Asinansi Nyakato

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Asinansi Nyakato, era gwebamannyi nga Kamanda, munabyabufuzi Omunayuganda era Omubaka wa Paalamenti ya Uganda akiikirira ekibuga ky'e Hoima, mu Paalamenti eyekumineemii okuva mu 2021 okutuuka mu 2016. Alina akakwate ku kibiina ky'eby'obufuzi ekya Forum for Democratic Change (FDC).[1][2]

Ebimukwatako n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Nyakato imumbeja ava mu Bw'omukama bwa Bunyoro Kitara. Alina Diguli mu By'embeera z'abantu n'okulakulanya ebitundu, gyeyafuna okuva ku Yunivasite y'e Ndejje.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Nyakato y'omu kubali mubibiina ebivuganya gavumenti, nga mu 2011, yavuganya ku kifo ky'omubaka omukyala owa Hoima wabula n'akwata ekifo kya kubiri oluvannyuma lw'okuwangulwa mukyala Tophas Kaahwa Byagira. Mu Gwomunaana mu 2011, yeegata ku Paalamenti ya Uganda gyeyali akolera nga omutaputa w'ebigenda okuteekebwa munkola okutuuka mu 2016. Ali ku kakiiko k'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya FDC ngeno awerezaayo nga omuwandiisi ku by'ensonga z'eby'obulamu. Akola nga omuwandiisi wa munisipaali ya Hoima, ku lw'ekibiina kya FDC. Emabegako, yali awereza nga omuwandiisi wa FDC ku lw'abavubuka, ow'ebitundu eby'etolodde.[3][4] Oluvannyuma yakomawo okulwanirira ebitundu n'abantu abanyigiriziddwa enkulakulana ereeteddwa okusima kw'amafuta mu bitundu bya Albertine graben.[5]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. http://www.ugandadecides.com/aspirant.php?profile=64
  2. https://mulengeranews.com/fdcs-nyakato-is-our-hoima-candidate-too-pple-power/
  3. https://www.pmldaily.com/news/2019/08/fdc-picks-nyakato-asinansi-for-hoima-woman-mp-by-election.html
  4. https://www.pmldaily.com/news/politics/2019/09/profiles-who-is-who-in-the-hoima-woman-mp-by-election.html
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)"PROFILES: Who is who in the Hoima Woman MP by- election?". PML Daily. 24 September 2019. Retrieved 3 March 2022.