Babungi Josephine Bebona

Babungi Josephine Bebona amanyikiddwa nga Josephine Babungi Bebona Munnayuganda, muzaalisa era Omubaka wa Paalamenti omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Bundibugyo mu Paalamenti ya Uganda ey'ekumineemu okuva mu Gwokusatu 2021.[1][2] Mmemba mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resisitance Movement (NRM)[3] ng'era abadde mu Paalamenti ya Uganda okuva mu 2016.[4][5]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Babungi Josephine Bebona yazaalibwa nga 6 Ogusooka mu 1973 mu Disitulikiti y'e Bundibugyo, mu Bitundu by'Obukiikaddyo bwa Uganda nga kisalagana n'e Democratic Republic of the Congo. Yasomera ku Semuliki High School mu Bundibugyo, ng'eno gye yamaliriza emisomo gye egya siniya mu 1989. Yafuna satifikeeti y'okubeera omuzaalisa mu 1997 okuva kutendekero lya Kabale School of Nursing and Midwifery. Mu 2004, Babungi Josephine Bebona yafuna satifikeeti emukakasa n'okumuwandiisa ng'omuzaalisa atuukiridde okuva kutendekero lya Rubaga School of Nursing and Midwifery.[3]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Babungi Josephine Bebona yali muzaalisa omuwandiise okuva mu 1999 okutuuka mu 2003. Yafuuka omusawo mu ddaala lya Gavumenti z'Ebitundu ku Disitulikiti y'e Bundibugyookuva mu 2005 okutuuka mu 2016. Ensangi zino awereza nga Omubaka wa Paalamenti omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Bundibugyo okuva mu 2016 n'okutuuka kati.[3]
Ng'ogyeko emirimu gya Paalamenti, abadde ku bukiiko obw'enjawulo omuli: akalwanyisa akawuka kamukenenya, siriimu n'enddwadde endala, n'akakiiko k'eby'obulamu.[3][6]
Ebirala by'akoze
[kyusa | kolera mu edit source]Babungi Josephine Bebona yayambako mu kutabaganya obutabanguko obwali mu mawanga wakati wa Bakonjo n'aba Bamba mu Disitulikiti y'e Bundibugyo.[7] Yeenyigira mu by'okutwaala ebikozesebwa eri amaka agaali gatawanyiziddwa amataba mu Bundibugyo, ng'ali wamu n'ekitongole ekiddukirira abantu abalina obuzibu munsi ekya Uganda Red Cross Society, ne Gavumenti ya Uganda mu 2019[8] era, yasaba ofiisi ya Ssaabaminista wa Uganda okuteeka Disitulikiti ya Bundibugyo munteekateeka z'okusengula Disitulikiti eno olw'okutaataganyizibwanga ebigwa bitalaze buli mwaka.[9] Yeetaba ne mu kuwakanya eby'okwongeza ebisanja ku myaka pulezidenti w'eggwanga by'alina okufuga wadde nga yasigala tasazeewo mu kaseera okukubaganya ebirowoozo kunsonga eno we kwakomekerezebwa mu 2017.[10] Babungi Josephine Bebona yeeyatandikawo pulojekiti y'okukulakulanya emirimu gy'abakyala egy'emikono, egyalina ekigendererwa eky'okuyamba abantu nadala abalina obulemu ku mibiri, nga oluvannyuma kyatongozebwa Sipiika wa Paalamenti ya Uganda mu 2018.[11]
Y'omu kubabadde ku kakiiko akalwanyisa akawuka kamukenenya n'enddwadde ya siriimu, wamu n'ensonga ezeekuusa ku kyo nga yasobola okufuna obubonero bwa 67.86.[6] Yeenyigidde mu pulojekiti ez'enjawulo omwali okugulira abayisi b'ekibiina ekisooka ne P7 emifaliso, okuwa Dr. Bukombi ow'eddwaliro lya Kikyo Health Center n'erya Bundibugyo ekyuma ekijanjaba sukaali, yagaba embuzi n'ente eri abalimi abamu, yagaba obutebe bwa pulasitiika 30 wamu n'akakadde kamu (1,000,000) aka ssilingi za Uganda eri ekibiina kya Mijosa Group.[6]
Laba ne bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/bebona-babungi-josephine-10191/
- ↑ https://theyworkforyou.github.io/uganda-parliament-watch/mp/ea7afc52-f4c9-437a-b88d-acb066f14b5e/
- 1 2 3 4 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=348
- ↑ https://archives.visiongroup.co.ug/vision/NewVisionaApi/v1/uploads/NV010316pg35.pdf
- ↑ "NRM Parliamentary Caucus". NATIONAL RESISTANCE MOVEMENT. Retrieved 14 March 2021.
- 1 2 3 https://web.archive.org/web/20221207063844/https://www.mpscanug.com/wp-content/uploads/2020/07/2020ParliamentScorecard-2018-2019-draft-FINAL.pdf-Sent-for-Print-2020-7-21.pdf
- ↑ https://archives.visiongroup.co.ug/vision/NewVisionaApi/v1/uploads/NV010316pg35.pdf
- ↑ https://web.archive.org/web/20211125231343/https://nbs.ug/2019/12/disaster-in-bundibugyo/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/where-your-mp-stands-on-age-limit-debate-1718482
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/where-your-mp-stands-on-age-limit-debate-1718482
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-05-13. Retrieved 2024-03-25.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)