Bad Black
Bad Black Filimu y'akatemba eya Uganda nga yawandiikibwa, n'efulumizibwa era ne Dayilekitingibwa Isaac Godfrey Geoffrey Nabwana (IGG)
,mu Wakaliwood, situdiyo ey'ebisale by'awansi mu Kampala, Uganda.[1][2]
Olugero
[kyusa | edit source]Omwami ayitibwa Swaaz, nga lisaliddwako okuva mu Schwarzenegger, abba Bbanka era agobebwa poliisi. Alagira omwana we amuyamba Buddy Spencer okubuuka okuva mu motoka ne ssente ye asobole okutwala Poliisi ku ludda olulala. Oluvanyuma lw'okugobebwa okumala kaseera, Swaaz oluvanyuma agwa mu lutuula naye mu butannwa akuba emmotoka ye amasasi nga kino kigiviirako okubaluka.
Mu nzigotta z'omu Kampala, Uganda, omuwala omuto adduka ewaabwe ng'akomekkereza mu kakundi k'abaana abakukusibwa akaali kakulemberwa eyali Munnamagye wa Uganda People's Defence Force commando mu ghetto. Olunaku lumu, bweyali akungaanya sikulaapu, yasikasikanyizibwa Nnaggaga Hirigi oluvanyuma lw'okutwala ekyuma ky'emmotoka ye mu butali bugenderevu. Oluvanyuma lwa ssabbiiti eziwerako ng'avumirirwa n'okulaba abaana abalala nga battibwa mu bukambwe, omuwala ono asalawo okutwalira amateeka mu ngalo era atta omukulu w'akakundi.
Oluvanyuma lw'emyaka kkumi, omuwala akula okufuuka "Bad Black", era abaana b'omu ghetto baali bafuuse abamenyi b'amateeka abasinga mu Kampala nga Black y'abakulira. Asendasenda Hirigi mu bbaala okusobola okukola okuwoolera kwe. Mu kaseera kekamu, Alan Ssali, omusawo Omumerika nga famile ye yonna baali ba maggye (U.S. Army commandos), yali mu Kampala ng'awa obuyambi eri abantu b'omubifo by'omugoteko. Asisinkana Bad Black, nga yamutwala okubeera Kommando olw'omukuufu gwe yalina ogwambalwa bannamaggye. Oluvanyuma lw'okufuna kaadi ya Alan era emirimu gye, Bad Black yebbirira n'ayingira mu kasenge ke n'abba ssente ze n'ebitambuliso bye. Poliisi bweyagaana okumuyamba, Alan agenda okutendekebwa kung fu commando okuva eri omuyambi we eyali y'akazibwako elinnya lya pseudonym "Wesley Snipes", nga tannaba kwesogga migoteko okunoonya Bad Black.
Mutabani wa Hirigi omuvubuka, Kenny, agobebwa kitaawe era agenda okwegatta ku kabondo ka Black ng'anoonya ebiragalaragala. Hirigi ategeeza Black ku nteekateeka ze ez'okugula ghetto n'okugobamu akabondo ke. Black atwala Hirigi eri Jjajjawe omukyala ng'eno gyekizuulibwa nti Hirigi yali Jjajja wa Black omusajja era abadde apepeya n'omukyala ava mu ghetto. Hirigi atiisatiisa Black ng'amufulumya era adduka mu buswavu.
Olunaku lumu, diili y'enjaga wakati wa Bad Black ne beyali akolagana n'abo yataataganyizibwa abakwas b'amateeka. Ab'akabondo bonna basaasana okwetawuluza ku poliisi, okugyako okukwatibwa Alan, eyali aswamye Bad Black era n'amuggyako omukufu gwe nga tannaba kumukwasa poliisi. Mu kkomera, Black asisinkana n'emunne ayitibwa Flavia alumiriza nti kitaawe omugagga y'amusuulawo era teyasobola kulaba ku mwanawe oluvanyuma lw'okumuzaala nga tannaba kutwalibwa mu nkomyo. Ekiro ekyo, Kenny n'abakabondo bagezaako okumenya okuyingira mu kkomera okutolosa Black. Akavuyo kano, kasobozesa abakyala abalala babiri okutoloka naye Black asalawo okubeera ne Flavia okumubudabuda era ateebwa mu nnaku bbiri. Ennaku ez'addako, Flavia ateebwa era yaliwo mu kuwulira omusango gwa Black. Black yanyonyola nti kitaawe yali Swaaz era y'abba Bbanka okusasulira ebisale by'okuzalibwa kwe era nti maamawe y'afiira mu ssanya. kyazuulibwa nti Flavia yali maama wa Black era ababiri bano bagwingana mu kifuba era omulamuzi n'amaliriza omusango.
Nga wayiseewo emyezi esatu, Alan yaddamu obuwereza bwe ng'omusawo mu Wakaliga, naye nga yali ne Bad Black ng'omuyambi we. Mukyala wa Hirigi oluvanyuma alabibwa era n'atandikawo olutalo awaali watereddwa olusiisira lw'obulamu nga kino ky'aviirako okuttibwa kwa Alan.
Abazannyi abalimu
[kyusa | edit source]
Okufulumizibwa n'abantu abagiraba
[kyusa | edit source]Bad Black yatongozebwa ku mikolo gya 2016 Fantastic Fest, nga yawangula Awaadi y'okulabibwa abantu abangi ne Nabwana IGG yawangula Awaadi ya Dayilekita asinze olw'ebyo ebyazanyibwa mu filimu.[3]
Filimu yafulumizibwa wamu ne Who Killed Captain Alex? mu Wakaliwood Supa Action Vol. 1 Blu-ray/DVD combo eya American Genre Film Archive (AGFA) nga 14 Ogwokutaano 2019. Enkola ya Blu-ray esobozesa okulaba Who Killed Captain Alex? nga njogerere ne VJ Emmie oba nga ssi njogerere, okwo kw'ogatta kwogatta n'ebigambo ebiyogerwa nga bwebiwandiikibwa mu nnimi 40, era eyaniriza obutambi bwa Nabwana IGG obw'amawanga 14.[4]
Nga Who Killed Captain Alex?, Bad Black yali ayagalwa bangi n'abo ab'ekenneya nga. Richard Kuipers owa Variety filimu yagiyita "katemba atasasulibwa, n'amaloboozi agogerera ag'ekikugu nga gakolebwa Munnayuganda ey'esomesa okukola Filimu Nabwana I.G.G."[5]
Bad Black yali eyagaddwa abali mu 2017 Seattle International Film Festival.[6][7] Filimu yaddamu okulagibwa ku lunaku olusembayo olw'ebikujjuko oluvanyuma lw'okusaba kw'aalabi ng'olulaga luno lwaweza emirundi ena nga elagibwa.[6] Emboozi ey'ebibuuzo n'okwanukula okuva eri abalabi ne Dayilekita mu Seattle by'ali ku mukutu gwa Skype.[6]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- Bad Black at IMDb
- Bad Black official trailer on YouTube
- Filimu ya Bad Black mu bulamba ku YouTube
- ↑ https://web.archive.org/web/20211105212722/https://cinapse.co/fantasia-2017-wakaliwoods-bad-black-most-unexpendable-ugandan-movie-53b0052486d3?gi=af4ebc4e877f
- ↑ https://www.joblo.com/movie-news/awfully-good-wakaliwoods-bad-black
- ↑ https://web.archive.org/web/20191222115126/https://fantasticfest.com/films/bad-black
- ↑ https://www.blu-ray.com/news/?id=24488
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Variety_(magazine)
- ↑ 6.0 6.1 6.2 http://www.escapeintofilm.com/home/2017-seattle-international-film-festival-movie-review-bad-black
- ↑ https://www.thestranger.com/slog/2017/05/25/25172144/siff-review-bad-black-is-a-wakaliwood-masterpiece