Barumba Beatrice Rusaniya

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Barumba Beatrice Rusaniya yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 2, mu mwezi ogw'ekumineebiri, mu mwaka gwa 1964 nga munayuganda omukyala eyeenyigira mu by'obufuzi.[1] Yeeyali munabyabufuzi okuva mu kibiina kya National Resistance Movement, ng'ate yeeyali omukiise wa palamenti owa disitulikiti y'e Kiruhura mu palamenti ya Uganda eyo 8 ne 9. Mu mwaka gwa 2005, disitulikiti y'e when Kiruhura bweyali esaliddwa ku disitulikiti y'e Mbarara, yafuuka omukyala eyasooka okugikiikirira mu palamenti mu mwaka gwa 2006, nga yawereza okutuuka mu mwaka gwa 2016.[2]

Obulamu bwe mu by'obufuzi[kyusa | edit source]

Mu kulonda kw'omwaka gwa 2016 okutuusa mu 2021, yawangulwa mu kalulu ako.[3] Yagyayo okuwakanya kweyali ataddeyo bweyali alaga obutali bumativu ku byaali bivudde mu kulonda kweyali amudidde mubigere nga bweyali akozze, Sheila Mwine Kabaije nga waliwo okulumiriza ng'okulonda kuno bwekwalimu ebirumira ssaako n'obubbi.[4] Rusaniya yali omu kubaali bakikiridde Uganda mu palamenti ya Afrika (Pan African Parliament).[5] Wabula, yali mulwadde mulukungaana lw'abakungu.[5]

Laba ne[kyusa | edit source]

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.independent.co.ug/mbabazi-suruma-face-political-end/
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://mulengeranews.com/beatrice-rusaniya-rides-on-kazo-to-bounce-back-in-national-politics/
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.ugandadecides.com/aspirant.php?profile=1353
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/articledetails/1428985
  5. 5.0 5.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230322200628/https://www.observer.ug/component/content/article?id=20919:-african-parliament-happy-with-updf-job-in-somalia