Asinisi Fina Opio
Asinisi Fina Opio munnasayansi Ow'ebyobulamu mu Uganda, munoonyereza era Pulofeesa mu Bishop Stuart University. Fina mmemba mu lukiiko lwa ssaayansi ne tekinologiya, ekitongole kya Indian Phytopathological Society, ekitongole ky'eby'obulimi, n'ekitongole kya African Crop Science Society.
Obulamu bwe obwasooka n'omulimu gwe
[kyusa | edit source]Mu 1979, Asinisi Opio yafuna diguli ey'okubiri mu Sayansi (M.Sc) mu University of Nairobi esangibwa mu Kenya, era mu 1992 ng'ali mu Sokoine University of Agriculture, yafuna Doctorate Of philosophy (PhD) mu Plant Pathology.
Oluvannyuma,Fina yafuuka omukulu w;wntwwkateeka eya Beans Program era omukulembeze mu kunoonyereza, yafuuka akulira ekitongole eky'okunoonyereza ekya Namulonge Agriculture and Aniaml Prodution Research Institute.
By'atuseeko ne Awaadi
[kyusa | edit source]1998-2000: Yaweebwa awaadi ey'enjawulo olw'okutuukiriza obulungi emirimu gye ng'omusawo munnasayansi mu Namulonge Agricultural and Animal Production Research Institute (NARO) mu kiseera kya 1998-2000.
2004: Opio Fina yakakasibwa Forum for Women Educationalist mu Uganda. Era yalondebwa okufuna ekirabo kya SARAH NTIRU Award. Yali wakubiri mu Uganda mu mpaka za Women Achievers of the year. Mu 2006, Opio yalondebwa okufuna ekirabo kya Presidential Science Excellence Award era n'awangula ne bannassayansi abakukunavu mu Uganda.