Beatrice Atim Anywar
Beatrice Atim Anywar nga batera kumuyita Beatrice Atim), oba Betty Anywar, yazaalibwa ng'enazu z'omwezi 9, mu mwezi ogusooka, mu mwaka gwa 1964, nga munabyabufuzi okuva mu Uganda eyawerezaako ng'omubaka wa palamenti eyali akiikirira konsitituweensi ya munisipaali y'e Kitgum mu palamenti ya Uganda eye 10 okuva mu mwaka gwa 2016, okutuusa mu gwa 2021.[1] Okutandika n'enaku z'omwezi nga 14, mu mwezi ogw'ekumineebiri, mu mwaka gwa 2019, yawerezanga nga minisita omubeezi ow'eby'obutonde mu kakiiko ka Uganda. Yadira Dr. Mary Goretti Kitutu, eyali awereddwa okubeera minista w'eby'omugagga by'omuttaka n'amasanyalaze, mu kakiiko keekamu.[2]
Ebyafaayo bye n'eby'enjigiriza
[kyusa | edit source]Yazaalibwa mu disitulikiti y'e Kitgum mu bitundu bya Acholi, mu bifo by'omubukiika ddyo bwa Uganda ng'enaku z'omwezi 9, mu mwezi ogusooka, mu mwaka gwa 1964. Mu mwaka gwa 1991, Yatikirwa ne dipulooma mu by'okubeera kituunzi okuva mutendekero ly'e Makerere University Business School. Mu mwaka gwa 2004, yafuna diguli by'okudukanya emirimu okuva mutendekero lya Islamic University in Uganda. Diguli ye ey'okubiri mu by'okudukanya emirimu n'okugirabirira yagifunira ku setendekero y'e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde n'obunene mu Uganda. Alina ne satifikeeti mu bya gavumenti ya demokulasiya n'eby'obufuz, gyeyafunira kutendekero lya Marquette University, mu ggwanga lya Amerika.[1]
Emirimu gye nga taneenyigira mu bya bufuzi
[kyusa | edit source]Okumala emyaka 2, okuvamu mwaka gwa 1991 okutuuka mu mwaka gwa 1993, Beatrice Anywar yakola ng'akulira kampuni ewaali watukira eby'amaguzi eya UFEL mu Uganda. Awo mumyaka 2 egyaddako mu gwa, 1994 ne 1995, yakola nga kituunzi omukulu mu kampuni eyali ekola emifaliso eya Vitafoam Uganda Limited. Oluvannyuma lw'ekyo, yakola mu ofiisi eyali erabirira ba kasitoma mu by'ensiimbi mu kampuni y'amazzi ne kazambi eya National Water and Sewerage Corporation, n'awereza okuva mu eyo okumala emyaka 8 okuviira ddala mu mwaka gwa 1996 okutuuka mu 2004.[1]
Ng'atandise eby'obufuzi
[kyusa | edit source]- Mu kibiina ky'eby'obufuzi ekya FDC
Yatandika okwenyigira mu by'obufuzi bya Uganda eby'okulondebwa bweyavuganya ku kifo kya kositituweensi ya munisipaali y'e Kitgum mu mwaka gwa 2006. Yalondebwa, oluvannyuma lw'okuwangula Santa Okoteyali agidde ku kaadi y'ekibiina kya National Resistance Movement. Yalondebwa nga minista ow'ekisikirize eyali avunaanyizibwa ku by'obutonde n'ebyembeera y'ensi, mu kisanja kye ekyali kisooka mu palamenti, olw'okuba nga yali alwanirira eddembe ly'obutonde.[3]
Yamannyikwa nnyo olw'emirimu gye egy'okutaasa ekibira kya Mabira mu Uganda. Pulezidneti Yoweri Museveni, ne gavumenti baali basazeewo okutunda ekibira kino eri kampuni eyali ekola sukaali eya Sugar Corporation of Uganda Limited (SCOUL), okutema emiti gyonna bagigyewo ekifo bakifuule emimiro ly'ebikajjo, mwenabakola ng'ekirungo kya ethanol. Atim yalwana ng'ayambibwako ebitongole eby'enjauwlo okwali ekya ''National Association of Professional Environmentalists'' okuyimiriza emiti gino okutemwa, nebategeka okukola kiremya eri sukaali wa SCOUL bamulemese okutundibwa.[4]
Mu mwaka gwa 2007, banayuganda abasoba mu 100,000 beekalakaasa mu mwekalaakaasa kwebaali bayita "Save Mabira Crusade" oba mutaase ekibira kya Mabira, nga basaba pulezidenti wa Uganda n'amagye okutaasa ekibira. Abantu basatu baafa, ate abalala nebalumizibwa. Amaka ga Atim Anywar gaazingibwako amagye ne poliisi, era nebamusiba nga bamuvunaana kubeera mutujju.[4][5]
- Nga mu nabyabufuzi eyali talina kibiina
Mukulonda kwa palamenti ok'omwaka gwa 2016, Betty Anywar yawangulwa mu z'okusunsulamu abaali bagenda okwesimbawo ku lw'ekibiina kya Forum for Democratic Change.[6] Yeesimbawo nga munabyabufuzi eyali talina kibiina kyagiddeko.[7] Yawangula ekifo ky'okusunsula n'obululu obwali buwerako, mweyasingira abo beyali yeesimbyewo nabo abaali abaamannyi.[8]
Mu mwezi ogw'ekumineebiri, mu mwaka gwa 2017, webaali bali mu kulonda kwa palamenti okwokugyawo ekomo ku myaka egitekeddwa okufugibwamu oba ekomo ku kisanja, Beatrice Atim Anywar yalonda "Ye", mungeri y'okunyiiza ab'oludda oluvuganya.[9]
Ng'enaku z'omwezi 14, mu mwezi ogw'ekumineebiri, mu mwaka gwa 2019, yateekebwa mu kakiiko ka Uganda nga minista omubeezi w'eby'obutonde n'eby'etoolodde; ekifo ekyamuweebwa akulira eggwanga lya Uganda Yoweri Kaguta Museveni.[2]
Laba ne
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20180321100915/http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=262 - ↑ 2.0 2.1
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-shuffles-Cabinet-drops-Muloni-Nadduli-Ssekandi/688334-5386130-139sq4lz/index.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20190321035416/https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1290476/suspended-legislators-strangers-controversy - ↑ 4.0 4.1
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://en.wikipedia.org/wiki/The_Independent_(Uganda) - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20190321035417/https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1158157/save-mabira-crusaders-renew-debate - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20171231211926/http://mobile.monitor.co.ug/specialreports/elections/Anywar-loses-Kitgum-Municipality-MP-FDC-flag/2471424-2977538-format-xhtml-2n5r74/index.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)http://www.monitor.co.ug/News/National/Anywar-pleads-with-FDC-leaders-for-Kitgum-municipality-flag/-/688334/2978950/-/op6ssyz/-/index.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://ugandaradionetwork.com/story/anywar-wins-kitgum-municipality-seat- - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)http://www.monitor.co.ug/OpEd/Commentary/MP-Anywar-needs-urgent-protection-media/689364-4245630-8myeocz/index.html