Beatrice Kiraso
Beatrice Birungi Kiraso Munnayuganda Munnabyabufuzi ng'amanyikiddwa mu kisaawe ky'ebyobufuzi bya Uganda ne East African Community (EAC).[1] Aweereza ng'omukozi wa Gavumenti okumala eby'asa bibiri nga Mmemba wa Paalamenti akiikirira Disitulikiti y'e Kabarole, Omumyuka w'omukulembeze wa East African Community, era nga lekikyala ku Yunivasite y'e Makerere [2][3]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Kiraso yazaalibwa mu kyalo kye Kiburara, mu Ggombolola y'e Hakibale mu Disitulikiti y'e Kabarole mu Uganda. Ye mwana omuberyeberye mu baana ekkumi abazaalibwa omugenzi Edison Amooti Rusoke Kiraso.[4] Olugendo lwe olw'okusoma lw'atandikira ku Kiburara Primary School, n'adda ku Nyakasura School

ng'eno gye yamalira siniya ey'okuna oluvannyuma yagenda ku Kyebambe Girls’ School mu siniya ey'okutaano n'eyomukaaga. Mu 1981, y'egetta ku Ssettendekero wa Makerere nga yatikkirwa Diguli mu by'enfuna eya Degree in Economics and Social Administration mu 1984.[5] Era alina ne Diguli ey'okubiri mu Public Administration saako ne Diguli ey'okubiri mu Public Policy Management okuva ku Havard University.[6]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1996, Kiraso yalondebwa nga talina amuvuganya mu kifo ky'Omubaka mu Paalamenti akiikirira Disitulikiti y'e Kabarole, ekifo kyeyalwamu olw'emirimu gye yakolera abantu b'omu kitundu kye.[7] Yali mmemba mu Lukiiko lw'eGgwanga olukulu era aweereza ku kakiiko akakwasaganya eby'embalirira mu Paalamenti ya Uganda.[8] Oluvanyuma lw'emyaka mwenda ng'awummude eby'obufuzi, Kiraso yakomawo mu kisaawe ky'ebyobufuzi okuwagira eyali y'esimbyewo ku bwa Pulenzidenti wa Uganda Gen Henry Tumukunde. Yali musaale nnyo mu kutambuza kakuyege we, okuwanjaga okufuna “Uganda empya” n'enjogera eya "Kisoboka".[9][10]
Bye yakola mu East African Community
[kyusa | kolera mu edit source]Kiraso yaweereza nga omumyuka Akulira ekibiina ekirwannirira obumu mu by'obufuzi ekya Political Federation for the EAC. Mu kisanja kye, yamalako ebisanja bibiri eby'emyaka esatu era yali wa nkizo nnyo mu kulondoola emirimu egikolebwa mu East African Federation n'okulinyisa omutindo gw'eby'obufuzi mu mawanga g'omukaga gwa EAC.[11][12]
Omukululo gw'eyaleka ne by'akoze
[kyusa | kolera mu edit source]Kiraso bwe yakulemberamu mu kussa essira ku bumu obw'enkukunala mu kibiina kya East African Community n'okutandiikibwa kwa East African political federation processes, ky'aviraako okukazibwako elinnya lya "Mama Federation".[13] Mu 2016 ye yakulembezebwa mu kwesimbawo ku kifo ky'akulembera akakiiko ttabamiluka aka International Conference on the Great Lakes Region olw'obumanyirivu bwe yalina mu nsonga ezikwata ku mawanga ag'enjawulo n'okumalawo obutabanguko.[14][15]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ https://www.newtimes.co.rw/article/126422
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/kiraso-journey-from-retirement-to-running-tumukunde-s-campaign--2303680
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/kiraso-journey-from-retirement-to-running-tumukunde-s-campaign--2303680
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ https://www.newtimes.co.rw/article/72691/beatrice-kiraso-aeac-political-integration-is-on-right-coursea
- ↑ https://allafrica.com/stories/200605020067.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/why-history-of-flip-flopping-might-come-back-to-haunt-tumukunde-1921822
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/kiraso-journey-from-retirement-to-running-tumukunde-s-campaign--2303680
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ https://www.newtimes.co.rw/article/72691/beatrice-kiraso-aeac-political-integration-is-on-right-coursea
- ↑ https://chimpreports.com/uganda-nominates-beatrice-kiraso-for-icglr-top-job/
- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/beatrice-kiraso-fronted-for-icglr-job?districtId=499