Barbie Kyagulanyi
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Erinnya eriweereddwa | Barbara |
| Yazaalibwa nga | 7 Gwamwenda(Mutunda) 1985 |
| Gy'azaalwa | Ntungamo |
| Omwagalwa | Bobi Wine |
| Omulimu | activist, writer |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere, Bweranyangi Girls' Secondary School |
Barbara Kyagulanyi (yazaalibwa 7 Ogwomwenda 1984) ye Munnayuganda akola emirimu gy'obwannakyewa era omuwandiisi w'ebitabo. Ye muwandiisi w'ekitabo " Golden Memories of a Village Belle " ekyafulumizibwa mu 2012.[1][2] Mufumbo n'omuyimbi era munnabyabufuzi Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine,[3][4] gw'alinamu abaana bana.[5]
Obuto bwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Barbie yazaalibwa nga 7 Ogwomwenda 1984 mu Disitulikiti y’e Ntungamo, mu Bukiika ddya bw'obugwanjuba bwa Uganda. Bazadde be Basawo ye Gershom Kagaju ne Joy Kagaju. Yasomera mu ssomero lya St. Hellen Primary School, Nyamitanga mu Mbarara Bweranyangi Girls mu Bushenyi ku mutendera gwe ogwa Siniya eyookuna n'ogwa siniya eyoomukaaga okumala emyaka mukaaga. Olwo yeegatta ku yunivasite y’e Makerere gye yasomera eby'okuzuula ebizibu ebitawaanya embeera z'abantu n'okutema empenda z'okubivvuunuka n'okulondoola engaba y'obuweereza. Era yamaliriza ddiguli eyookubiri mu ddembe ly’obuntu ku Yunivasite y'e London.[6]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2013, Barbie yatandikawo ekitongole ky’obwannakyewa ekya Caring Hearts Uganda ekitongole ky'obwannakyewa ekissa essira ku bawala abaakavubuka, okusomesa ku kawuka ka siriimu n’obuyonjo bw'abawala mu kiseera ky'ensonga z'abakazi.[7][8] Ekibiina ky’obwannakyewa kitonye ebizimbe n’ebikozesebwa eri amasomero g’abaana abatalina mwasirizi n’ababundabunda munda mu ggwanga.[9]
Mu 2017, Barbie yakolera bba Bobi Wine kakuyege okufuuka omubaka wa paalamenti n'oluvannyuma obwa pulezidenti mu 2020 ne manifesito ye ekwata ku ddembe ly'abakyala.[10] Yalwanirira okuyimbulwa kwa Bobi Wine bwe yali asibiddwa mu kkomera e Nalufenya mu kampeyini ze ez’obwa pulezidenti mu 2020. Bombi baasibirwa ab’ebyokwerinda bya Uganda awaka nga tebawozeseddwa mu 2021 olw’okutya nti Bobi okubeera mu lujjudde kiyinza okukuma omuliro n'okuleetawo obwegugungo . Nga wayise ennaku kkumi na lumu, kkooti yasala nti okusibirwa awaka kyali kimenya mateeka.[11][12]
Kaweefube waabwe ow'okwesimbawo ku bwapulezidenti yalagibwa mu filimu ey'ekiwandiiko (documentary) eyitibwa Bobi Wine: The People's President olwasunsulwa okuvuganya ku Ngule ya Academy Award for the Best Documentary feature mu 2024.[13]
Mu Gwoluberyeberye 2026, oluvannyuma lw’okulonda kwa bonna okwa 2026, Bobi Wine yategeeza nti yakubwa abajaasi mu kikwekweto kye baakola ku maka gaabwe, nga kyetaagisa okuweebwa ekitanda mu ddwaaliro.[14]
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Barbie yasisinkana Bobi Wine bwe yali akyasoma mu ssomero erya siniya, ate nga Bobi Wine yali muyizi mu by'Omuziki, Amazina n'Emizannyo ku Yunivasite ya Makerere. Ababiri bano baagattibwa mu 2011 mu Lutikko y’e Lubaga mu Kampala oluvannyuma lw’okubeera bombi okumala emyaka 10.[15] Balina abaana bana.[5] Mukatuliki ow'Ekeleziya Katulika mu Uganda
Awaadi
[kyusa | kolera mu edit source]Barbara yaweebwa awaadi y’obuweereza bw’ebyemikono okuva mu Lotale kiraabu y'e Bugoloobi mu 2018, yafuna awaadi y’obukulembeze obusukkulumye okuva mu kibiina kya The Aid Child Leadership institute /Uganda. Mu 2020, yaweebwa awaadi ya The teen’s most favourite social media star by Teenz Awards 2020. Era yaweebwa awaadi olw’okuyamba ba maama abali mu myaka gy'ekitiini okuva mu kitongole kya The Remnant Generation, ekitongole ekibudaabuda n’okuyamba ba maama abali mu myaka gy'ekitiini mu Uganda.[16]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Nila, Yasmin. "Barbie Kyagulanyi Reveals writing New Book". Chimpreports. Retrieved 29 July 2021.
- ↑ Tacca, Alan (29 November 2020). "Chat time? Barbara Itungo Kyagulanyi and Janet Museveni". Daily Monitor. Retrieved 29 July 2021.
- ↑ "Barbie Itungo Kyagulanyi: Biography, Early Life, Education and Family of Bobi Wine's wife". Flash News. 31 May 2020. Retrieved 29 July 2021.
- ↑ "Prepare Barbie to step into Bobi's shoes". Monitor (in Lungereza). 2020-12-03. Retrieved 2022-03-12.
- 1 2 "Bobi Wine, Barbie welcome fourth child". New Vision. Retrieved 2025-04-12.
- ↑ "Barbie Kyagulanyi bags MA from University of London – The Kampala Report" (in American English). 2021-12-10. Retrieved 2022-07-11.
- ↑ Sebwami, Javira. "Barbie Kyagulanyi calls for intense debate on sexual harassment at global conference in Canada". PML Daily. Retrieved 29 July 2021.
- ↑ Muhwezi, Maurice. "'Close your legs, open your books!' Barbie cautions young girls". PML Daily. Retrieved 29 July 2021.
- ↑ "Barbie Kyagulanyi skilling young girls | Uncut". Youtube. Next Media Uganda - Uncut. Retrieved 19 August 2021.
- ↑ Kirabo, Jonah. "Barbie Kyagulanyi: Government does not care about women". The Nile Post. Retrieved 29 July 2021.
- ↑ "Barbie narrates house arrest ordeal". NTV Uganda. Archived from the original on 18 March 2023. Retrieved 29 July 2021.
- ↑ "Ugandan security forces withdraw from Bobi Wine's house". The Guardian. Retrieved 12 February 2024.
- ↑ Sundby, Alex. "See the full list of Oscar nominations for 2024 Academy Awards". CBS News. Retrieved 12 February 2024.
- ↑ "Uganda opposition leader says wife hospitalised after being choked by soldiers". Reuters. 24 January 2026. Retrieved 24 January 2026.
- ↑ "Bobi Wine, Barbie mark 5 years of marriage". New Vision. Retrieved 2025-07-21.
- ↑ Nila, Yasmin. "Barbie Kyagulanyi Awarded For Supporting Teen Mothers". Chimpreports. Retrieved 29 July 2021.
Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Barbie Kyagulanyi at IMDb
- Website Archived 2020-11-19 at the Wayback Machine
- CS1 Lungereza-language sources (en)
- CS1 American English-language sources (en-us)
- Abalamu
- Abantu abasibuka mu Disitulikiti y'e Ntungamo
- Abaasomera ku Bweranyangi Girl's Seniror Secondary School
- Abaasomerako ku Yunivasite y'e Makerere
- Abaasomerako ku University of London
- Abaazaalibwa mu 1984
- Bannayuganda abawandiisi b'ekyasa ky'abiri mu ekimu
- Bannabyabufuzi mu Uganda
- Empapula eziriko ennyunzi ezitalina kwe zigguka