Jump to content

Barbara Kasekende

Bisangiddwa ku Wikipedia
Barbara Kasekende
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamukyala Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waBarbara Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga1979 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waBuganda Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza, Oluswayiri Kyusa Wikidata
Omulimubusiness executive Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raElmhurst University, University of Texas at Dallas, St. Mary's College Namagunga Kyusa Wikidata
Academic degreeBachelor of Science, Master of Business Administration Kyusa Wikidata
Personal pronounL484 Kyusa Wikidata

Barbara Kasekende mukyala munabizineensi okuva mu Uganda ng'era mukungu awereza mu kitongole ekiwi ky'amagezi mu baanka ya Uganda Development Bank, eterekero lya ssente lyokka erivunaanyizibwako gavumenti mu ggwanga. Yafuna ekifo kino mu ,mwezi ogw'okubiri, mu mwaka gwa 2022. Nga kino tekinabeerawo, yeeyali adukanya ekifo ky'abakungu abasiga ensiimbi mu Stanbic Bank Uganda Limited, baanka etereka ebintu ebikalu esinga obunene Uganda.[1][2][3]

Ebyafaayo bye neby'enjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

Kasekende nzaalwa za Uganda, eyazaalibwa okutandikira mu mwaka gwa 1979 mu bitundu bya Buganda mu Uganda. Yasomera ku Mount Saint Mary's College Namagunga mu by'okusoma kwe okwawagulu. Mukumubuuza kajogi jogi w'ebibuuzo eyaliwo mu mwaka gwa 2020, yeenyonyolako ng'eyali eyasooka okuzaalibwa mu famire ye.[4]

Alina diguli mu sayaansi, mu bya kompuyuuta n'eby'empuliziganya, gyeyafunira kutendekero lya Elmhurst University, mu Elmhurst, Illinois, mu ggwanga lya Amerika. Alina diguli ey'okubiri mu kudukanya bizineensi, gyeyafunira kutendekero lya Naveen Jindal School of Management, mu University of Texas at Dallas, mu Richardson, Texas, mu ggwanga lya Amerika.[2][5]

Mu kaseera keyeegatira ku baanka ya Uganda Development Bank mu mwezi ogw'okubiri, mu mwaka gwa 2022, Bizineensi za Kasekende zidira ddala emabega emyaka kumpi 14. Alina obuvunaanyizibwa mu kudukanya bizineensi ez'enjawulo ne kampuni mu biseera ebyo. Abadde maneja oba adukaya AIG Uganda, mu Wild Places Africa, NFT Consult ne mu Stanbic Bank eya Uganda. Obukugu bwe mulimu, okulakulanya bizineensi,okulabirira bakasitoma, okukwasaganya bakasitoma, n'obuvunaanyizibwa ku mikolo gy'ekikungu.

Ng'ali ku Uganda Development Bank, Kasekende yaakulira ekitongole ekiwi ky'amagezi ku bya bizineensi, ekivunaanyizibwa ku by'owabula, n'okulaga abantu bebawereza mu bizineensi ne bakasitoma.[6]

  1. ↑ {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20220322172300/https://bankersjournalug.com/udb-appoints-barbara-kasekende-manager-business-advisory/
  2. 1 2 {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.watchdoguganda.com/news/20220219/130542/who-is-barbara-kasekende-the-newly-appointed-uganda-development-bank-manager-business-advisory.html
  3. ↑ {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230322180121/https://theinsider.ug/index.php/2018/02/28/barbara-kasekende-appointed-stanbic-banks-corporate-social-investment-manager/
  4. ↑ {{cite web}}: Empty citation (help)https://davidkangye.com/barbara-kasekende-there-has-to-be-a-reason-why-you-are-here/
  5. ↑ {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.thekampalareport.com/latest/202202199547/udb-installs-barbara-kasekende-as-manager-business-advisory.html
  6. ↑ {{cite web}}: Empty citation (help)https://kikubolane.com/2022/02/19/barbara-kasekende-leaves-stanbic-appointed-manager-business-directory-at-uganda-development-bank/