Jump to content

Beatrice Ayuru Byaruhanga

Bisangiddwa ku Wikipedia

Beatrice Ayuru Byaruhanga yazaalibwa mu mya gya 1970 nga munayuganda atandikawo bizineensi ez'enjawulo, ate nga yatandikawo esomero. Yawangula engule ya UNCTAD Women in Business Award mu mwaka gwa 2010 oluvannyuma lw'okugulawo esomero lya Lira Integrated school emyaka 10 emabega.

Obulamu bwe

[kyusa | edit source]

Byaruhanga yali omu kubaana 16 abaazaaliwa kitaawe mu famire eyalimu abakyala abangi kitaawe beyali yawasa. Yakuzibwa mu Lira[1], ng'ate kitaawe yagyereggwa nga bweyali ayonoona ssente okusindika bawala okusoma, nga yandibadde abafunamu byabugagga okuva mu basajja abaali babawasiza mu bufumbo. Muwala we Byaruhanga yali aloota ng'alina esomero nga lirye .[2] Kitaawe yamuwa ettaka okutandikako esomero, bweyalina emyaka 19, ng'era yali lubuto ng'asuubira okuzaala omwaka we eyali ow'okubiri.Yeeyali omuwala eyasooka okumaliriza okusoma siniya, n'agenda ku yunivasite. Yatikirwa ku setendekero ly'e Makerere, era n'atandika okusomesa.[1]

Bweyakitegeera nti yali yeetaaga ssente okuzimba esomero, yatandika okwennyigira mu bizineensi za mirundi esatu. Ogumu kugino kwaliko okusiimba muwogo kuttaka kitaawe lyeyali yamuwa. Bizineensi eno yamusobozesa okutandikawo esomero epya mu mwaka gwa 2000 mu disitulikiti ya Lira. Esomero lino limannyikiddwa nga Lira Integrated School, ng'era lisomesa abalenzi n'abawala. Mu myaka 7 egyasooka, ekifo kino tekyali kitebenkevu olw'ekibinja ky'abayeekera okuva mu Lord's Resistance Army, naye oluvannyuma baavayo mu mwaka gwa 2007.[1]

Yalina okubeera n'abaana mukaaga . Yeegata ku pulogulaamu ya EMPERTEC gyeyaweera ng'obuyambi er abaali baagala okutandikawo bizineensi zaabwe. Mu mwaka gwa 2014, esomero lye lyalina abayizi 1,500 [3], nga 100 baakendeera olw'okuba baali tebasobola kufuna bisale by'amasomero ebya doola $90.

Mu mwaka gwa 2010, yawangula engule y'omukyala ow'okubiri mu bya bizineenzi eyitibwa ''Women in Business Award''.[4] Mu mwaka gwa 2014 yayogerako ku bya TEDx mu Geneva eyali ekwatagan ku by'okubeera nga yalo mu muwogo, wabula n'adda mu kibiina, “From Cassavas to Classrooms”.[1]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.voanews.com/a/ugandan-entrepreneur-creates-education-opportunity-for-girls/2558397.html
  2. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1290439/cassava-seller-proud-owner-secondary-school
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.ikuska.com/Africa/Historia/biografias/b/byaruhanga.htm
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)https://unctad.org/en/pages/newsdetails.aspx?OriginalVersionID=1803