Ayeta Anne Wangusa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ayeta Anne Wangusa yazaalibwa Kampala, Uganda, nga 9 Ogwomwenda 1971) munayuganda omuwandiisi era omulwanirizi w'eddembe. Y'omu ku batandisi (1995) ba FEMRITE, Uganda Women Writers Association, Wangusa yasooka kufuna ettutumu mu bitabo olw'akatabo ke akiyitibwa Memoirs of a Mother (1998).[1][2] Era y'omu kuba mmemba (2009) b'ekibiina ekya African Writers Trust, nga mu kiseera kino (okuva mu 2018) ng'aweereza ku kakiiko k'abawi b'amagezi.[3] Y'omu ku abo abawaayo ekitabo ekiyitibwa New Daughters of Africa ekyasunsulwaMargaret Busby mu 2019.[4]

Ng'oggyeko omulimu gwe ogw'okuwandiika ebitabo, omuli n'okusunsula ne Violet Barungi Tears of Hope: A Collection of Short Stories by Ugandan Rural Women (2002), Wangusa abadde n'omulimu gwe gumu mu nkulaakulana z'abantu, obukulembeze, n'eddembe ly'abakyala.[5]

Emirimu gye ng'omuntu[kyusa | edit source]

Okuva mu Gwomusanvu 2009, Wangusa abadde akola ne SNV - Netherlands Development Organization mu Tanzania ng'omuwi w'amagezi ku gavumenti (ku by'empuliziganya) ku Public Accountability Tanzania Initiative. Emabegako, yakolera ne SNV mu Tanzania ng'omuwi w'amagezi mu Ogw'omusanvu 2006 okutuuka mu Ogwomusanvu 2009.

Okuva mu Ogw'omwenda 2004 okutuuka mu Gwokusatu 2006, Wangusa yaweereza nga Project Officer Development and Implementation, Open Knowledge Network, ne African Medical and Research Foundation (AMREF) mu Tanzania.

Okuva mu Ogwekumminebiri 1996 okutuuka mu Deesonda 2003, Wangusa yakola ne New Vision Printing and Publishing Corporation, Uganda, ng'omusunsuzi w'emboozi empanvu, era mu Ogwomunaana okutuuka mu Ogwekuminebiri 1996 yaweereza ng'omusunsuzi w'obutabo obwa Fountain Publishers Ltd, Uganda.

Ebitiibwa, okulondebwa ne awaadi[kyusa | edit source]

Okuva mu 2009 okutuuka mu 2011, Wangusa yaweereza ng'omukwanaganya w'ekitongole eky'ekikula ky'abantu n'abakyala mu Commonwealth Peoples' Forum, Perth, Australia, ne Commonwealth Civil Society Advisory Committee Member (CSAC), ng'akiikirira ekitundu kya East Africa.

Wangusa yalondebwa New Partnership for Africa's Development (NEPAD) okubeera omu ku bakugu ku Capacity Development and Knowledge Exchange, mu Gwomusanvu 2011.

Mu 2005, Wangusa yali mukiise w'abakyala abawandiisi mu kibiina kya PEN Uganda Chapter.

Mu Ogwomwenda - Ogwekkumi 2003, Wangusa yenyigira mu mpaka za Cheltenham Literature Festival mu Bungereza nga Across Continents Project.[6] Era mu 2003, yaweereza ng'omulamuzi w'ekirabo eky'omuwendo ekya Commonwealth Writers' Prize (African Region), ekyawagirwa Commonwealth Foundation wamu ne Pulof. Mary Kolawole owa Nigeria ne Prof. Andries Oliphant ow'e South Africa.

Mu Ogwomunaana- Ogwekkumi 1998, Wangusa yeetaba mu International Writers Program, University of Iowa, era n'aweebwa ekirabo kya Honorary Fellowship in Writing okuva mu University of Iowa.[2]

Mu Gwokusatu 2002, Wangusa yaweereza ng'omulamuzi mu mpaka z'okuwandiika ezaategekebwa American Centre (Uganda) okujjukira omwezi gw'ebyafaayo eby'omufirika omumerika . Mu Ogwomukaaga 2002, yaweerezako ng'omuweereza omukulu owebyali bigenda mu maaso mu lukungaana lw'abakyala olw'omulundi ogwa 8 mu Kampala Uganda olwa International Inter-disciplinary Congress on Women.

Wangusa era abadde ku kakiiko akafuzi aka Women Writing Africa, Eastern Africa project of the Feminist Press (New York, USA).

Okusoma[kyusa | edit source]

  • Bachelor of Arts (Hons) - Literature And Sociology, Makerere University, 1990-93.
  • Master of Arts in Literature, Makerere University 1994 Nin 97.
  • Master of Arts in New Media, Governance and Democracy, University of Leicester, UK, 2009[citation needed]

Ebitabo[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

  1. Memoirs of a Mother. African Books Collective.
  2. 2.0 2.1 "Interview with Peter Nazareth", Iowa University, 1998. Retrieved 22 August 2011.
  3. "Advisory Board", African Writers Trust. Retrieved 24 August 2011.
  4. Odhiambo, Tom (18 January 2020), "'New Daughters of Africa' is a must read for aspiring young women writers", Daily Nation (Kenya).
  5. Tears of Hope: A Collection of Short Stories by Ugandan Rural Women. African Books Collective.
  6. "Literature festival crosses continents", BBC. Retrieved 22 August 2011.

Lua error: Invalid configuration file.