Bako Christine Abia
Bako Christine Abia Yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 29, mu mwezi ogwomukaaga, mu mwaka gwa 1977 munabyabufuzi okuva mu Uganda ng'era akola ng'omubaka omukyala akiikirira disitulikiti y'e Arua mu palamenti ya Uganda eyo 8 ne 9. Ali mu kibiina kya Forum for Democratic Change eky'eby'obufuzi.
Obulamu bwe mu by'obufuzi wamu n'enjawukana
[kyusa | edit source]Yali omubaka wa palamenti mu palamenti ya Uganda eyo 9.[1][2][3][4] Mu mwaka gwa 2010, yawanyisiganya ebigambo ne minisita w'ebigwa tebiraze n'abanoonyi boobubuddamu, Tarsis Kabwegyere webaali mu by'okuteereeza eddwalliro lya Arua mu waadi y'abalwadde webatukira nga kino kyali kiva ku ddagala etono eryali liweebwaayo.[5] Ebyava mu kulonda kwa palamenti ya Uganda eye 10, ekibinja kya babaka okuva mu bitundu bya West Nile nebitundu bya Uganda eby'omubukiika ddyo beegata ku minisita omubeezi ow'ensonga z'omunda okujaguza eyali omubaka w'esaza lya Terego, Kasiano Wadri Ezati okulemererwa okwegata ku palamenti eye 10.[6] Yeeyali omu ku babaka ba palamenti abatagenda mu palamenti eye 10.[6] Ababaka abalala abataddayo mungeri y'emu baali; omukyala eyali akiikirira Arua Woman mu palamenti, Alex Onzima, minisita omubeezi owa gavumenti za wansi n'omubaka wa FDC – NRM owa leaning Maracha, Sam Okuonzi mu Vurra, Martin Drito mu Madi Okollo, Ahmed Awongo ow'e Koboko, Ruth Lematia owa Maracha omukyala, Noah Acile okuva mu Yumbe, Christine Acayo omukyala wa Nebbi, Hudah Oleru omukyala okuva mu Yumbe Woman ne Ann Awuru omukyala wa Moyo Woman n'abalala etc.,[6]
Mu mwaka gwa 2010, Christine yalwana ne ssentebe w'akakiiko ka LC 5, Richard Andama Ferua mulukiiko lwali lutudde mu munisipaali ya Arua ey'okugonjoola obutabanguko obwali wakati abakwasiza eby'amateeka mu kitundu, wamu n'abasuubuzi b'omubutale abakola mu bukyamu abaali abaali baakubye abakwasiza amateeka nga bakozesa emitayimbwa nga bali kubiragiro by'omubaka wa pulezidenti, Ibrahim Abiriga.[7] Nga bali mu palamenti eyo 9, yayogerwako ng'omu kubantu 34 abaali boogedde obutasuka mirundi 5, nga 29 kubano baakibiina ky'eby'obufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement [8] Ye muwanika w'eggwanga mu kitongole kya Alliance for National Transformation.[9]
Laba ne bino
[kyusa | edit source]- List of members of the eighth Parliament of Uganda
- List of members of the ninth Parliament of Uganda
- Mourine Osoru
- Alliance for National Transformation
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20180815091530/http://fortuneofafrica.com/ug/members-of-parliament/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/articledetails/1206008 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://everypolitician.org/uganda/parliament/term-table/9.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.independent.co.ug/mbabazi-suruma-face-political-end/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20220401111643/https://www.observer.ug/component/content/article?id=8401:-minister-mp-clash-in-arua - ↑ 6.0 6.1 6.2
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20220524100215/https://www.redpepper.co.ug/2016/10/minister-mps-throw-bash-to-celebrate-kasiano-wadri-parliament-loss/ - ↑
{{cite news}}
: Empty citation (help)https://allafrica.com/stories/201002190031.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/silent-mps-exposed-1546614 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230207213056/https://theallianceug.com/page/committee