Barbara Mulwana
| Ekikula | mukyala | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Barbara | |
| Yazaalibwa nga | 1965 | |
| Gy'azaalwa | Yuganda | |
| Native language | Oluswayiri | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | computer scientist, engineer, omutandisi w’emirimu | |
| Gyeyasomera | Kellogg School of Management | |
Barbara Mulwana yazaalibwa c.1965 munnayuganda eyakuguka mu by'amasanyalaze awamu ne tekinologiya, ye Ssentebe w'ekibiina kya Uganda Manufacturers' Association. Mu Ogwokutaano 2017, ye yaddira Amos Nzeyi, eyawummula ng'amazekko ebisanja bibiri.[1] Era akola nga Omukulu w'ekitongole ekya "Nice House of Plastics", ekimu ku bitongole ebiri mu Mulwana Group of Companies.[2]
Obuto bwe n'okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Uganda mu 1965[3],azaalibwa Sarah Mulwana ne James Mulwana, eyali omusuubuzi era omutandisi w'amakolero mu Uganda, era mu kiseera kye eky'okufa yali omu ku bannagagga mu ggwanga.[4]
Yattikirwa okuva mu Northwestern University mu Evanston, Illinois, mu United States ng'alina diguli esooka eya sayansi mu by'amasannyalaze ne Kompyuuta. Alina n'obukakafu bwa Electronic Document Professional (EDP), okuva mu Kellogg School of Management.
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Barbara Mulwana yakolanga nga Applications engineer mu Goodyear Tire and Rubber Companymu Akron, Ohio, okutuusa mu 1991. Mu 1991, yegatta ku Nice House of Plastics, kkampuni omugenzi kitaawe gyeyatandikawo era n'agikulira, ng'omukulu w'abakitunzi. Oluvannyuma, yakuzibwa n'afuuka Senkulu w'ekitongole . Mu Ogwokutaano 2017, yalondebwa okubeera Ssentebe w'ekibiina ky'ebannamakolero Uganda Manufacturers' Association, ekitongole ekisakira n'okuwabula era omwegattira amakolero agasoba mu 600 n'okubuulirira mu makolero ekikuŋŋaanya abakola n'amakolero g'abannayuganda agasoba mu 600.
Amaka
[kyusa | kolera mu edit source]Barbara Mulwana mufumbo era alina abaana basatu. Abawala babiri: Grace ne Sarah, n'omulenzi, James.
Ebirala ebitunuulirwa
[kyusa | kolera mu edit source]Muky. Mulwana atuula ku bukiiko bw'amakampuni g'obwa nannyini ne gavumenti mu Uganda: (1) Stanbic Bank Uganda Limited (2) Uganda Batteries Limited, memba wa Mulwana Group (3) Jesa Farm Diary, kkampuni endala eya Mulwana Group. (4) Jubilee Insurance Company Uganda Limited.[5]
Laba era
[kyusa | kolera mu edit source]Ebyawandiikibwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Ngwomoya, Amos (19 May 2017). "Mulwana elected first woman UMA chair". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 1 November 2017.
- ↑ NHOP (1 November 2017). "Executive Director: Barbara Mulwana". Kampala: Nice House of Plastics (NHOP). Archived from the original on 7 November 2017. Retrieved 1 November 2017.
- ↑ Bloomberg Research (1 November 2017). "Company Overview of Stanbic Bank Uganda Limited: Board of Directors". Bloomberg Research. Retrieved 1 November 2017.
- ↑ Michael Kanaabi, and Ssebidde Kiryowa (6 January 2012). "The Deepest Pockets". New Vision. Kampala. Retrieved 1 November 2017.
- ↑ Kiira Uganda (1 November 2017). "Uganda Manufacturers Association: Jinja Branch". Jinja, Uganda: Kiira.co.ug (Kiira Uganda). Archived from the original on 20 July 2018. Retrieved 1 November 2017.