Jump to content

Apolo Nsibambi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Apolo Robin Nsibambi

Apolo Robin Nsibambi 25 Ogwekkumi 1940 – 28 Ogwokutaano 2019 yali Munnayuganda, musomesa era munnabyabufuzi eyaweerezaako nga Ssabaminisita wa Uganda ow'omulundi ogw'omunaana okuva 5 Ogwokuna 1999 okutuusa 24 Ogwokutaano 2011, Amama Mbabazi bwe yamuddira mu bigere.[1][2]

Ng'omuyivu mu byobufuzi, yasomesa Ku Ssettendekero wa Makerere okuva mu myaka gya 1960 era oluvannyuma yakwata ebifo bingi eby'oku ntikko mu by'enjigiriza, omuli Dean of the Faculty of Social Sciences ne Head of the Department of Political Science. Era yali Dayirekita wa Makerere Institute of Social Research wakati wa 1994 ne 1996. Ng'oggyeeko eby'enjigiriza, Nsibambi yaweereza mu gavumenti nga Minisita w'abakozi ba gavumenti (1996-1998) ne Minisita w'ebyenjigiriza n'emizannyo (1998-1999) nga tannalondebwa ku bwa Ssaabaminisita. Okuva mu 2003 okutuuka mu 2007, yafuuka Chansala wa Ssettendekero wa Makerere eyasooka atali mukulembeze w'eggwanga. Nsibambi yatwalibwa nnyo nga munnabyabufuzi omugezi, era mu kiseera kye nga Ssaabaminisita yannyonnyola Makerere nga ekibinja ky'amagezi eri omusomi munne Ali Mazrui. Ajjukirwa olw'ebyo bye yakola mu buweereza bwa gavumenti n'ebyenjigiriza ebya waggulu mu Uganda.[3][4][5]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Apolo Robin Nsibambi yazaalibwa 25 Ogwekkumi 1940.[6] Yali omu ku baana 12 abaazaalibwa Eva Bakaluba ne Semyoni Nsibambi, omukulembeze wa Balokole oba "East African Revival".[7][8][9] Apolo Nsibambi yasomera ku King's College Budo mu misomo gye egya siniya . Yatikkirwa ddiguli mu by'ensimbi eya Bachelor of Science in economics, okuva ku Ssettendekero wa Makerere. Yafuna diguli ey'okubiri mu byobufuzi eya Master of Arts in political science okuva mu University of Chicago mu Amerika. Diguli ya Doctor of Philosophy yo ate yagifunira mu University of Nairobi.

Nsibambi yaweerezaako ng'omukulu w'ebbanguliro lya Social Science ku Ssettendekero wa Makerere okuva 1978 okutuusa 1983 n'okuva 1985 okuttuka mu 1987. Yalondebwa okuba akulira dipaatimenti ya Political Science ku Ssettendekero wa Makerere mu 1987, ekifo kye yalimu okutuusa mu 1990. Yali dayirekita wa Makerere Institute of Social Research okuva 1994 okutuusa 1996.

Wakati wa 1996 ne 1998, Yaweereza nga minisita w'abakozi ba gavumenti mu Kabineeti ya Uganda . Mu 1998 yalondebwa nga minisita w'eby'enjigiriza n'emizannyo ,nga yaweereza mu ttuluba eryo okutuusa mu 1999 bweyalondebwa nga Ssaabaminisita n'okubeera omukulembeze wa bizinensi za gavumenti mu Paalamenti.

Nsibambi era yaweerezaako nga Chansala wa Ssettendekero wa Makerere okuva mu 2003 okutuusa mu Gwekkumi 2007. Yasomesaako ku Yunivasite mu myaka gya 1960 nga yafuuka mukwano gwa Paul Theroux, eyabuuzanga Nsibambi ku bifo gye yatambuliranga Dark Star Safari.[10][11]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Yawasa Esther Nsibambi mu Ogwokusatu 2003 oluvannyuma lwa mukyala we eyasooka Rhoda okufa mu Gwekkuminebiri 2001.[12] Yali taata w'abaana bana abawala.[13] Yali Mukulisitaayo. Nsibambi yafa nga 28 Ogwokutaano 2019, ku myaka 78.[14][15]

 

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://web.archive.org/web/20150207054546/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/755640
  2. https://web.archive.org/web/20150207050730/http://www.independent.co.ug/column/interview/6940-uganda-needs-political-hygiene-prof-nsibambi
  3. https://mak.ac.ug/chancellor/rt-hon-apolo-robin-nsibambi-chancellor-2003-2007
  4. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1501054/life-times-prof-apolo-nsibambi
  5. Writer, Secondopinion (2019-05-29). "Museveni eulogizes Nsibambi: He contributed to Uganda's development, streamlined salary issues at Makerere - THE SECOND OPINION" (in American English). Retrieved 2025-08-22.
  6. https://web.archive.org/web/20150207050730/http://www.independent.co.ug/column/interview/6940-uganda-needs-political-hygiene-prof-nsibambi
  7. https://archive.org/details/darkstarsafariov00ther
  8. https://archive.org/details/betterfreedomfin0000card
  9. https://archive.org/details/betterfreedomfin0000card
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2019-06-01. Retrieved 2025-11-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. Makerere University (2012). "Professor Apolo Robin Nsibambi: Former Chancellor, Makerere University". Makerere University. Archived from the original on 1 June 2019. Retrieved 6 February 2015.
  12. https://web.archive.org/web/20150207055238/http://www.newvision.co.ug/news/629339-prof--apolo-nsibambi--legacy-of-a-technocrat-prime-minister.html
  13. https://web.archive.org/web/20150207055238/http://www.newvision.co.ug/news/629339-prof--apolo-nsibambi--legacy-of-a-technocrat-prime-minister.html
  14. https://www.africanews.com/2019/05/28/uganda-s-ex-prime-minister-nsibambi-dies//
  15. https://www.africanews.com/2019/05/28/uganda-s-ex-prime-minister-nsibambi-dies//

Lua error: Invalid configuration file.