutuuka mu 2013, yaliko ku kakiiko akadukanya eby'amateeka, n'ensonga za Paalamenti okuva mu 2013 okutuuka mu 2013, nga kw'oteeka n'okubeera ssentebe w'akakiiko akavunaanyizibwa ku sayaansi ne tekinologiya, okuva mu 2015 okutuuka mu 2016.[2] Yawerezaako nga Omubaka wa Paalamenti mu Paalamenti ya Uganda eyo mwenda, kumi ne kumineemu.[2]

Yawerezaako nga ssentebe w'akakiiko k'eby'empuliziganya, obubaka wamu ne tekinologiya, wabula oluvannyuma Ruth Nankabirwa eyali akwasisa amateeka namusuula okuva mu kifo kino n'amusikiza eyali Omubaka wa Dokolo y'omubukiika ddyo Paul Amoru.[8]

Annet Nyakecho ng'ali wamu ne baawe Levi Otim, mwanyina wamu n'abala abasinganibwa mu maka ga minisita eyaliko ow'eby'okwerinda, Lt. Gen. Henry Tumukunde, baakwatibwa era nebatekebwa mu kkomera.[3] Yeeyali omukwanaganya wa Lt. Gen. Henry Tumukunde mu ggwanga lyonna mu kakuyege w'okunoonya akalulu ka pulezidenti aka 2021.[9]

Emirimu emiralala gy'ayongerako[kyusa | edit source]

Yakolako nga mu Paalalamenti ya Uganda nga omu kubaali kukakiiko akakola ku by'embaliriza y'abantu, wamu ne ku kakiiko akawereza abantu n'e gavumenti z'ebitundu.[2]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Yafumbirwa Levi Otim.[2][3] Mukyala asinza Katonda era ng'akiririza mu ddiini ya bukulisitaayo.[4]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 https://observer.ug/news/headlines/53652-meet-nyakecho-the-mp-who-has-served-two-constituencies.html
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 2.6 2.7 2.8 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=180
  3. 3.0 3.1 3.2 https://nilepost.co.ug/2020/03/17/tumukunde-saga-mp-nyakecho-9-others-not-held-on-treason-charges-police/
  4. 4.0 4.1 4.2 4.3 "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-16. Retrieved 2024-04-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.ugandadecides.com/candidate.php?id=610
  6. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/tororo-north-mp-nyakecho-cleared-1705648
  7. https://www.matookerepublic.com/2020/07/02/tororo-mp-annet-nyakecho-says-her-voters-will-miss-her-smile-dance-strokes-and-hairstyles-if-election-campaigns-are-held-scientifically/
  8. https://www.independent.co.ug/nankabirwa-drops-mp-annet-nyakecho-from-ict-committee-leadership/
  9. https://chimpreports.com/tumukunde-saga-mp-nyakecho-detained-at-jinja-road/