Jump to content

Bangirana Kawooya Anifa

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Anifa Kawooya

Bangirana Kawooya Anifa yazaalibwa nga 21 Ogusooka 1957. Munnayuganda, munabyabufuzi era awerezaako ng'omubaka omukyala okuva mu 2000 okutuuka mu 2020 ng'omubaka wa Paalamenti, nga mu kaseera kano akiikirira konsitituweensi y'e Mawogola ey'omubuggwanjuba mu Disitulikiti y'e Ssembabule mu Paalamenti ya Uganda okuva mu 2021, okutuuka kati.[1] Kuno kw'ateeka n'okuwereza ng'omu ku baali ku bukiiko ng'akalwanirira omwenkano nkano, wamu n'akavunaanyizibwa ku nsonga z'ebweru w'eggwanga.

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Ssembabule mu Uganda, nga 21 Ogusooka 1957.

Yafuna Diguli mu by'enjigiriza mu kulakulanya embeera z'abantu okuva ku Yunivasite y'e Nkumba[2] mu 2004. Oluvannyuma mu 2001, yafuna Diguli ey'okubiri mu bikwatagana kunsonga z'ensi yonna okuva mu yunivasite y'emu eyo mu 2007.

Emirimu gye n'eby'obufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga tanaba kufuuka mubaka wa Paalamenti ya Uganda mu 2001, Anifa yali akola ku kakiiko akalina obuyinza okukola ennongosereza mu Ssemateeka w'eggwanga okuva mu 1993 okutuuka mu 1995, yawerezaako nga avunaanyzibwa ku by'amawulire ku kakiiko k'abakyala okuva mu 1998 okutuuka mu 2002[3] nga kuno kw'otadde n'okubeera eyali amyuuka ayambako ku gavumenti z'ebitundu mu Disitulikiti ye Rakai, omwogezi wa gavumenti z'ebitundu mu Disitulikiti y'e Ssembabule, omuwanika w'ekibiina kya National Resistance Movement.[4]

Mu 2016, yafuuka mmemba mu Paalamenti egatta ababaka okuva ku semaziga wa Afrika n'okutuuka kati[5][6]

Yasaba okubeera mu kibiina ky'eby'obufuzi ekya National Resistance Movement

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]