Asiimwe Deborah GKashugi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Asiimwe Deborah GKashugi muwandiisi wa mizannyo mu Uganda, muyimbi, afulumya ennyimba era nga mu kaseera kano akola ng'omukugu mu kitongole kya Sundance Institute East Africa era ng'omuluŋŋamya mu ssomero ly'obusawo erisangibwa mu kibuga Hamburg, mu ggwanga lya Bugirimaani. Emizannyo gye egisembyeyo mulimu Forgotten World, Cooking Oil, Appointment with gOD ne Un-entitled, nga gyonna gitwaliddwa ng'emizannyo emiyiiye oba egisomebwa ku siteegi mu United States of America ne mu Bugwanjuba bwa Afirika.[1][2] Omuzannyo gwe ogumanyiddwa nga Will Smith Look Alike gwawangula empaka za BBC African Performance Play Writing Competition mu 2010.[3][4] Mu 2006 yafuna sikaala ya Writing for Performance okuva mu California Institute of the Arts, gye yafunira diguli ya Master in Fine Arts (MFA) mu 2009, era n'eya 2010 Theatre Communications Group (TCG) New Generation Future Leaders okukola mu Sundance Institute Theatre Program.[5]

Obuto bwe n'obuyigirize[kyusa | edit source]

Deborah yagenda mu ssomero lya Kashwa Primary School, mu disitulikiti y'e Kiruhura kaakano. Yasomera mu ssomero lya Bweranyangi Girls School n'oluvannyuma n'ayingira Makerere University, gye yafsomera dipulooma mu by'okuyimba, okuzina n''okuzannya katemba. Yaddayo ku Makerere University n'afuna diguli esooka mu Katemba (Bachelor of Arts in Drama (Honors), okuva mu 2003−2006.[4] Yafuna sikaala era n'akola diguli ya Master of Fine Arts (MFA) mu Writing for Performance mu California Institute of the Arts.

Okuwandiika[kyusa | edit source]

Okwagala kwa Deborah okw'okuwandiika emboozi n'okuzannya kwatandika ng'akyali muto. Yakulira mu buwangwa bw'okuwandiika ebitabo n'okuwandiika engero, ng'ebyafaayo by'abantu bitambuzibwa okuva ku mulembe ogumu okudda ku mulala, mu bwogere. Emirimu gye egisinga gikwata ku nsonga z'eby'obufuzi n'embeerabantu ezikwata ku mawanga agakyakula. Awandiika bya kuzannyira ku siteegi, ate oluusi ku leediyo n'okulagira ku ntambi. Byafulumizza bizannyiddwa mu Nairobi, Kenya, Kisumu, Kenya, ne Kigali, Rwanda. Mu 2010, yafuna ensimbi za Theatre Communications Group (TCG) New Generation Future Leaders okukola ku nteekateeka y'ekitongole kya Katemba mu ggwanga lya Sudan. Mu mwaka gwegumu, Will Smith Look Alike, omuzannyo gwa Deborah Asiimwe oguzannyibwa ku leediyo, gwawangula empaka za BBC ez'okuwandiika emizannyo. Yafuna ekirabo kya JES (Junges Ensemble Stuttgart) ne Akademie Schloss Solitude mu 2015.[6] Yenyigidde mu nkuŋŋaana z'abayimbi nnyingi, omuli Arts in the One World Conference (CalArts, Valencia, California) eberayo buli mwaka, pulojekiti ya The More Life: Cultural Studies and Genocide Initiative, omukago wakati wa CalArts ne Interdisciplinary Genocides Study Center mu Kigali, Rwanda; Women Playwrights International Conference (WPI) mu Philippines (2003); era ye mu 2003 Sundance Theatre Lab international observer, n'endala nnyingi.[7]

Eby'okusoma[kyusa | edit source]

  • Forgotten World
  • Cooking Oil
  • Appointment with gOD
  • Un-entitled
  • Lagoma is Searching
  • You are that Man
  • My Secret

Engule n'okusiimibwa kw'afunye[kyusa | edit source]

  • Yawangula empaka za African Performance Play Writing Competition ezaategekebwa BBC mu 2010 olw'omuzannyo gwe Will Smith Look Alike.[8]
  • Mu mwaka gwa 2006 yafuna sikaala mu Writing for Performance okuva mu California Institute of the Arts
  • Yafuna ensimbi za Theatre Communications Group (TCG) New Generation Future Leaders mu mwaka gwa 2010 okukola ne Sundance Institute Theatre Program

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. Profile; Deborah Asiimwe caceafrica.wordpress.com. Retrieved 16 June 2014.
  2. Asiimwe kenduhearth.com. Retrieved 16 June 2014.
  3. Dominate BBC African Performance Play Writing Competition 2010 artmatters.info. Retrieved 16 June 2014.
  4. 4.0 4.1 "It all began with ebyevugo for BBC winner", observer.ug, 22 August 2010. Retrieved 16 June 2014.
  5. "Cooking Oil Sparks Conversation on East Africa’s Women", msmagazine.com. Retrieved 16 June 2014.
  6. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named akademie-solitude
  7. Asiimwe horsetrade.info. Retrieved 16 June 2014.
  8. Playwright Deborah Asiimwe wins BBC Competition for Will Smith Look-Alike calarts.edu. Retrieved 16 June 2014.

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]