Avice Meya

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Avice Meya yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 2, mu mwezi ogwekumineebiri, mu mwaka gwa 1994, nga muwuzi okuva mu Uganda. Yavuganya mu mpaka z'abakyala eza mita 50 ez'okuwuga mu mutendera gwa freestyle mu mpaka za 2017 World Aquatics Championships. Yavuganya mu mpaka z'omwaka gwa 2018 ezeetabibwamu amawanga abali muluse olumu n'eggwanga lya Bungereza. Mu mwaka gwa 2019, yakiikirira Uganda mu mpaka za World Aquatics Championships ez'omwaka gwa 2019 ezaali Gwangju mu ggwanga lya South Korea.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Meya yasomera kutendekero lya Kyambogo University. Kitaawe, Andrew, yatendekeko ttiimu y'eggwanga eya Cricket mu Uganda.