Anup Singh Choudry
Anup Singh Choudry (yazaalibwa nga 13 Ogwomunaana 1949), musajja nzalwa ya Uganda eri Sikh of Punjabi n'omuwandiisi Sikh abawangalira mu Bungereza era yali aweereza ng'omulamuzi wa Kkooti ya Uganda enkulu okuva nga 2 Ogwokutaano 2008 okutuusa nga 11 Ogwomunaana 2014.[1]
Yalayizibwa ku mukolo ogw'ategekebwa ku maka g'obwa Pulezidenti e Entebbe mu maaso ga Pulezidenti Yoweri Museveni ne Ssabalamuzi Benjamin Odoki.[2][3] Ye Sikh eyasooka mu nga muyindi eyazaalibwa mu Uganda okulondebwa mu kifo ekyo.[4]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Anup Singh yazaalibwa nga 13 Ogwomunaana 1949 eri Tarlok Singh ne Narinder Kaur mu Masaka, Uganda. Jjajjawe omusajja yali Hari Singh, asibuka mu Rawalpindi, India, nga yali yasengukira mu Uganda mu myaka gya 1900 era n'aweereza mu ng'omukozi wa Gavumenti y'obufuzi bw'amatwale obwaliwo mu kaseera ako. Kitaawe wa Singh naye yaweerezaako mu ng'omukozi wa Gavumenti gy'eyawummula mu 1972.[5]
Singh yasomera ku Shimoni Demonstration Primary School era emisomo gye egya Siniya yagisomera ku Nyamitanga Secondary School mu Mbarara ne St. Joseph's College Layibi, mu Gulu. Oluvanyuma lw'emisomo gye mu Uganda, yegatta ku Kings College at the University of London, Corpus Christi College, Cambridge, College of Law Chester and College of Law Guilford.
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Singh yatandika emirimu egy'obwannamateeka mu Bungereza nga munnamteeka, okumala emyaka 20, okuva mu 1980 okutuusa mu 2000. Era yaddukanya bizinensi eziwerako mu Bungereza omuli, Kampuni y'emmotoka eya Nissan car dealership, ne Kkampuni ezikulakulanya ettaka.
Mu 2008, Akakiiko k'essiga eddamuzi k'amulonda era n'ekamwanjulira Pulezidenti wa Uganda okulondebwa ng'omulamuzi wa Kkooti ya Uganda enkulu. Yalondebwa era n'akakasibwa mu bujjuvu Paalamenti ya Uganda. Yalayizibwa nga 2 Ogwokutaano 2008.
Oluvannyuma lw'emyaka 6 mu buweereza, Justice Choudry yawummula nga 11 Ogwomunaana 2011 era n'addayo mu Bungereza okwegatta ku Famire ye.
Ebimukwato eby'omunda
[kyusa | edit source]Mulamuzi Choudry mufumbo era alina abaana 3.
Ebyafulumizibwa
[kyusa | edit source]Awandiise obutabo obw'enjawulo, Sikh Pilgrimage to Pakistan.
- Sikh Pilgrimage to Pakistan
- Sikh Genocide 1984 (Editor)
- Flight to Freedom
- Lawyers Office Directory A-Z. Editor: Anup Singh Choudry, the first A-Z legal directory in the UK (1989)
- Human Rights of Women in Sikhism
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Justice-Choudry-retires/-/688334/2415336/-/121q1sh/-/index.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-02-27. Retrieved 2023-05-19.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor
- ↑ https://web.archive.org/web/20080309075442/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/614898
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-06-01. Retrieved 2023-05-19.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
Lua error: Invalid configuration file.