Jump to content

Asiimwe Evarlyne Buregyeya

Bisangiddwa ku Wikipedia

Asiimwe Evarlyne Buregyeya yazaalibwa nga 28 Ogwomunaana, 1975, Munnayuganda, munnabyabufuzu, munnamagye ali ku ddaala lya Lt. Colonel eyakuguka mu by'okusoma obwongo n'eneeyisa y'abantu. Mubaka mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi ng'akiikirira eggye lya Uganda erya Uganda People's Defence Force mu Paalamenti.[1][2]

Yatuula ebigezo bye ebya P.7 okuva mu Nyamwegabira Primary School mu mwaka gwa 1987. Mu mwaka gwa 1991, Yatuula S.4 ku Kihihi High School. Oluvannyuma yatuula S.6 mu mwaka gwa 1994. Mu mwaka gwa 1996, yafuna dipulooma mu busomesa okuva mu Ttendekero ly'abasomesa erya 'National Teachers College', mu Kabale. Yafuna diguli mu kusomesa okuva mu Yunivasite y'e Ndejje mu mwaka gwa 2006. Mu mwaka gwa 2011, yaddayo ku yunivasite okufuna diguli ye ey'okubiri mu kubuulirira n'okusoma ku neeyisa y'abantu n'eby'ebwongo okuva Yuniasite ya Kampala International University. Okuva mu mwaka gwa 2015, yafuna dipulooma eya Diploma in Health Systems Management okuva mu Ttendekero lya Galilee Institute, mu ggwanga lya Yisirayiri .[1][3]

Emirimu gye n'eby'obufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Ogwomukaaga, 2020 yalondebwa okubeera nga y'akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'okulwanyisa akawuka ka mukeneya mu magye ga Uganda ekya ''UPDG directorate of HIV&AIDS''. Yaweerezaako ng'omumyuka wa nnakyemalira okuva mu mwaka gwa 2015 okutuusa mu mwezi Ogwomukaaga mu mwaka gwa 2020, ng'era nga y'emumyuka w'akulira ekitongole ky'abalwanyisa akawuka ka mukeneya ekya 'HIV Prevention programs Coordination, wakati w'omwaka gwa 2012 ne 2015. Okuva mu mwaka gwa 2008 okutuusa mu mwaka gwa 2009, yaweebwa omulimu gw'okulagirira abakozi b'amagye abaali nga mu kutendekebwa e Kabamba. Okuva mu mwaka gwa 2001 okutuusa mu 2006, yali musomesa kusomero lya Bombo Military Secondary School okuva mu 1997 okutuusa mu 2000, yasomesaako ku Kihihi High School, mu kihihi teachers college, St Pius secondary school. Okuva mu 2016 okutuusa kati, ye Mubaka mu Paalamenti, mu Paalamenti ya Uganda.[1]

Mu Ogwokutaano, 2016, yakuba ebirayiro bye ku Paalamenti ya Uganda ng'omubaka akiikirira amagye ga UPDF mu Paalamenti.[4] Yeeyali omu ku babaka ba Paalamenti abakkiriza okuyisa eteeka ly'okuggya ekkomo ku myaka gy'omukulembezze gy'atekeddwa kufuga oba ku kisanja eky'emyaka 75.[5]

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

Asiimwe alina omulimu omulala gw'akola mu Paalamenti ya Uganda ku kakiiko akalwanyisa akawuka ka mukeneya oba siriimu n'enddwadde endala ez'efaananyiriza, n'akakiiko akavunaanyizibwa ku by'ekikula ky'abantu, emirimu nenkulakulana y'abantu.[1]

Mufumbo.[3]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=260
  2. "Exclusive!!! Members of Parliament's marital statuses, education background and profession SEASON 1". Pearlposts (in British English). 2019-01-28. Retrieved 2020-06-27.
  3. 1 2 https://pearlposts.com/2019/01/28/exclusive-members-of-parliaments-marital-statuses-education-background-and-profession-season-1/
  4. "UPDF representative Captain Everlyne Asiimwe Buregyeya at parliament to take oath. :: Uganda Radionetwork". ugandaradionetwork.net. Retrieved 2020-06-27.
  5. Team, Observer. "Age limit battle: Who is winning?". The Observer - Uganda (in British English). Archived from the original on 2023-03-10. Retrieved 2020-06-27.