Asuman Basalirwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Asuman Basalirwa (yazaalibwa Museenene17, 1977) munnababufuzi mu Uganda era nga mubaka wa paalamenti mu paalamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu akiikirira abantu ba munisipalite y'e Bugiri. Yasoka okulondebwa ku kifo ky'obubaka bwa paalamenti mu mwaka gwa 2018 ku ttiketi y'ekibiina kya Justice Forum (JEEMA).[1]

Okusoma[kyusa | edit source]

Basalirwa ebbaluwa ye ey'okusoma eyasoka yagifunira ku ssomero lya Mwiri Primary School mu mwaka gwa 1991, ate mu sina ye eyookuna yagituula mu mwaka gwa 1996 and n'ebbalu ya siniya eyoomukaaga n'agifunira ku ssomero lya Kiira College Butiki mu mwaka gwa 1998.[2] Alina dipuloma emukkirizisa okuteekesa amateeka mu nkola eya Diploma in Legal Practice okuva ku bbanguliro lya bannamateeka erya Law Development Centre (LDC) Kampala, Uganda mu mwaka gwa 2004. Mu 2008, yamaliriza okusoma kwe okuva mu ssettendekero ya Pretoria University gye yafunira ebbaluwa ya Certificate in International Humanitarian Law ne diguli eyookubiri mu mateeka okuva ku ssettendekero ya Makerere University mu mwaka gwa 2015. Munnamateeka era akola ne kkampuni ekola ku nsonga z'amateeka eya Sewankambo & Co. Advocates.[3]

Ekisaawe ky'ebyobufuzi[kyusa | edit source]

Basalirwa ye pulezidenti w'ekibiina kya Justice Forum (JEEMA) okuva mu mwaka gwa 2010 okutuuka kati[4] Ye ssentebe w'ekibiina ekitaba ebibiina ebirina ababaka mu paalamenti ekya Inter-Party Organisation on Dialogue (IPOD). Yalondebwa ku kifo ky'obubaka bwa paalamenti mu kifo kya 2018 era n'addamu okulondebwa mu kalulu ka bonna aka 2021 okutuusa kati mu kiseera kino ng'akiikirira ekitundu kya munisipalite y'e Bugiri. Ye y'amyuka ssentebe w'akakiiko ka paalamenti akakola ku mbalirira ya ssente eziyisibwa paalamenti Public Accounts Committee (PAC).[5][6]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]