Aziz Azion
Aziz Mukasa, ng'amanyikiddwa nga Aziz Azion (bwe lyatulwa [ʕaziːz] á-ʐðɲ), Muyimbi w'enyimba kika kya R&B era nga muwandiisi wa nnyimba. Yazaalibwa nga Aziz Mukasa nga 27 Ogwomusanvu 1986 mu Fort Portal, Uganda era n'akuzibwa mu Kampala gyeyasomera okutuuka mu sinya ey'okuna oluvanyuma n'eyegatta ku kisaawe ky'okuyimba. amanyikiddwa nyo nga "kabaka w'okusuna gita", Aziz ataddewo ekitiibwa mu bipande by'enyimba bya Uganda ne East Africa n'ennyimba ze omuli 'Yegwe', 'Nkumila Omukwano', 'Nakupenda', 'Oxygen', 'Beera Nange', 'Nzikiriza', 'Pain Killer', ne 'Yo Love', n'endala nyingi. Omutunzi w'ennyimba asinga ettutumu DJ Erycom nga alabikira ku ndaga za TV ez'enjawulo, yagamba nti "Leero Monday" lwe luyimba lwa Aziz Azion lw'eyasooka okuwandiika n'okuyimba mu mwaka 2007.
Ekika ky'ennyimba z'ayimba
[kyusa | edit source]Ennyimb za Aziz zitambulira mu kika kya R&B nga ziva mu za Afrobeat ne Afropop. Mu kiseera kino enyimba ze azifulumiza mu Shotym Music Entertainment, situdiyo ye gyeyatandikawo mu 2020 n'ekigendererwa eky'okulinyisa omutindo gw'enyimba ze okuzituusa ku mutendera oguddako. Yayiga okukuba gita mu 1998 mu bandi ya Kadongo Kamu eyitibwa 'Makuge Kandongo Kamu group'.[1] Oluvanyuma yegatta ku kibiina ky'omugenzi Paulo Kafeero ekiyitibwa Kulabako Guitar Singer,[2] ng'eyo yamalayo omwaka gumu n'ekitundu nga tannaba kwegata ku kibiina kya Kato Lubwama Diamond Productions gy'eyamala emyaka ebiri. Yegatta ku kibiina kya Eagles’ production ng'eno yamalayo emyezi egiwerako okutuusa ye n'aba bandi bwe bakkiriziganya okukola bandi en'akubira abayimbi bonna ekyaviirako okukola Jeckaki Band. Aziz yakola nga ow'ebyuma mu bandi nga yakolanga ng'omukubi wa gita mu nnyimba eziwerako naddala ez'abayimbi ab'amannya mu kisaawe ky'okuyimba nga Jose Chameleon.[3] Okuweereza kw'abwe okwasooka ku siteegi kwali mu 2005 mu kuyimba kwa Chameleon mu lugendo lw'eyakola mu mawanga g'ebulaaya. Jeckaki bakola ne Jose Chameleon mu Sweden, Denmark, Norway, Belgium ne Finland.[4]
Wabula okumanyika kwe mu kisaawe ky'okuyimba kwaliwo mu 2008 oluvanyuma lw'okufulumya oluyimba lwe olw'akwatayo lwa 'Nkumila Omukwano'.[5] Aziz ayimbye n'abayimbi nga GNL Zamba mu luyimba olutambulira mu ngeri ya R&B/Hip hop olwa 'Nakupenda', olw'ateekebwa mu alubaamu ye eya "Wampisa",[6] Juliana, Goodlyfe, Mariam Ndagire, GNL, Swangz Avenue, Rabadaba ne Pastor Wilson Bugembe.[7]
Alubaamu ya Oxygen
[kyusa | edit source]Mu 2011, Azion yafulumya alubaamu y'ennyimba ze ey'okubiri eya Oxygen ku Kati Kati, Calendar Rest Hotel, ne KK beach. Alubaamu yalimu ennyimba nga Oxygen and Baliwa.
Ennyimba z'eyayimba
[kyusa | edit source]- Nkumila Omukwano
- My Oxygen
- Uganda the pearl of africa
- Wampisa
Alubaamu z'eyafulumya
[kyusa | edit source]Awaadi z'eyafuna mu kisaawe ky'okuyimba
[kyusa | edit source]- 2011 – PAM Awards – omuyimbi asinze mu nyimba kika kya R&B Artiste[11]
Laba ne bino
[kyusa | edit source]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2014-05-05. Retrieved 2022-12-05.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-05. Retrieved 2022-12-05.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.reverbnation.com/azizazion1
- ↑ https://web.archive.org/web/20141004025428/http://www.hipipo.com/people/27/Aziz-Azion/bio/37/Who-Is-Aziz-Azion-In-Ugandan-Music
- ↑ https://web.archive.org/web/20140603123431/http://lyrics256.com/2012/06/25/nkumila-omukwano-aziz-azion/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2014-05-05. Retrieved 2022-12-05.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2014-05-05. Retrieved 2022-12-05.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20140505112043/http://www.hipipo.com/radio/27/Aziz-Azion/Aziz-Azion-Nafunye-Wampisa
- ↑ https://web.archive.org/web/20140505112734/http://www.hipipo.com/video/1497/Aziz-Azion-Mukisa-My-Oxygen
- ↑ http://ugandanlyrics.blogspot.com/2011/07/aziz-azion-beera-nange.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20120512080442/http://www.ugandaonline.net/news/view/11939/aziz_azion_featured_on_isaiah_s_friday_ntv_jazz_show