Beatrice Rwakimari
Beatrice Rwakimari yazalibwa nga 21 Ogwokutaano, mu 1961. Munnayuganda, ng'omukulembeze w'ebyobulamu eby'abantu, kalabaalaba w'emirimu gya Gavumenti, omusomesa era munnabyabufuzi. Yalondebwa okubeera omubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Ntungamo mu Uganda mu Paalamenti ey'ekkumi nga yalina akakwate ku kibiina kya NRM, ekibiina ky'eby'obufuzi ekiri mu bukulembeze bwa Uganda.[1] Yali yawerezaako konsitituweensi eno okumala emyaka ebbiri egy'omudiringanwa mu Paalamenti ey'omusanvu n'eyomunaana okuva mu 2001 okutuusa mu 2011. Mu Paalamenti ey'ekkumi, yawerezaako ng'omu ku baali ku kakiiko ka ''Akasunsula abalondeddwa'', akakiiko ku by'obulamu , n'akakiiko ka NRM aka Paalamenti nga ketabibwamu ba memba b'ekibiina ekyo bokka.[2][3]
Yasikizibwa Joseline Baata Kamateneti mu kalulu ka bonna aka 2021[4]
Laba ne bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20190717084804/https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=97
- ↑ https://web.archive.org/web/20161106041008/http://www.parliament.go.ug/index.php/about-parliament/parliamentary-news/849-house-constitutes-appointments-committee
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1446323/mps-push-increasing-funding-health
- ↑ https://web.archive.org/web/20230323080927/https://theinformerug.com/tag/hon-joselyn-kamateneti-bata/